Bobi Wine

Munnayuganda omuyimbi, mulwanirizi wa ddembe, muzannyi wa Firimu era munnabyabufuzi

 

Kyagulanyi Sentamu aka Bobi Wine
Kyagulanyi Sentamu aka Bobi Wine

Robert Kyagulanyi Ssentamu ye mukulembeze w’oludda oluvuganya okulwanyisa gavumenti ya Uganda eya nakyemalira [1] ng'ayimba neku siteegi nga Bobi Wine . Yatandikawo ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform mu 2020. [2] Ku kakuyege gweyaliko e Luuka nga 18 ogwekuminoogumu mu 2020 yakwatibwa ng'era kigamba n'atulugunyizibwa, [3] ekyavaamu okwekalakaasa okw'amaanyi okwetoloola Uganda yonna ng'abantu abawera 54 beebatibwa. [4]Okulonda kwa bonna mu 2021 okwa pulezidenti wa Uganda okwaliwo nga 14 ogwoluberebere mu 2021 kwali kujuude obutabanguko [5] nga mulimu okwonoona ebintu eby'enjawulo. [6] [7] Akakiiko akadukanya eby'okulonda kaalangirira Yoweri Kaguta Museveni ng’omuwanguzi, ekintu banayuganda kyebaali bawakanya ekyavaamu, [8] Abamerika USA, [9] n'omukago gwa Bulaaya, [10] n’abakugu mu nsi yonna kye baawakanya. [11] Firimu eyitibwa "Bobi Wine: pulezidenti w'abantu" ekwata ku Kyagulanyi mu kiseera k'okulonda egenda kuba efulumizibwa mu kiseera ensi w'esinga okubeera ng'ebuguma mu 2023 ku Disney Plus. [12]

Obulamu bwe n'obuyigiriza kyusa

Kyagulanyi yazaalibwa mu ddwaaliro ly'e Nkozi, maama gyeyali akola ng'omuzaalisa. [13] Yakulira mu nzigotta z'e Kamwokya mu kitundu ky’obukiika kkono bw’obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [14]

Kyagulanyi yasomera mu Kitante Hill School, gye yafunira satifikeeti ye eya siniya ey'okuna mu 1996, wamu ne Kololo Senior Secondary School, gye yafunira satifikeeti ye eya siniya ey'omukaaga mu 1998. Oluvannyuma yagenda ku yunivasite y'e Makerere mu Kampala, gye yasomera muziki, amazina ne katemba, n’atikkirwa ne dipulooma mu 2003. Mu 2016, Kyagulanyi yaddayo mu yunivasite okusoma diguli mu by'amateeka mu yunivasite y'ensi yonna mu buvanjuba bwa Afrika. [15] [16]

Omulimu gw’okusanyusa abantu kyusa

Omulimu gw’okuyimba kyusa

Kyagulanyi yatandika omulimu gw'okuyimba mutandikwa y'emyaka gya 2000, n'afuna erinya lya BobiRob nga lyakozesa ku siteegi erinya eryali lyefananyiriza eky'ekikatuliki eryamuweebwa erya 'Robert' ng'okusikirizibwa kuno yakujja ku Bob Marley nga naye yali yatumibwa 'Robert'. Oluvannyuma yafuna erinya lya Bobi Wine ng'ely'okusiteegi. Ennyimba zze ennyimpi ezaasooka kwaliko; "Akagoma", "Funtula", ne "Sunda" (ng'ali ne Ziggy D) kyamuletera okumannyikwa mu kisaawe kya muziki wa Uganda.[15]Muziki we abasinga bamuyita okubeera ow'ekidandali, reggae, dancehall, ne afrobeat, ng'ebiseera ebisinga obubaka bubeera ku by'etoloodde abantu n'ebibakwatako. yeeyali akulembera ekibiinja kya 'Fire Base Crew'[17] okutuusa bwekyasaanawo,oluvannyuma n'atandikawo ekibiinja ekipya ekimannyikiddwa nga 'Ghetto Republic of Uganja'.[18] Afulumiza ennyimba ezisoba mu 70 mu myaka 15 egisembyeyo.[15]

Mu 2016, oluyimba lwe "Kiwani" lwatekebwa mu ffirimu ya Disney eya Queen of Katwe.[19]

Ekika ky'ennyimba Bobi Wine z'abadde atera okuyimba zibadde za kika kya 'Afrobeat'. Muziki wa Bobi Wine yali yatundibwa nga omugezi Kasiwukira ng'era yeyafuba ng'okulaba ng'agenda ku ddaala eddala. Yakikakasa okubeera nga yafuna lisiiti za bukadde 60 okuva mu muziki gweyatunda mu mwezi gumu okuva wa Kasiwukira. Alina omukutu gwa 'Youtube' okuli obukadde bw'abantu abasuka mu 10 abagiraba n'okugigoberera. Ategese ebivulu n'okusanyusa abantu, mu kwongereza kungeri y'abadde yeekubiramu obulango, nga bino byonna bimuleetera okuyingiza ensiimbi.Alina ne situdiyo ekolera abayimbi ennyimba mwajja ssente esinganibwa Kamwokya emannyikiddwa nga FireBase records.

