'Barbara Kimenye yazaalibwa ngenaku z'omwezi 19, mu mwezi ogwekumineebiri mu mwaka gwa 1929 , naafa ng'enaku z'omwezi 12 mu mwezi ogw'omunaana mu mwaka gwa 2012. Yali yazaalibwa mu Bungereza era nga munwadiisi eyafuuka omu kubaali basinga okumannyikwa n'okutunda obutabo bweyawandiika ng'obwali bukwatagana ku baana mu buvanjuba ba Afrika, ng'eno gyeyali abeera okuviira ddala mu myaka egya 1950.[1] Yatunda obutabo obwali busoba mu kakadde, si mu Kenya, Uganda nemu Tanzania, wabula n'okwetoloola mu mawanga agoogera oluzungu okwetoloola Afrika yonna. Yawandiika emitwe egisoba mu 50, nga basinga kumujukira ku butundu bweyakola obwa Moses series',[2] obwali bukwatagana ku bayizi b'esomero abalenzi mu kisulo abaali bayitiriza okukola effujjo.[3]

Muwandiisi amannyikiddwa ennyo ng''era bamukazaako ''eky'omuwandiisi akulembera mu kuwandiika kubikwatagana ku baana mu Uganda", Kimenye yali omu kubaali boogera oluzungu abakyala abawandiisi abaali bava mu Uganda okufulumya obutabo mu masekati ne mu buvanjuba bwa Afrika. Engero zze zaasomebwa nga nnyo mu Uganda n'ewala, ng'era zaakozesebwa nga nnyo mu masomero ga Afrika. Wadde yazalibwa mu ggwanga lya Bungereza, Kimenye yali yeetwala okubeera omunayuganda.[4]

Obulamu bwe nokusoma

kyusa

Barbara Clarke Holdsworth yazaalibwa mu Halifax, West Yorkshire, mu ggwanga lya Bungereza, nga muwala w'omukyala eyalina omuyisirayiri okuva mu kigo ky'abakatuliki, ne kitaawe eyali omusawo okuva mu ggwanga lya West Indian. Yasomera ku Keighley girls' grammar school nga tanaba kugenda mu kibuga ky'e London kutendekebwa nga naansi oba omusawo. Eno gyeyasingaana abayizi abawerako okuva mu buvanjuba bwa Afrika, ng'era gyeyafumbirwa Bill Kimenye, eyali mutabani w'eyali akulira Bukoba ng'ekyayitibwa Tanganyika ebiseera ebyo. Baasenga mu makaage agaali gasingaanibwa ku nyanja Nalubaale (Lake Victoria) mu masekati ga 1950.Oluvannyuma lw'okwawukana naye, yasenga mu Uganda, gyeyali alina emikwano.

Mu Kampala, yaddamu okusisinkana emikwano gye emingi abaali abamu ku banayuganda abaasooka okusomera mu Bungereza. Baali bafuuka abakulembezze abasooka era abakenkufu ku eyali egenda okufuuka Uganda eyeetwala oba eyeefuga. Eyali Kabaka wa Buganda, Muteesa II, yamwaniriza okukola ng'omuwandiisi we ow'ekyama mu gavumenti ye. Yali abeera okulinaana olubiri n'abaana bbe ababbiri aboobulenzi okwali, Christopher (Topha) ne David (Daudi). Mu kaseera ako, famire ye yafuna akakwate ku y'obwa Kabaka. Yagenda e Nairobi mu ggwanga lya Kenya, mu mwaka gwa 1965, okukola mu kampuni ya Daily Nation, ate oluvannyuma mu ya The EastAfrican.

Yabeera mu kibuga ky'e Nairobi okutuusa mu mwaka gwa 1975, naye ng'ali ne batabani bbe bombi mu Bungereza, bagenda mu kibuga London. Eno yali akolera aba Brent Council ng'eyali omuwi w'amagezi oba omuwabuzi, wabula ng'era yasigala akyawandiika. N'okufaayo okw'amaanyi yagoberera enkulakulana u by'obufuzi mu Uganda eyali ejudde okutawanyizibwa nga yazannya ekitundu kinene nnyo mukuwagira n'okuyamba ebibiinja by'abo abaali basindikiddwa mu buwangaguse okufuga kwa Idi Amin, ate oluvannyuma gavumenti ya Milton Obote eyali ekomyewo mu buyinza omulundi ogw'okubiri. Mu mwaka gwa 1986, nga bamazze okugya Obote muntebe y'obwa pulezidenti, yakomawo mu Uganda. Yali wakumala emyaka emirala esatu mu Kampala nga tanaba kusenga mu Kenya, ng'eno gyeyamala emyaka egyaddako 10 bweyali awumudde emirumu gye.

Mu mwaka gwa 1998 Kimenye yaddamu nadayo mu kibuga ky'e London gyeyali agenda okubeera, gyeyabeera nga musanyufu, ng'era yeenyigira munsonga yekitundu mu Camden. Mutabani we yafa mu mwaka gwa 2005. Kimenye yafiira mu London mu mwaka gwa 2012, ng'alina emyaka 82, ng'abaasigalawo ye mutabani we David, n'omuzukulu omuwala, amannyikiddwa nga Celeste.[3][5][6]

Kimenye yalina ekitone n'ebigambo kuba yawandiika olupapula lwe olw'amawulire ng'akyali mwana ku myaka 11, naafuuka munamawulire w'olupapula lwa Uganda olwali luyitibwa 'Uganda Nation newspaper'. Yafuna ekitone ky'opkubuulira engero, ng'awandiika engero zeyabuulira ng'abaana. Ng'agenze e Nairobi,mu Kenya, mu mwaka gwa 1965 okukola mu mpapula z'amawulire eza Daily Nation, ate oluvannyuma mu lwa East African Standard, Kimenye yayagalwa wamu n'okuyambibwa abafulumya obutabo abaali baagala atandika okwetegerera, muneri y'okwagala okuzuula abawandiisi abaali bawandiika ebikwatagana ku baana ba Afrika. Wabula, akatabo kke akasooka , Kalasanda, kaali ka Oxford University Press (OUP), kaali kakwatagana kubulamu bwomukyala mu Uganda, nga kaagobererwa Kalasanda Revisited. Kyali kino oluvannyuma ekyamuviirako okutandika okuwandikira abaana ssaako n'amasomero.[3] Engero zze ebbiri ezaali zisooka kwaliko, Kalasanda ne Kalasanda Revisited, zaayagalwa nnyo. Wabula omukululo gwe gusinga kubeera mubutundu bwa ''the Moses series'' obukwatagana ku bayizi abalenzi abaali mu kisulo nga bakozi ba ffujo oba nga bamalako banaabwe emirembe.[7][6] Nga tanaba kufa, yafuna amawulire ng'akatabo ka Moses series bwekaali kagenda okutongozebwa ab'olupapula lwa OUP, ng'ate bagenda kukakyusa kateekebwe mululimi oluswayiri.[3]

Obutabo obwafulumizibwa

kyusa

Omwali ebituufu ng'era yasinziira ku byaliyo

kyusa
  •  

Obutabo bw'abaana

kyusa
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Moses Series

kyusa
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  1. James Murua, "Barbara Kimenye’s passing is just sad", jamesmurua.com, 19 September 2012. Retrieved 9 May 2014.
  2. Beatrice Lamwaka, "Kimenye’s ‘Moses’ still impacts", Daily Monitor, 29 September 2012. Retrieved 6 May 2014.
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 https://en.wikipedia.org/wiki/Milton_OboteJonathan Hunt, "Barbara Kimenye obituary. One of East Africa's most popular children's authors", The Guardian, 18 September 2012. Retrieved 6 May 2014.
  4. https://www.litencyc.com/php/speople.php?rec=true&UID=2501Elizabeth Fiona Oldfield, "Barbara Kimenye", The Literary Encyclopedia, 8 October 2007. Retrieved 6 May 2014.
  5. https://www.standardmedia.co.ke/?articleID=2000091053&story_title=barbara-kimenye-author-whose-works-remain-fresh-a-year-after-his-death&pageNo=1Kenneth Kwama, "Barbara Kimenye; author whose works remain fresh a year after her death", Standard Digital, 15 August 2013. Retrieved 9 May 2014.
  6. 6.0 6.1 https://archive.today/20140506134014/http://www.the-star.co.ke/news/article-686/barbara-kimenye-east-africas-bestselling-childrens-authorKhainga O'Okwemba, "Barbara Kimenye: East Africa’s Bestselling Children’s Author", The Star (Kenya), 27 September 2012. Retrieved 6 May 2014.
  7. John Mwazemba, "Writing lessons from Moses, the boy who hated authority", The EastAfrican, 29 September 2012. Retrieved 6 May 2014.