Abaganda balina empisa ze baayitirangamu okweyamba bo bennyini nga ssekinnoomu ate ne bonna ng’ekitole. Ka twogere ku mpisa ey’okuyambagana olw’obulungi bwa buli omu, eyakazibwako bulungibwansi.

Ebyafaayo

kyusa

Bulungibwansi y’emu ku nkola eyali entereeze obulungi era ng’abantu mu Buganda bagiwuliriramu awali kuwalira. Buli kyali mu Buganda kwabangako Omwami waakwo avunaanyizibwa okulaba emirimu gya Beene nga bwe gitambula era ono ye yavunaanyizibwanga ku kukuddukanya omulimu guno. Egimu ku mirimu egyakolebwanga okuyitira mu nkola eno mwe muli okuyonja oba okugogola enzizi n’okulima enguudo. Bino bye by’okulabirako bye tugenda okwogerako wano.

Ka tusooke n’okugogola enzizi. Okuva edda ng’abantu babeera n’oluzzi oba enzizi ku kyalo kwe babeera. Gwabanga mulimu gw’abantu abakima ku luzzi olwo okulaba nga luyonjo era nga luyonjebwa bulungi. Ekiseera bwe kyatuukanga okuyonja oba okugogola oluzzi, omwami w’ekyalo ng’ateesa olunaku omulimu guno lwe gunaakolebwa. Omwami ono yabeeranga n’eŋŋoma; yafunanga awantu w’ayinza okugikubira n’ewulikika bulungi ku kyalo kyonna. Eŋŋoma eno y’eyo emanyiddwa nga Saagalaagalamidde. Eyitibwa bw’etyo kubanga bwe yakubwanga nga by’ebigambo “by’eyogera.”

 
Engoma (drums)

Eŋŋoma

kyusa

Buli muntu yenna bwe yawuliranga eŋŋoma eyo ng’amanya bumanya nti waliwo omulimu ogw’okukola. Era ng’eŋŋoma bw’owulira eddoboozi lyayo, nga tewaba muntu asuubirwa kugalamira oba kwebaka ng’evuze. Yakubibwanga ku makya ddala ku ssaawa abantu we bagendera oba we batandikira okukola emirimu. Ekiseera bwe kyabanga kya kugogola luzzi nga abantu beetegeka amangu ago: akutte ejjambiya, enkubi, najjolo n’ebiringa ebyo nga banguwako mangu okugenda ku luzzi. Olw’okubanga baakoleranga wamu ate nga bangi ng’omulimu gwanguwa era nga bwe bamala ate badda eka ne badda ku gyabwe.

Okulima enguudo

kyusa

Enkola endala eya bulungibwansi ye y’okulima enguudo. Edda, mu bukulembeze bwa Buganda, buli muntu ku kyalo gy’abeera yabeeranga n’ekitundu ky’alina okulimanga buli lwe kimeramu omuddo ku luguudo olunene oluyita mu kitundu kye. Ekintu ky’oluguudo olwo omuntu kye yavunaanyizibwangako okulima nga kiyitibwa enguudo. Enguudo eyo yabeeranga n’obuwangu bwa yaadi nga kkumi. Buli muntu yabeeranga amanyi bulungi enguudo ye w’eri era bwe yabanga yeerabidde nga banne basobola bulungi okumujjukiza. Si kugamba nti omuntu yaweebwanga nguudo eri ku kibanja kye, nedda, kubanga si buli muntu nti yabeeranga kumpi n’oluguudo olunene. Okufaananako n’okugogola oluzzi, omwami w’ekyalo oba omutongole bwe yalabanga ng’omuddo gumeze ku luguudo ng’ateesa olunaku abantu lwe banaalima enguudo zaabwe. Yakeeranga ku makya n’akuba Saagalaagalamidde era ng’abantu buli omu abaka nkumbi, najjolo, jjambiya n’ebiringa ebyo kugenda kulima nguudo zaabwe.