Betty Aol Ochan, Munnayuganda, musomesa era munnabyabufuzi nga yaweerezaako nga Akulembera oluddda oluvuganya Gavumenti mu Paalamenti ya Uganda okuva nga 3 Ogwomunaana 2018.[1][2] Yalondebwa Patrick Amuriat, Omukulembeze w'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), ekibiina ekivuganya Gavumenti ekisingamu ababaka mu Paalamenti eye 10 (2016–2021).[3][4]

Yaweerezaako nga Mmemba omulonde akiikirira Disitulikiti y'e Gulu mu Paalamenti ya Uganda eye 10.[5]

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Ochan yazaalibwa nga 28 Ogwekkuminebiri 1958. Yasomera ku Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene, nga yatikkirwa Dipuloma mu busomesa mu 1981. Mu 2006, Yafuna Diguli mu by'enkulakulana eya Bachelor of Development Studies okuva ku Yunivasite y'e Gulu. Diguli ye ey'okubiri mu by'enkulakulana eya Master of Development Studies yagifunira ku Yunivasite ya Uganda Martyrs University. Era alina Satifikeeti eziwerako mu Nkulakulana y'e bibuga, obukulembeze n'enkolagana mu bantu okuva mu matendekero ga kuno n'ebulaaya.[5]

Emirimu gye

kyusa

Nga tannegata ku byabufuzi, Ochan yali musomesa wa Siniya okuva mu 1981 okutuusa mu 1990. Ekitundu ky'akaseera ako okutuusa mu 1985, y'akamala mu Layibi College, ebiseera bye eby'obusomesa yabimalira ku ssomero lya Awere Secondary School.[5]

Mu 1990, yatwala omulimu gw'okukolera mu Kitongole kya Kenya ekitakola magoba ekya ACORD, nga Offiisi z'akyo zaali mu Gulu, nga yali akola nga akulira eby'enkulakulana okutuusa mu 1995. Oluvanyuma yaweereza nga akwasaganya Pulogulaamu z'ekigo kya St. Muritz Catholic Parish okumala ekyaka ebiri okutuusa mu 1997.[5]

Emyaka egyaddako omwenda okutuusa mu 2006, Ochan yali mmemba ku kakiiko ka Disitulikiti y'e Gulu . Mu 2006, yalondebwa okwegatta ku Paalamenti ya Uganda ku kaadi y'ekibiina kya FDC. Abadde mmemba wa Paalamenti okuva kw'olwo.[6]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa