Betty Nambooze

Munnayuganda munnamawulire era munnabyabufuzi

Betty Nambooze Bakireke, amanyiddwa nga Betty Nambooze, Munnayuganda, munnamawulire era munnabyabufuzi. Ye mubaka mu Paalamenti akiikirira ekitundu ky'obukiikakkono bwa Disitulikiti y'e Mukono mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.[1]

Betty Nambooze

Ebyafaayo n'obuyigirize bwe

kyusa

Nambooze yazaalibwa nga 13 Ogwomusanvu, 1969 mu Disitulikiti y'e Mukono. Yasomera ku Bishop's Senior Secondary School Mukono okutuusa mu mwaka gwa 1986.[2] Oluvannyuma yeegatta ku Law Development Centre gye yasomera Dipuloma mu byamateeka era n'agimaliriza mu mwaka gwa 1998. Mu mwaka gwa 2010, yafuna Dipuloma mu Development Studies okuva mu Uganda Matyrs University [1]

Obukugu bwe

kyusa

Nambooze yasooka okulondebwa okugenda mu lukiiko lw'eggwanga olukulu mu mwaka gwa 2010 mu kulonda okwaddibwamu. Yajjira ku kkaada y'ekibiina kya Democratic Party n'awangula Peter Bakaluba Mukasa eyali ajjidde mu kibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement.[3] Okusinziira ku bimukwatako mu lukiiko lw'eggwanga, Nambooze yakolako nga omusasi w'amawulire wakati w'omwaka gwa 1993 ne 2000. Okuva mu mwaka gwa 2000 okutuuka mu 2004, yakolako nga akwasisa amateeka. Okuva mu mwaka gwa 2004 okutuuka mu 2005, Nambooze yali akola nga akwasaganya ensonga z'abakozi ku mulimu. Yaweerezaako ku laadiyo wakati w'omwaka gwa 2000 ne 2009 era yali mwogezi w'ekibiina kya Democratic Party mu Uganda okuva mu mwaka gwa 2005 okutuuka mu 2010.[1][4]

Nga 24 Ogwokubiri, 2016, Nambooze yakwatibwa wamu n'omubaka eyali yaakalondebwa mu lukiiko lw'eggwanga, Moses Kasibante oluvannyuma lw'okwanika ebiwandiiko ebyali binnyonnyola obubbi bw'akalulu obwali bugenda mu maaso mu kulonda okwaliwo mu ggwanga.

Nambooze azze akawatibwa emirundi egiwerako ng'ateekebwako emisango egy'enjawulo egyekuusa ku byobufuzi naye n'okutuusa kaakano, tatwalibwangako mu kkooti y'amateeka yonna kusalirwa musango.[5][6][7]

Nga 13 Ogwomunaana 2020, Nambooze yalangirirwa nga Mmemba w'ekibiina kyeby'obufuzi ekya "National Unity Platform" nga beegatta mu maanyi n'omubaka wa Paalamenti "Kyagulanyi Sentamu Robert" amanyikiddwa nga "Bobi Wine" Omukulembeze w'ekibiina. Wamu ne bannakibiina abalala, Nambooze batumibwa ku mugendo ogwa "Mission 2021" omugendo ogwagenderera okusuuza ekibiina ekiri mu bukulembeze mu kulonda kwa 2021.[8][9]

Mukulonda kwa babaka mu 2021, Namboze yawangula ekisanja ekirala (2021-2026) okukiikirira Munisipalite y'e Mukono ku tiketi ya NUP oluvanyuma lw'okuwangula Mr George Fred Kagimu owa Democratic Party (DP) ne Abbas Ssozi owa National resistance Movement (NRM).[10][11]

 
Bakireke Nambooze Betty

Emirimu gye mu lukiiko lw'eggwanga olukulu

kyusa

Nambooze atuula ku kakiiko ka (a) Public Service and Local Government n'akakiiko ka (b) Local Government Accounts.[1]

Ebimukwatako ng'omuntu

kyusa

Mu mwezi gwa Museenene, 2002, Josephine Nambooze yafumbirwa Henry Bakireke gwe yali yasisisinkana mu ssomero nga basoma mu myaka gy'ekinaana (1980s). Bazadde era balina abaana abawerera ddala 26 nga mu bo, mulimu be bazaala n'abo be bayamba obuyambi.[2]

Laba ne

kyusa

Ebijulizo

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/Betty_Nambooze#cite_note-4
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/Betty_Nambooze#cite_note-11
  9. https://www.pmldaily.com/news/politics/2020/10/mp-nambooze-appeals-to-nup-losers-to-support-the-flag-bearers.html
  10. https://en.wikipedia.org/wiki/Betty_Nambooze#cite_note-13
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/Betty_Nambooze#cite_note-14