Enngoobo ya 'Bobi Wine Edutainment' kyusa

Ekiwandiiko kino kikwata ku kika kya muziki ayigiriza n'okusomesa ekyatandikibwawo Wine mu 2006. Muziki yatondebwawo okusanyusa nga mw'ayisa obubaka obuyigiriza n'okusomesa, nadala eri abantu abali mumbeera embi eteeyagaza nadala munzigota za Kampala, nadala 'Ghetto'. Omu ku muziki ali mu pulojekiti eno mulimu "Ghetto" (fng'ali ne Nubian Li), "Obuyonjo," "Obululu Tebutwala," "Time Bomb," n'endala.

Obubaka obuli mu muziki ali mu pulojekiti eno bwali bugendereddwa kugenda eri banabyabufuzi, ng'abakubiriza okufaayo ennyo eri abanti abali mumbeera embi era nga tebalina abayamaba, wamu n'okukubiriza banaansi okubeera ab'obuvunaanyizibwa mu bintu byabwe gyebawangaalira. Ebintu byebasinga okutekako essira u muziki kwaliko; obuyonjo, eby'obulamu nadala mu kuzaala abaana abato okufuna embuto, abaana abato okufumbirwa, obutabanguko mu maka, akawuka ka mukeneya nendala.

Muziki wa yakwata nga nnyo ku bantu ng'era abajukiza ekyamukazisaako erinya lya omukulembezze w'enzigota "Ghetto President" nekimuyamba okuzimba ekifo eky'amaanyi mu by'obufuzi bwa Uganda oluvannyuma mu mirimu gye .[20] [21][22]

Omulimu gw'okuzannya ffirimu kyusa

Kyagulanyi era muzannyi wa ffirimu, ng'asinga kubeera ku za wano mu Uganda.[15] Mu 2010, yalondebwa okubeera omu kubazannyi mu ffirimu ya Cleopatra Kyoheirwe ey'omuzannyo gyebayita Yogera. Mu 2015, yalondebwa okukulembera mu ffirimu y'okuyamba eya Twaweza emannyikiddwa nga Situka ngali ne Hellen Lukoma.[23] Akoze ku ffirimu eziwerako omwali ne Divizionz.[24]

Bobi Wine alina pulogulaamu eri ku bulamu bwe eragibwa ku ttiivi eyatumibwa 'The Ghetto President'[25]

Emirimu gy'eby'obufuzi kyusa

Mu gwokuna mu 2017, Kyagulanyi yalangirira nga bweyali agenda okwesimbawo ku ky'obubaka bwa palamenti mu kulonda okwali mu konsitituweensi emu yokka ey'obuvanjuba bw'e Kyadondo ey'okujuza ekifo ekyal ekikalu. Okutambula lujji ku lujji ng'akola kakuyege w'okunoonya akalulu ky'asikiriza abantu mu Uganda n'ebweru w'eggwanga.[18][26] Yawangula okulonda kuno ng'akubidde wala abaali bamwesimbyeeko okwali: Sitenda Sebalu ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ekiri mu bufuzi ne Apollo Kantinti ow'ekibiina ekisinga okuvuganya ekya Forum for Democratic Change (FDC).[27][28][29]

Mu 2018, Kyagulanyi yayongera okufuna etutumu, ng'ayita mu kuyamba ku baali beesimbyeyo okujuza ebifo ebyali tebiriimu babikiikirira ng'akolera abaali beesiimbyeewo kakuyege nebakuba abaali beesiimbyeewo nga bagidde mu NRM ne FDC.

Ebyali mu by'akalulu ka Arua ak'okujjuza ekifo ekitalimu mukiise kyusa

Nga 14 ogwomunaana mu 2018, abawagizi b'omubaka wa palamenti eyajja ku bwa namunigira nga talina kibiina Kassiano Wadri kigambibwa baasiikiriza ne balumba oluseregende lw'emmotoka za pulezidenti Museveni mu kabuga k'omubukiika ddyo bwa Arua okulinaana Gulu. Emmotoka ya Museveni baagikuba amayinza, nekireetawo obutabanguko wakati b'eby'okweringa n'abaali beekalakaasa.[30] Oluvannyuma, Kyagulanyi, eyali asinga okwogerera Museveni amafuukuule yakyasanguza ng'ayita ku mikutu gye gimukwanira wala nga poliisi bweyali ekubye amasasi ku mmotoka ye ng'egenderedde, n'etta dereeva we. Kyagulanyi yali akakasiza Wadri eyali avuganya oyo Museveni gweyali ataddewo mu butongole mu .[31]

Kyagulanyi yakwatibwa nga 15 ogwomunaana mu 2018 ng'avunaanibwa olw'okubeera n'eby'okulwanyisa ebitaali mu mateeka wamu n'okukunga obweguguungo,[32] oluvannyuma yaleetebwa mu maaso g'ekkooti y'amaggye, n'avunaanibwa n'abaali baleteddwa egulo lumi olunaku olwaddako. Amawulire ga The Times gaafulumya nga Kyagulanyi bweyali alabika ng'eyali akubiddwa nga tanatwalibwa mu kkooti.[33] Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, munamateeka y'abadde akiikirira ababaka ba palamenti ababeera bakwatiddwa nebagalirwa mu makomera yagamba obulamu bwa Kyagulanyi embeera gyebwalimu yali yeeralikiriza, nga yali yeetaaga obujanjabi obw'omunambiro.[34] Gavumenti eyongedde okwegaana ebigambibwa okuba nga yali yamutulugunya. Kizza Besigye eyali akulira oludda oluvuganya yayita olukungaana lw'abanamawulire mweyasabira okuteebwa kw'ababaka abaali baakwatibwa.[35]

