Barbara Mulwana

Munnayuganda yinjiniya w'ebyamasannyalaze era omukugu mu bya kkompyuta

Barbara Mulwana yazaalibwa c.1965 munayuganda eyakuguka mu by'amasanyalaze awamu ne mubya Kompyuuta, ye Ssentebe w'ekibiina kya Uganda Manufacturers' Association. Mu Ogwokutaano 2017, ye yaddira Amos Nzeyi, eyawummula ng'amazekko ebisanja bibiri. Era akola nga Omukulu w'ekitongole ekya "Nice House of Plastics", ekimu ku bitongole ebiri mu Mulwana Group of Companies.

Ebyafaayo n'okusoma

kyusa

Yazaalibwa mu Uganda awo nga mu 1965, eri Sarah Mulwana ne James Mulwana, eyali omusuubuzi era omutandisi w'amakolero mu Uganda, era mu kiseera kye eky'okufa yali omu ku bannagagga mu ggwanga.

Yattikirwa okuva mu Northwestern University mu Evanston, Illinois, mu United States ng'alina diguli esooka eya sayansi mu by'amasannyalaze ne Kompyuuta. Alina n'obukakafu bwa Electronic Document Professional (EDP), okuva mu Kellogg School of Management.

Emirimu

kyusa

Barbara Mulwana yakolanga nga Applications engineer mu Goodyear Tire and Rubber Companymu Akron, Ohio, okutuusa mu 1991. Mu 1991, yegatta ku Nice House of Plastics, kkampuni omugenzi kitaawe gyeyatandikawo era n'agikulira, ng'omukulu w'abakitunzi. Oluvannyuma, yakuzibwa n'afuuka Senkulu w'ekitongole . Mu Ogwokutaano 2017, yalondebwa okubeera Ssentebe w'ekibiina ky'ebannamakolero Uganda Manufacturers' Association, ekitongole ekisakira n'okuwabula era omwegattira amakolero agasoba mu 600 n'okubuulirira mu makolero ekikuŋŋaanya abakola n'amakolero g'abannayuganda agasoba mu 600.

Amaka

kyusa

Barbara Mulwana mufumbo era alina abaana basatu. Abawala babiri: Grace ne Sarah, n'omulenzi, James.

Ebirala ebitunuulirwa

kyusa

Muky. Mulwana atuula ku bukiiko bw'amakampuni g'obwa nannyini ne gavumenti mu Uganda: (1) Stanbic Bank Uganda Limited (2) Uganda Batteries Limited, memba wa Mulwana Group (3) Jesa Farm Diary, kkampuni endala eya Mulwana Group. (4) Jubilee Insurance Company Uganda Limited.[1][2][1][1]

Laba era

kyusa

Ebyawandiikibwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Two
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named One

Enkolagana ez'ebweru

kyusa