Bbayo Ggaasi ge maanyi agava mu busa bw'ente zaffe ze tulunda awamu n'embizzi ko n'enkoko. Bw'oba nga okozesa enkola eyo, oba okendeeza akazito akateereddwa ku bibira byaffe nga kino kiviirako n'obutonde bw'ensi okwonooneka. Mu nsangi zino ebibira bitemeddwa enku ne zifuuka za kkekwa ate nga za bbeeyi nnyo, n'abantu ne beeyongera obungi n'osanga nga okuzifuna kibeera kizibu. Mu byalo byaffe eyo abantu bagenze bakaddiwa n'amaanyi ne gabaggwa; abazzukulu bwe bakulamu beeyunira mu bibuga olwo n'osanga nga okwetuusaako ebikozesebwa kifuuka kizibu.

Awo nno enkola eyo ey'okweyambisa bbayo ggaasi yandyettaniddwa nnyo olw'emigaso nti ssinga olina ente, obusa bwazo buyingira mu kitogero nga bujama ate ne bufuluma nga buyonjo ne tufuna emmere y'ebisolo ebirala nga enkoko, ku ludda olulala ne tufuna amaanyi agafumba n'ettaala ate era n'ebigimusa by'omunnimiro zaffe nga ate ekyo kikolebwa mu kifo ekitali kigazi. Enkola eyo ejja kuyamba okuleetawo enkulaakulana eya nnamaddala eyettanirwa ennyo ennaku zino.