Obwegugungo bwebwatandika okweyongera mu Uganda nga busaba okuteebwa kwa Kyagulanyi, nekituuka n'okwongera ebugumu mu byali byogerwako mu palamenti ya Uganda, abasala emisango mu Uganda bagyayo byebaali bajuza nga byebavunaana Kyagulanyi omulundi ogw'okubiri gweyali alabiseeko mu kkooti y'amaggye gyebakirizaamu abantu nga 23 Ogwomunaana mu 2018. Abasala emisango baalaga nga bwebaaliu bagenda okufuna byebamuvunaana mu kkooti y'abantu babulijjo okusobola okuwozesa omubaka wa palamenti.[36] Ng'amazze okuteebwa, Kyagulanyi yaddamu n'akwatibwa nebamuvunaana mu kkooti y'abantu babuliijo olw'okulya munsi ye olukwe[37] Mu Gwomwenda mu 2018, Kyagulanyi, yateebwa ng'alindirira kuwozesebwa era n'atambula okugenda mu Amerika okujanjabibwa ebiwundu byeyali yafuna bweyali akwatiddwa n'agalirwa mu kkomera.[38] Gavumenti ya Uganda yawera abawagizi bbe okukola enkungaana ez'ekika kyonna okuviira ddala kulunaki lweyali atereddwa, n'okutuusa kulunaku lweyali agenda okukomawo ng'ava mu Amerika.[38][39] Oluvannyuma yayogerako eri abawagizi bbe mu lukungaana lwebaaliko wabweru w'amakaage bweyali akomyewo mu Uganda nga 20 Ogwomwenda mu 2018.[40]

Mu Gwomunaana mu 2019, Kyagulanyi yavunaanibwa ogw'okwagala okumalako mirembe okunyiza ssaako n'okweyisa ku pulezidenti Museveni mungeri embi, webaali mu Arua mu mwaka ogwali guyise.Okuvunaanibwa kwajja olunaku lumu oluvannyuma lw'okufa kwa Ziggy Wine, munayuganda mune eyali omuyimbi ng'era mwesiimbu eri Museveni, eyawambibwa abantu abatamannyikibwa nebamutulugunya.[41][42]

Okwegugunga nga bawakanya emisolo egyali gitereddwa ku mikutu gimukwanira wala kyusa

Nga 22 Ogwokuna mu 2019, Kyagulanyi yakwatibwa nebamugalira bweyai ayagala okugenda ku kivulu ekyali kitegekeddwa mu baala ly'obwa nnanyini erimu mu bukiika kkono bwa Kampala, ekyasazibwamu poliisi.[43] Baali bamulumiriza okubeera nga yakulembera okwegugunga mu kibuga mu mwaka ogwali guyise nga tafunye lukusa kuva eri poliisi; tokwegugunga kuno kwaliwo nga kuwakanya omusolo ogwali gutereddwa ku mikutu gimukwanira wala egyatandika mu Gwomusanvu mu 2018.[44][45] Nga 29 Ogwokuna mu 2019, bweyali agenda ku woofiisi ezikola ku by'okunoonyereza ku bumennyi bw'amateeka n'obuzi bw'emisango mungeri y'okuwa okuyitibwa kwe ekitiibwa n'okwogera ku by'okusazaamu ekivulu, Kyagulanyi neera baddamu nebamukwata era nebautwala mu kkooti ya Buganda Road, gyeyavunaanibwa okugaana okusa ekitiibwa mi mirimu gy'eggwanga n'amateeka era nebamusindika mu komera e Luzira okutuusa bweyagibwayo ng'alindirira kuwuliriza kuwozesebwa kwe nga 2 Ogwokutaano. Mu byayogerwa olunaku oluddako, ekibiina ky'ensi yonna ekirwana okulaba nga kikuuma eddembe ly'abantu, ky'asaba okuteebwa kwe mu bunaambiro, era nekikubiriza gavumenti ya Uganda ''okulekeraawo okukozesa mungeri eswaza okugezaako okusirisa oyo abeera agivumirira''."[46] Kulunaku lw'okuwozesebwa, lwakolebwa ku lukungaana olwali olwa vidiyo nga lwerwasokera ddala mu byafaayo by'amateeka ga Uganda, Kyagulanyi yakirizibwa okuteebwa, nga warindirira okuwozesebwa era n'ateebwa okuva mu kkomera, wabula ng'ekkooti yamuwera okubeerako okwegugunga kwonna kw'ategeka nga tekuli mu mateekawith the court also arring him from holding unlawful demonstrations.[47]

Okulonda kwa pulezidenti mu 2021 kyusa

Nga 24 Ogwomusanvu mu 2019, Kyagulanyi yalangirira nga bweyali agenda okwesimbawo mu ku londa kwa bonna ku bwa pulezidenti mu 2021.[48] Nga 22 Ogwomusanvu mu 2020, yalangirira nga bweyali yeegase ku kibiina ky'eby'obuvuzi ekimannyikiddwa nga National Unity Platform, era n'alondebwa okubeera pulezidenti wakyo era eyali agenda okukikwatira bendera ng'agenda okwesimbawo ku bwa pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwabonna okwali kugenda okubeerawo mu Gwokubiri mu 2021.[49] Kyagulanyi yali alondeddwa okwesimbawo mu woofiisi eyali esinga okubeera eyawagulu ey'okubeera pulezidenti nga 3 Ogwokuminoogumu mu 2020. Mu kaseera katono nnyo nga bamazze okumulonda, Kyagulanyi yakwatibwa poliisi y'amaggye.[50]

