Betty Amongi

Munnabyabufuzi Omunnayuganda

 

Betty Amongi Akena, oba Betty Amongi Ongom, naye nga batera ku muyita Betty Amongi,munabyabufuzi Omunayuganda. Ye Minisita w'ekikula Ky'abantu, emirimu wamu n'ekulakulana y'ebintu[1] mu Kabineeti ya Uganda, okuva nga 9 Ogwomukaaga mu 2021. Mukusooka yali awereza nga Kabineeti Minisita w'e kibuga ekikulu ekya Kampala[2] ng'ate tanaba kugenda eyo, okuva nga 6 Ogwomukaaga mu 2016 okutuuka 14 Ogwekumineebiri mu 2019,yali awereza nga Minisita avunaanyzibwa ku By'ettaka amayumba n'enkulakulana y'ebibuga mu kabineeti ya Uganda.[3] Ye mubaka wa Paalamenti eyaliko wabula nebaddamu okumulonda okukiikirira Konsitituweensi ya Oyam eya Bukiika Kkono mu Paalamenti eye kumineemu okuva mu 2021 okutuuka mu 2026.

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Betty Amongi yazaalibwa mu Disitulikiti ya Oyam, mu bitundu bya Lango, mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, nga 15 Ogwekuminoogumu mu 1975.[4] Mu 1996, yagenda ku Yunivasite ye Makerere, gyeyatikirwa ne Diguli mu by'enjigiriza mu by'obufuzi n'okudukanya embeera z'abantu. Oluvannyumamu 2009, yatikirwa ne Diguli ey'okubiri mu by'enjigiriza mu bikwata kunsonga z'ensi yonna wamu n'eby'emisomo gy'ekikungu.[4]

Emirimu gye

kyusa

Betty Amongi baasooka okumulonda okugenda mu Paalamenti mu 2001 nga omukyala omubaka owa Disitulikiti ya Oyam, nga baddamu okumulonda mu 2006 nga tebanamulonda nga omukyala omubaka wa Paalamenti owa Oyam Ey'oubukiika kkono okuva mu 2011 okutuuka mu 2016.[5] My mungeri y'eby'ewunyo oluvannyuma lw'akalulu kw'obwa Pulezidenti n'ababaka ba Paalamenti nga 20 Ogwokubiri mu 2016, Pulezidenti Yoweri Museveni ow'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement, kyamuwa ogw'okubeera nga ye Minisita avunaanyizibwa ku By'ettaka, Amayumba wamu n'enkulakulana z'ebitundu by'emubibuga nga wadde yali alina akakwate ku kibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda People's Congress.[6]

Mu kukola enkyuka kyuka mu kabineeti nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, yaweebwa eky'okubeera kabineeti minisita w'ekibuga ekikuliu ekya Kampala n'akyusa ebifo ne Beti Kamya -Turwomwe eyafulibwa ow'Eby'ettaka, Amayumba wamu N'enkulakulana y'ebitundu by'omubibuga.[2]

Mu Gwomukaaga mu 2021, Amongi yaweebwa eky'okubeeeta Minisita avunaanyizibwa ku Kikula ky'abantu, emirimu wamu n'enkulakulana z'ebintu mu kabineeti eyali empya.

Ebimukwatako

kyusa

Nga 6 Ogwokuna mu 2013, Betty Amongi yafumbirwa Jimmy Akena, omubaka wa Paalamenti eyali akiikirira munisipaali y'e Lira, ng'era ye pulezidenti w'ekibiina ekivuganya gavuenti ekya Uganda People's Congress. Jimmy Akena nga mutabani wa Milton Obote, eyaliko Saabaminista wa Uganda emirundi ebbiri wamu n'okubeera Pulezidenti wa Uganda. Embaga eno eyali ey'obuwangwa yaliwo mu gombolola lya Minakulu, mu Disitulikiti ya Oyam ng'era yaliko ababaka ba Paalamenti 32. Pulezidenti Yoweri Museveni, nga mukwano w'abaagalana bano bombi, naye yaliyo ku mbaga eno.[7]

Laba ne bino

kyusa
  • Kabineeti ya Uganda
  • Paalamenti ya Uganda

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa