Disitulikiti y'e Bugweri ye disitulikiti esangibwa mu bwa Kyabazinga bwa Busoga mu buvanjuba bwa Uganda . [1] [2] Disitlikiti eno esalagana ne disitulikiti okuli Bugiri, Iganga, Mayuge, ne Namutumba era nga yatandika emirimu mu butongole nga 1 Ogwomusanvu 2018 oluvannyuma lw'okusalwa ku Iganga disitulikiti . Bugweri ekolebwa amagombolola 8 okuli Namalemba, Buyanga, Busesa, Idudi, Ibulanku, Makuutu,Igombe ne Busembatia. Bugweri erimu abantu emitwalo 212,204 okusinziira ku byava mu kubala abantu okwaliwo mu mwaka 2024.[3] Bugweri ekiikirirwa ababaka babiri mu paalimenti era nga bano kuliko Hon Abudu Katuntu akulira akakiiko akakwasisa empisa mu paalimenti n'omuyimbi era munnabyabufuzi Racheal Magoola.[4]

Katuntu Abdu, Bugweri County Bugweri (Independent)
Katuntu Abdu, omubaka akiikirira Bugweri County Bugweri mu paalimenti
Omubaka omukyala owa Bugweri Racheal Magoola

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.pmldaily.com/news/2018/08/nrm-releases-roadmap-for-primaries-in-new-districts.html
  2. https://www.softpower.ug/nrm-sets-nov-21-to-hold-primaries-in-new-districts/
  3. https://www.ubos.org/wp-content/uploads/publications/National-Population-and-Housing-Census-2024-Preliminary-Report.pdf
  4. https://busogatoday.com/bugweri-district-demands-two-more-constituencies/#:~:text=With%20eight%20sub%2Dcounties%20of,Abudu%20Katuntu%20and%20Racheal%20Magoola.