Nga 6 Ogwekuminoogumu mu 2020, yatongoza byeyali agenda okukola bweyali mu kakuyege e Mbarara mu bugwanjuba bwa Uganda nga bweyali agenda okwesimbawo oluvannyuma lw'abadukanya eggwanga okuyimiriza ekibiina kye ekya NUP webotolooza woofiisi zabwe ne poliisi wamu n'amaggye, nebamulemesa okutongoreza eyo byeyali agenda okukola nga bwebaali bakitegese.[51]

On 11veOgwekuminoogumu mu , Ssentamu was yakaatibwa mu disitulikiti y'e Luuka mu buvanjuba bwa Uganda n'agalirwa ku poliisi y'e Nalufenya mu Jinja okumala enaku satu. Okusinziira ku lupapula lw'amawulire olwa 'Daily Monitor', "Poliisi yawayiriza Omukulu Kyagulanyi olw'okubeeta n'abawagizi abasoba mu 200 abaali bakiriizbwa akakiiko akavuunaanyizibwa ku by'okulonda mu Uganda okusobola okutangira okusaasaana kwa Covid-19."[52]

His aatibwa kwe kwavirako okwekalakaasa okwali kwetoloodde eggwanga lyonna nadala mu bitundu bya la, Masaka, Jinja, Mukono, Mbale ne Wakiso. Wadde nga poliisi ya Uganda yali ekikatiriza nti abantu 54 beebaali batiddwa, abalwanirizi b'eddembe ly'abantu baali bagamba omuwendo gwalinya ngera kusuka mu bantu 100 abaali batemuddwa nga n'abalala baafuna ebisago.

Abantu abasuka 2000 beebakwatibwa nebagarirwa mu kkomera mu bwegugungo obwali buyitiridde.[53][54]

Omukuumi wa Wine, Francis Senteza yatibwa nga 27 mu Gwekumineebiri mu 2020, oluvannyuma lw'okutomerwa ekimmotoka kya poliisi y'amaggye. Yalumbibwa bweyali agezaako okutwala munamawulire eyali alumiziddwa n'omukka ogubalagala mungeri embi ennyo mu bukuubagano obwaliwo mukusooka wakati poliisi n'ekibinja ky'abawagizi ba Bobi Wine.Munamawulire omulala yafuna ebisago munsonga eno.[55]

Nga 16 Ogwolubereberye, akakiiko akavunaanyizibwa ku by'okulondesa mu UIganda kaalangirira nga Museveni bweyali awangudde okulonda n'obululu 58,6 ku 100. Wine yagaana okukiriziganya neebyali bivudde mu kulonda kuno, ng'agamba kwekukyasinze okubeera nga tekwali kwesiimbu mu byafaayo bya Uganda.[56]

Wine yagalirwa mu maka gge nga takirizibwa kutambula nga 15 Ogwolubereberye, akaseera katono nnyo oluvannyuma lw'okusuula akalulu kke ak'okulonda kwa bonna ak'obwa pulezidenti. Amaggye geetoloola amaka gge nga tegakiriza muntu yenna kuyingira oba kufuluma okumala enaku ezaali ziwerako, wadde Wine y'agamba nga ng'emere bweyali emuweddeko . Omubaka wa Amerika mu Uganda, Natalie E. Brown yali takirizibwa kukyalira wadde okumulekera emere, kuba amagye gaali gaziyiza okuseregendde lw'emmotoka zze.[57] Wine yateebwa nga 26 Ogwolubereberye oluvannyuma lwa kkooti ya Uganda enkulu okulagira ebitongole by'eby'ekwolinda okukomekereza okugalirwakwe mu nnyumba.[58] Nga 1 Ogwokubbiri, Wine yawakanya okulonda kwa 2021 mu kkooti, naye oluvannyuma yalagira banamateeka bbe okugyayo omusango ng'agamba abalamuzi baali bagenda kugusala mungeri etaali neesiimbu, oluvannyuma lw'omulamuzi omukulu okulabibwako mu bifannanyi ne pulezidenti Museveni, eyali agenda okukiikiriza ekibiina ekyali kiwawabibwa mu kkooti.

Emirimu gy'okuyamba abantu kyusa

Kyagulanyi ayambye pulojekiti ez'enjawulo ezitereddwa munkola okuyamba okulakulanya embeera y'abaavu.[14] Mu 2012, yatandika kakuyege kw'okutumbuula okwongera okulongoosa amalwaliro okwabuli kiseera, eby'obuyonjo, okukungaanya kasasiro oba obutamu mansa buli wamu n'okunaaba engalo okusobola okwewala enddwadde.[59] Vidiyo y'okumukutu gwa YouTube okuva mu Gwomwenda mu2012 eraga nga yeegase ku Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago mu kulongoosa Kamwookya, enzigota z'omulirwaano Kyagulanyi gyeyakulira.[59] Omwaka gwegumu, yawaayo ssente z'okuzimba kabuyonjo n'omukutu oguyaba okutambuza amazzi mu Kisenyi II, enzigota za Kampala olupapula lwa New Vision lwerwanyonyola okubera nga lwali lujudde obucaafu, obuzimbe obwazimbibwa obubi nga mubeeramu abantu abaavu, eby'obulamu obuyonjo nga bubi nga tebalina na buyambi bumala." Kyagulanyi yanyonyola nti yasalawo okukwata ku pulojekiti eno kubanga bano bantu bbe, nga wadde n'agenda wa, gano gajja kusigala nga ge makaage "[14]

