Bart Magunda Katureebe
[./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda Bart] Magunda Katureebe mulamuzi wa Uganda era eyali [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Chief_Justice Ssaabalamuzi] wa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda Uganda].[1] Yalondebwa ku kifo ekyo nga 5 March 2015.[2] Ekyo nga tekinnatuuka, yali mulamuzi wa kkooti ensukkulumu mu Uganda.[3]
Ensibuko n’obuyigirize
kyusaYazaalibwa nga 20 June 1950, ku kyalo Rugazi, mu Disitulikiti y’e Rubirizi mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Western_Region,_Uganda bugwanjuba] bwa Uganda, eri Yowana Magunda ne Virginia Ngonzi.[4] Yagenda mu somero lya Rugazi Pulayimale okusoma pulayimale okuva 1957 okutuuka 1962. Oluvannyuma yagenda mu St. Joseph Junior Secondary School e [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Mbarara Mbarara] okuva 1963 okutuuka 1964, ne Kitunga High School mu Disitulikiti y’e Ntungamo okusoma siniya yawansi okuva 1965 okutuuka 1968. Yagenda mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Namilyango_College Namilyango College], ekisulo ky’abalenzi bonna mu Disitulikiti y’e Mukono, okusoma siniya yawaggulu okuva 1969 okutuuka 1970. Nga wayise emyaka ena, yatikkirwa [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Bachelor_of_Laws diguli y'amateeka] mu yunivasite y’e Makerere.[5] Yagenda mu maaso n’afuna [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Legal_practice Dipulooma mu by’amateeka] okuva mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Legal_practice kitongole ky'amateeka] (Law Development Centre) mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda ekisinga obunene.[6][7]
Omulimu
kyusaOkuva 1975 okutuuka 1983, Katureebe yakola nga munnamateeka w’eggwanga mu minisitule y’ebyamateeka. Okuva1983 okutuuka 1988, yakola mu by’amateeka mu kifo eky’obwannannyini. Okuva 1988 okutuuka 1991, yaweereza nga omumyuuka wa minisita ow’enkolagana mu bitundu, oluvannyuma nga amyuuka minisita omubeezi ow’amakolero ne tekinologiya (1991 okutuuka 1992), ne Minisita w’eggwanga ow’ebyobulamu era mmemba w’olukiiko lwa National Resistance Council, akakiiko akakola amateeka mu kiseera ekyo (1992 okutuuka 1996). Okuva 1994 okutuuka 1995, yalondebwa nga mmemba mu lukiiko lwa Ssemateeka akiikirira Bunyaruguru County, Rubirizi District . Okuva 1996 okutuuka 2001, yaliko minisita w’ebyamateeka, ensonga za ssemateeka ne ssaabawolereza wa gavumenti.[8] Yaddayo mu by’obwannannyini mu 2001, n’afuuka omu ku baatandikawo ekibiina kya Kampala Associated Advocates.[9] Chambers Global yamulonda ng'omu ku bannamateeka abasinga mu Uganda mu 2004 era yaliko ne Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Vision Group (kampuni y’amawulire) era n’aweereza ku lukiiko olufuzi olwa Standard Chartered Bank Ltd.[10] Yalondebwa okuba omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko mu 2005. Nga 5 March 2015, yalondebwa ssabalamuzi. Nga 20 June 2020, yalamba olunaku lwe olwasembayo mu ofiisi nga Ssaabalamuzi wa Uganda era n’akwasa omumyuka we Alfonse OWiny-Dollo okukola nga Ssaabalamuzi.[11] Nga December 8, 2020 yalondebwa nga mmemba w’akakiiko k’ensi yonna ak’abakugu mu by’obusuubuzi mu kkooti ey’oku ntikko mu China (International Commercial Expert Committe of the Supreme Court of the People's Republic of China) ku ndagaano ey’emyaka ena, etambula okutuuka nga December 8, 2024.[12]
Ebirala by’olina okulowoozaako
kyusaKatureebe mufumbo era taata w’abaana mukaaga. Ono mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kitongole ekiramuzi.
Laba ne
kyusa- [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Government_of_Uganda Gavumenti ya Uganda]
- Ekibiina kyamateeka ekya Uganda
- [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Judiciary_of_Uganda Ekitongole ekiramuzi ekya Uganda]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
kyusa- ↑ The EastAfrican Reporter (5 March 2015). "Yoweri Museveni Finally Appoints New Uganda Chief Justice". The EastAfrican. Nairobi. Retrieved 7 March 2015.
- ↑ Wesaka, Anthony (5 March 2015). "Museveni Appoints Justice Katureebe As New Chief Justice". Daily Monitor (Uganda). Kampala. Retrieved 5 March 2015.
- ↑ JRUG (31 March 2013). "The Honourable Justices of the Supreme Court of Uganda". Kampala: Judiciary of the Republic of Uganda (JRUG). Archived from the original on 5 July 2015. Retrieved 5 May 2015.
- ↑ Kakaire, Sulaiman (6 March 2015). "Who is Justice Bart Katureebe?". Observer Media Ltd. The Observer. Archived from the original on 2 June 2021. Retrieved 29 May 2021.
- ↑ Vision Reporter (5 March 2015). "Who Is Bart Katureebe The New Chief Justice?". New Vision (Kampala). Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 5 March 2015.
- ↑ WesakaWesaka, Anthony (12 March 2015). "I Will Stop Infights, Corruption In Judiciary, Says Justice Katureebe". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 12 March 2015.
- ↑ Anthony Wesaka, Perez Rumanzi (6 March 2015). "The Task Ahead for Chief Justice Katureebe". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 6 March 2015.
- ↑ The Judiciary of the Republic of Uganda. "JUDICIARY LATEST FEATURES: Hon. Justice Bart Katureebe Profile". The Judiciary of the Republic of Uganda. The Judiciary of the Republic of Uganda. Retrieved 29 May 2021.
- ↑ Rickard, Carmel (1 July 2020). "UGANDA'S CHIEF JUSTICE BART KATUREEBE RETIRES, HEADS FOR HIS 'VILLAGE'". African Legal Information Institute. African Legal Information Institute. Retrieved 29 May 2021.
- ↑ Secretariat to the Standing International Forum of Commercial Courts. "In recognition of time in post of the Hon Chief Justice Bart Katureebe". Secretariat to the Standing International Forum of Commercial Courts. Secretariat to the Standing International Forum of Commercial Courts. Archived from the original on 2 June 2021. Retrieved 29 May 2021.
- ↑ "Katureebe hands over office to deputy". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-07-12.
- ↑ The Independent (9 December 2020). "Chinese supreme court hires retired chief justice Katureebe". Uganda Radio Network. The Independent. Retrieved 29 May 2021.