Brian Aheebwa

Brian Aheebwa yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 1 mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 1998, nga munayuganda azannya omupiira mu ttiimu ya KCCA FC mu liigi ya Uganda eyababinywera oba giyite Uganda Super League wamu ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga emannyikiddwa nga "Cranes", era nga muteebi.[1][2]

Obulamu bwe ng'omuvubuka

kyusa

Ku myaka emito ddala yaliko ku somero lya St. John Bosco Seminary School, nga mu mwaka gwa 2014, yeegata ku akademi ebangula omupiira gyebayita Mbarara Sports Academy okutuusa mu mwaka gwa 2016.[2]

Kiraabu z'azze azaanyiramu

kyusa

Kiraabu ya Mbarara FC okuva mu mwaka gwa 2016 okutuusa omwaka gwa 2020

kyusa

Aheebwa yeegata ku kiraabu ya Mbarara City FC mu mwaka gwa 2016 oluvannyuma lw'okusumusibwa aba akademi ya ya 'Mbarara Sports Academy' gyeyali ayigidde okuzannya omupiira. Yateeka omukono kundagaano ya myaka 4 oluvannyuma lw'okwegata ku kiraabu ya Mbarara City FC, nga mu mwaka gwa 2016, yeeyasinga okulengera akatimba mu kbiinja eky'okusatu oba giyite 'Regional League' nga yateeba ggoolo munaana.[3] Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu kibiinja eky'okubiri oba gy'oyinza okuyita 'Big League' mu mwaka gwa 2017 ng'azannyira Mbarara City FC webaali battunka ne kiraabu ya Kireka United FC. Yateeba ggoolo ye eyali esooka webaali battunka ne kiraabu ya Masavu FC mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2017.[4] Ng'enaku z'omwezi 9 mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2017 yateebera kiraabu ye eya Mbarara City FCggoolo nnya webaali bazannya Nyamityobora FC.[4][3] Yateeba ggoolo 39 mukaseera keyamala ng'azannyira kiraabu eno eya Mbarara City FC gyeyamalako emyaka enna.[2]

Kiraabu ya KCCA FC

kyusa

Mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2020, yeegata ku kiraabu ya KCCA FC gyeyateera omukono kundagaano ya myaka 3.[5][6] Ng'enaku z'omwezi 3 mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2020, yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka ku ttiimu ya KCCA FC webaali battunka ne kiraabu ya Bright Stars FC.[7] Yateeba ggoolo ye eyali esooka ng'ali ne K.C.C.A FC, mu mupiira, K.C.C.A FC gweyawangula ggoolo 2–1.[8]

Obulamu bwe

kyusa

Aheebwa yazaalibwa enaku z'omwezi nga 1, mu mweiz ogw'omusanvu mu mwaka gwa 1998, mu disitulikiti y'e Kibale. Yasomera ku Kahunde Primary School, St. John Bosco Seminary Secondary School erisingaanibwa e Hoima, nga tanaba kwegata ku St. Kirigwajjo Secondary School gyeyatuulira ebibuuzo bya siniya ey'okuna (S.4). Wakati w'omwaka gwa 2014, n'ogwa 2015, Aheebwa yaweebwa ekifo mutendekero lya Mayanja Memorial Medical Training Institute gyeyatikirwa ne satifikeeti mu by'obusawo ng'era ono musawo asobola okujanjaba.[4]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230529031009/https://www.kccafc.co.ug/player/brian-aheebwa/
  2. 2.0 2.1 2.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221207181147/https://www.the-sportsnation.com/2020/08/02/official-kcca-fc-unveils-brian-aheebwa/
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/aheebwa-kcca-clinical-officer-practising-the-science-in-front-of-goal-3228310
  4. 4.0 4.1 4.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/aheebwa-kcca-clinical-officer-practising-the-science-in-front-of-goal-3228310
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://kawowo.com/2020/07/01/striker-aheebwa-on-break-even-career-moment-at-kcca/
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://kawowo.com/2020/07/01/striker-aheebwa-on-break-even-career-moment-at-kcca/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.footlive.com/score/bright-stars-fc-vs-kcca-fc-2020-12-03/