Akubye ne kakuyege w'okulwanyisa omusujja gw'ensiri, ng'alina byeyawaayo mu ddwaliro lya Nakasongola Health Centre, wamu n'okulaga ebijuliziddwa eri obulwadde buno mu nnyimba zze.[60]

Mu Gwomunaana mu 2013, Kyagulanyi yakyalira enkaambi y'abanoonyi boobubuddamu mu disitulikiti y'e Bundibugyo ng'ali n'abakiise okuva mu kitongole ekyamba abaana ekya Save the Children, UNHCR, n'ekya Red Cross, tokuwaayo ssenye n'ebikozesebwa.[61] Mu mwezi ogwaddako, yatumibwa omubaka eyali amannyi eky'ekizadde aba Twaweza, ekitongole ky'obwanakyewa ekiteeka esira ku byenjigiriza n'okwenyigiramu kw'abanaansi mu Buvanjuba bwa Afrika; obubaka bwe mu nkolagana eno bwali bwakutumbuula omuzadde ow'obuvunaanyizibwa era afaayo eri abawagizi bbe abanayuganda. Mu kagyojigyoji w'ebibuuzo gweyabuuzibwa ku bikwatagana ku pulojekiti eno, yagamba nti, " eby'enjigiriza byebisobola okukyuusa entambula y'eggwanga era ng'omuyimbi ate nga taata, nzikiriza nti tusobola okuleetawo enkyuka kyuka mu by'okuyigiriza bw'abaana bafe."[62]

Mu 2014, Kyagulanyi yatuumibwa omubaka wa kakuyege eyali ow'okutaasa abaana ku lwabuli ombu, nga yeegata ku ttiimu y'abanayuganda abayimbi 14 abaakwata oluyimba olw'enjawulo ne vidiyo eyali ekwata ku by'okuzaalisa wamu n'eby'obulamu bw'abaana. Abayimbi abalala abaali mu vidiyo eno kwaliko; Jose Chameleone, Radio ne Weasel, abakola ekibiina kya Goodlyfe Crew.[63] Kyagulanyi ne mukyala we Barbara batambudde amalwaliro mangi okwetoloola Uganda omubadde eddwaliro ly'e Nakaseke, nga basisinkana abazaalisa n'abavunaanyizibwa ku by'obulamu okusobola okubunyisa kakuyege ono mu bantu.[60] Taasa abaana yamutwala mu bitundu ebirala ng'atambuza kakuyege ono omwali, ekifo ky'abanoonyi boobubuddamu ekya Nyumanzi Refugee Settlement mu Bukiika ddyo bwa Bugwanjuba bwa Uganda ku lw'abantu ba Sudan y'omu Bukiika kkono.[64] Esaawa eno, Bobi Wine yemuyima w'ekitongola ky'obwa nakyewa ekivunaanyiziba ku by'abawala n'abaana abazaala nga bato ekiyitibwa 'Caring Hearts Uganda', ekyatandikibwawo mukyala we Barbie Kyagulanyi. Ebikwata ku Caring Hearts Uganda - ekitongole ekitafa ku bya kukola magoba ku lw'ensonga z'obulamu bw'abakyala mu Uganda . Endaga ya Bobiwine eyalina okubeerawo nga 8 Ogwekumi mu 2022 yasazibwamu gavumenti ya UNITED ARAB EMIRATES olw'ensonga ezitategerekeka, bweyali yakatuuka yakwatibwa n'agalirwa ku kisaawe ky'e Dubai eky'ennyonyi okumala esaawa 10, wabula oluvannyuma yateebwa n'ayogerako eri abawagizi bbe, okwongerwayo kw'olulaga luno kwali kutegeeza nti banayuganda abaali bakonkomalidde mu United Arab Emirates baalina okukomezebwawo mu ggwanga lyabwe.[65]https://mobile.twitter.com/HEBobiwine/status/1578697821850476544[66]

Obutakaanya kyusa

Kyagulanyi ayogera butereevu ewatali kwekwekerera ku bikwatagana ku by'obufuzi n'ebeera y'abantu mu Uganda, ekiretawo obutakaanya.Okutuusa mu Gwolubereberye mu 2019, yalina obutakaanya obwali tebukoma ne munayuganda mune omuyimbi Bebe Cool, ayimbye mu kuwagira pulezidenti Museveni ne NRM, ng'ate Kyagulanyi abadde mu kuwagira oludda oluvuganya.[67][68]

Mu Gwomusanvu mu 2014, kyalangirirwa nti Kyagulanyi yali wakuyimbira mu Bungereza mu kifo ekiyitibwa The Drum Arts Centre mu Birmingham ne Troxy mu London.[69] Kino kyaletera okukiwera olw'ebigambo byeyali akozesa nga byogera ku buli bwebisiyaga.[70] Ebifo byombi byasazaamu okulabikako kwa Kyagulanyi.[71][72] Mu kiwandiiko ky'Ogwokutaano mu 2016 ekyali ku mukutu gwa 'Twitter' omwalimu okuwanyisiganya na'aba ULC Monastery LGBTI, ekibiina ky'abakiririza mu diini y'obukatuliki kyatumbuula okuwagira eri aba LGBT, Kyagulanyi yagamba nga bweyali avudde mungeri gyeyali awandiise eri abantu abalya ebisiyaga, naye nga teyalambululula bulungi nti oba endowooza zze eri abali b'ebisiyaga yali ekyuse.[73]

Mu 2015, Kyagulanyi yalwanirira obwakabaka bwa Buganda mulujude bwebwali busonda ssente ekintu ekyavumirirwa Sheikh Muzaata n'akyogerako ebigambo ebibi, nekitandikawo olutalo lw'ebigambo.[74] Kyagulanyi ebiseera esinga abadde amannyikiddwa nga Omubanda wa Kabaka ku lw'engeri gy'ali omwesimbu n'okwagala Kabaka wa Buganda.[75]

n AGwokupa mu 6, wheekyuma kya Uganda kyokka ekiyamba mu kujanjaba obulnadde bwa kookolo e Mulago mu Uganda bwekyayononeka, Kyagulaunyi yakulemberamu mu kubunyisa obutali bumativu bw'abantu kungeri abakungu gyebalwawo okwanukula kunsonga eno, n'avumirira ne gavumenti okubeera nga tefaayo wekituuka ku by'obulamu bw'abantu, n'avuganya abakulembezze b'eggwanga ku ky'okukozesa obulungi omusolo oguweebwa banaansi.[76][77]

Okuyita mu kaseera k'okulonda kwa 2015 ne 2016, Kyagulanyi esira ly'obubaka bwe yaliteeka ku bya kuwagira ndowooza za njawulo.[78] Omulanga gwa Kyagulanyi eri abantu gwali gwakakuyege wa kulaba nga gavumenti etereeza eby'obufuzi n'embeera y'abantu mu kulonda kwa 2016, n'ennyimba nga "Dembe", lwaleeta eneeyisa ezitali zimu okuva mu byali byetaagwa mu by'obufuzi bwa Uganda. Mu kaseera kano, ekitongole kya Uganda ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo kyegaana nga bwekyaali kiweze oluyimba lwa "Dembe" okuva ku mikutu gya leediyo.[79] Oluvannyuma lw'emyezi esatu ng'okulonda kuwedde, omubaka wa Amerika mu Uganda Deborah R. Malac yayaniriza Kyagulanyi ku kabaga k'abakungu akaali ku kitebe, n'agamba nti ono yali ayambye okukyusa abavubuka b'eggwanga.[80]

Gavumenti ya Uganda bweyagyako emikutu gimukwanira wala mu kaseera k'okulonda kwa 2016, Kyagulanyi yakoseza gw'obwanannyini ogwa virtual private network (VPN) okuwanikayo obutali bumativu eri okugalibwawo kw'eby'empuliziganya ku mukutu gwe ogwa 'Facebook' nga bw'alaga nga gavumenti bweyasigala ng'ekozesa emikutu gimukwanira wala gyebaali batandise.[81][82] Kyagulanyi oluvannyuma yalondebwa ng'omu ku baali bagenda okwogera kunsonga y'eddembe kulunaku lw'okwolesa eddembe World Press Freedom Day mu Kampala mu Gwokutaana mu 2016.[83] Mu Gwokusatu mu 2016, yalwanirira eddembe lyabanyimbi bane abamuvuganya okwolesa endowooza zaabwe nti Kyagulanyi nga ye taziwagira.[84]

Mu Gwomunaana mu 2020, Kyagulanyi yatwalibwa mu kkooti nga bamulumiriza okufulumya obubaka obukyamu, okwewandiisa ng'akoseza ekifannanyi ekitali kikye n'okukosesa ebipapula ebikyamu ebitali bibye.[85][86]

Nga 3 Ogwekuminoogumu mu 2020, Kyagulanyi yakwatibwa oluvannyuma lw'abavunaanyizibwa ku by'okulonda bwebamukakasa nga bweyali agenda okwesimbawo mu kulonda kwa bonna okwali kubinda binda Ekiwandiiko ku mukutu gwe ogwa Twitter kyali kigamba yakwatibwa mungeri y'obutabanguko wabweru w'ekifo webaali bamukakasiriza g'eyali agenda okwesimbawo, nebamuziba amaaso okumala akaseera katono era poliisi n'amaggye negamutulugunya.[87]

Obulamu bwe kyusa

Bweyali asoma ku yunivasite y'e Makerere, Kyagulanyi yasisinkana mukyala we, Barbara Itungo, nga mubiseera ebya yali muyizi mu siniya ey'omukaaga ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School. Embaga yabwe yaliwo mu gwomunaana mu 2011 oluvannyuma lw'emyaka 10 nga babeera bombi, ng'era balina abaana banna.[88] Kyagulanyi ne famire ye babeera ku kyalo Magere, mu disitulikiti y'e Wakiso, 'ng'era akakasa nti bagenda bonna okulima okusobola okufuna emmere, buli wetuba tusobola. Nga kino nkikola kubanga njagala bayige okubeera mubulamu obwabulijjo, ssi ng'obw'omwana w'omuntu omumannyifu."[89]

Nga 10 Ogwokubiri mu 2015, taata wa Kyagulanyi yafa oluvannyuma lw'okumala akabanga akawanvu ng'atawanyizibwa ekirwadde kya sukaali. [90] Ensonga zno n'okuziika kwasikiriza abakungubaze bangi nga muno mwemwali abakungu ba gavumenti ssaako n'abantu abalala abamannyifu.[91] Nga wayise omwezi gumu, Kyagulanyi yafulumya oluyimba oluyitibwa "Paradiso", olwalimu obubaka obwali bukubiriza abantu okwesiimiza bazadde baabwe nga bakyali balamu.[92]

Awaadi kyusa

Awaadi ne by'alondeddwamu kyusa

 

Engule endala kyusa

Ennyimba zze kyusa

Ennyimba zze ezigibwa ku mikutu.[97]

Entaambi
  • 2015: Bobi Wange
  • 2015: Hosanah
  • 2015: Kansubize
  • 2015: Ontabira
  • 2015: Sweet
  • 2018: Kyarenga
Ennyimba eenyimpi wamu n'empaanvu
  • 2015: "Ayagala Mulaasi"
  • 2017: "Freedom"
  • 2018: "Kyarenga"
  • 2019: "Tuliyambala Engule"
  • 2020: "Corona Virus Alert"

Ffirimu z'abaddemu kyusa

Ebujuliddwa kyusa

  1. https://www.dw.com/en/ugandas-yoweri-museveni-from-reformer-to-autocrat/a-56208696
  2. https://observer.ug/news/headlines/58803-can-people-power-change-uganda-s-political-fortune
  3. https://observer.ug/news/headlines/58803-can-people-power-change-uganda-s-political-fortune
  4. https://observer.ug/news/headlines/58803-can-people-power-change-uganda-s-political-fortune
  5. https://www.hrw.org/news/2021/01/21/uganda-elections-marred-violence
  6. https://v-dem.net/weekly_graph/35-years-of-museveni-uganda-s-2021-election-n
  7. https://ugandaradionetwork.net/story/attempting-to-fight-fake-news-ec-tweet-data-that-doesnt-add-up
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-23. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.blackstarnews.com/us-politics/policy/us-rejects-uganda-election-as-neither-free-nor-fair-and-slaps
  10. https://www.europarl.europa.eu/doceo/document/TA-9-2021-0057_EN.html
  11. https://www.bbc.com/news/world-africa-55689665
  12. https://whatsondisneyplus.com/national-geographic-acquires-bobi-wine-the-peoples-president/
  13. https://web.archive.org/web/20181113030020/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1426903/cardinal-wamala-singer-bobi-wine-set-nkozi-hospital-marathon
  14. 14.0 14.1 14.2 https://web.archive.org/web/20190110182446/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1306334/bobi-giving-hands-lifted
  15. 15.0 15.1 15.2 15.3 https://web.archive.org/web/20140929033408/http://www.eachamps.com/Bobi-wine.html
  16. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=508
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-25. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. 18.0 18.1 https://web.archive.org/web/20170501073305/http://allafrica.com/stories/201705010007.html
  19. https://itunes.apple.com/us/album/queen-of-katwe-original-motion-picture-soundtrack/1149485768
  20. https://hir.harvard.edu/who-is-bobi-wine/
  21. https://kenyanmoves.co.ke/bobi-wine-biography/
  22. https://kenyanmoves.co.ke/bobi-wine-biography/
  23. http://bigeye.ug/photos-bayimba-takes-situka-movie-to-mbale/
  24. https://variety.com/2008/film/reviews/divizionz-1200472176/
  25. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-18. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  26. https://www.bbc.com/news/live/world-africa-39261833
  27. https://web.archive.org/web/20170711202642/http://www.theeastafrican.co.ke/news/Ugandan-pop-star-Bobi-Wine-sworn-in-as-lawmaker/2558-4010194-w5nxspz/index.html
  28. http://www.the-star.co.ke/news/2017/06/29/ugandan-mucisian-bobi-wine-wins-kyadondo-mp-seat_c1588411
  29. https://web.archive.org/web/20170716010252/http://www.theeastafrican.co.ke/news/2558-4016126-2pdq28/index.html
  30. https://www.pmldaily.com/news/2018/08/you-will-pay-museveni-lashes-at-bobi-wine-wadri-over-arua-chaos.html
  31. "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-27. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  32. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1483629/bobi-wine-wadri-charged-treason
  33. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Times
  34. https://ntv.nation.co.ke/news/2720124-4718048-yf32tn/index.html
  35. https://www.aljazeera.com/news/2018/08/bobi-wine-arrest-uganda-180822144356189.html
  36. https://www.standardmedia.co.ke/article/2001293078/uganda-drops-charges-against-bobi-wine
  37. https://www.bbc.com/news/world-africa-45282125
  38. 38.0 38.1 https://www.theguardian.com/world/2018/sep/02/pop-star-politician-bobi-wine-reaches-us-after-uganda-torture
  39. https://www.cnn.com/2018/09/19/africa/bobi-wine-returns-after-treatment-intl/index.html
  40. https://www.theguardian.com/world/2018/sep/20/uganda-pop-star-politician-bobi-wine-returns-us
  41. https://www.dw.com/en/ugandas-bobi-wine-charged-with-annoying-the-president/a-49922185
  42. https://www.bbc.com/news/world-africa-49247860
  43. https://www.theguardian.com/world/2019/apr/22/uganda-police-detain-bobi-wine-fire-teargas-fans
  44. https://www.the-star.co.ke/news/2018-07-11-bobi-wine-leads-ugandans-in-protest-against-social-media-tax/
  45. https://www.aljazeera.com/news/2019/04/ugandan-pop-star-opposition-mp-bobi-wine-arrested-190429153709250.html
  46. https://www.amnesty.org/en/latest/news/2019/04/uganda-detention-of-bobi-wine-is-a-shameless-attempt-to-silence-dissent/
  47. https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/Ugandan-court-grants-Bobi-Wine-bail/4552908-5097530-qmi8ysz/index.html
  48. https://www.voanews.com/africa/ugandas-bobi-wine-formally-announces-presidential-bid
  49. https://www.softpower.ug/2021-polls-bobi-wine-to-run-for-presidency-under-national-unity-platform-political-party/
  50. https://www.youtube.com/watch?v=rUETRakzDic
  51. https://web.archive.org/web/20210120030502/https://www.fastobserver.com/2020/11/bobi-wine-to-unveil-manifesto-in.html
  52. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/bobi-wine-arrested-in-luuka-3202494
  53. https://www.washingtonpost.com/world/africa/uganda-protests-bobi-wine/2020/11/20/efe106ec-2aa6-11eb-9c21-3cc501d0981f_story.html
  54. https://apnews.com/article/bobi-wine-kampala-health-elections-coronavirus-pandemic-5e0f669f868431ace6102162b7fa4e8a
  55. https://www.aljazeera.com/news/2020/12/27/uganda-bobi-wine-says-bodyguard-kill-in-election-violence
  56. https://www.aljazeera.com/news/2021/1/16/ugandas-museveni-declared-winner-of-presidential-election
  57. https://www.cnn.com/2021/01/19/africa/us-embassy-uganda-wine-intl/index.html
  58. https://www.cnn.com/2021/01/26/africa/bobi-wine-free-house-arrest-intl/index.html
  59. 59.0 59.1 https://www.youtube.com/watch?v=7LbIBheR83c
  60. 60.0 60.1 http://bigeye.ug/bobi-wine-campaign-malaria/
  61. http://bigeye.ug/bobi-wine-in-bundibugyo-charity-drive/
  62. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1332863/bobi-wine-appointed-parenting-ambassador#.VFNm8mzeZTQ.mailto
  63. https://web.archive.org/web/20180825002910/https://everyone.savethechildren.net/articles/leading-music-artists-produce-new-campaign-song-uganda
  64. http://www.newvision.co.ug/news/655590-bobi-wine-thrills-south-sudanese-refugees.html
  65. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-14. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  66. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-07. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  67. http://bigeye.ug/bebe-cool-fans-forsake-him-over-politics-and-join-bobi-wine/
  68. http://bigeye.ug/bebe-cool-fans-forsake-him-over-politics-and-join-bobi-wine/
  69. http://www.pinknews.co.uk/2014/07/24/anti-gay-ugandan-singer-due-to-perform-in-birmingham-and-london
  70. http://chimpreports.com/?p=551
  71. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-15. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  72. http://www.birminghammail.co.uk/news/midlands-news/drum-arts-centre-aston-cancels-7525289
  73. https://twitter.com/ULCMLGBTI/status/735354249186578432
  74. http://www.chimpreports.com/bobi-wine-warns-of-war-with-muzaata/
  75. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-28. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  76. http://www.monitor.co.ug/News/National/Mulago-cancer-machine-breaks-down/688334-3150556-mf9f3i/index.html
  77. https://web.archive.org/web/20171030150642/http://mycampusjuice.com/2016/04/11/bobi-wine-to-raise-money-for-cancer-machine/
  78. http://www.howwe.biz/news/entertainment/10661/bobi-wine-has-today-been-interviewed-by-bbc-world-service
  79. http://www.monitor.co.ug/News/National/UCC-denies-banning-Bobi-Wine-Dembe-song/688334-3020230-x8mwqf/index.html
  80. http://bigeye.ug/bobi-wine-and-his-wife-hang-out-with-us-ambassador/
  81. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-25. Retrieved 2022-11-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  82. https://www.facebook.com/www.bobiwine.ug/posts/10154606144658012
  83. https://web.archive.org/web/20160506005857/http://chimpreports.com/entertainment/ugandan-artistes-criticize-state-limitation-of-their-expression/
  84. http://www.monitor.co.ug/News/National/Spare-artistes-from-boycott--Bobi-Wine-appeals-to-Besigye/688334-3110204-3bs28vz/index.html
  85. https://observer.ug/news/headlines/66379-bobi-wine-summoned-by-court-over-altered-date-of-birth
  86. https://www.newvision.co.ug/news/1526705/ruling-bobi-wine-age-case-september
  87. https://www.theguardian.com/world/2020/nov/03/ugandan-singer-bobi-wine-arrested-after-confirmation-as-election-candidate
  88. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-15. Retrieved 2023-06-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  89. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1309518/bobi-wine-rough-musician-smooth-father
  90. https://web.archive.org/web/20171023120109/http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/Bobi-Wine-father-passes-on/812796-2619324-i7awa8z/index.html
  91. http://www.monitor.co.ug/News/National/Politics-Bobi-Wine-father-laid--rest/688334-2622250-9e469c/index.html
  92. https://web.archive.org/web/20180823141842/http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/Bobi-hosts-fans-at-Paradiso-release/-/812796/2654454/-/format/xhtml/-/9mriec/-/index.html
  93. https://www.africanews.com/2019/01/01/uganda-s-bobi-wine-is-2018-africanews-personality-of-the-year//
  94. https://foreignpolicy.com/2019-global-thinkers/
  95. https://www.tuko.co.ke/310073-bobi-wine-receives-prestigious-international-humanitarian-award.html
  96. https://www.freiheit.org/pressemitteilung/hon-robert-kyagulanyi-ssentamu-bobi-wine-honoured-freedom-prize
  97. https://en.wikipedia.org/wiki/Spotify