Disitulikiti ya Busia
Disitulikiti ya Busia eri mu buvanjuba bwa Uganda.
Busia District | |
---|---|
District | |
District location in Uganda | |
Country | Uganda |
Region | Eastern Region of Uganda |
Capital | Busia |
Obugazi | |
• Land | 730.9 km2 (282.2 sq mi) |
Abantu (2012 Estimate) | |
• Total | 297,600 |
• Ekibangirizi n'abantu | 407.2/km2 (1,055/sq mi) |
Saawa | EAT (UTC+3) |
Website | www |
Wekisangibwa
kyusaBusia egatta ensalo ne Disitulikiti ya Tororo mu mambuka, County ya Busia, Kenya mu bukiika ddyo, Disitulikiti ya Namayingo mu maserengeta, ne mu bugwanjuba bw'amaserengeta, ne Disitulikiti ya Bugiri mu bugwanjuba. Busia, Uganda, ewali ekitebe kya Disitulikiti eno, wali mu buwanvu bwa 35 km (22 mi) ng'oyise ku luguudo mu maserengeta ga Tororo, nga ky'ekibuga ekisinga obunene ekirinaanyewo.[1]
Obungi bw'abantu.
kyusaMu kubala kw'abantu bonna mu ggwanga okwa 1991, obungi bw'abantu mu disitulikiti bwateberezebwa okuba mu 163,600. Mu 2002, okubala kwabantu okwa bonna mu ggwanga kwatebereza obungi bw'abantu okuba mu bungi bwa 225,000. Mu 2012,mu masekkati g'omwaka, obungi bw'abantu bwali buteeberezebwa okuba mu bantu 297,600.[2]
Abantu abamanyifu.
kyusaAbamu ku bantu abamanyifu okuva mu disitulikiti ya Busia be bano wammanga;
- Aggrey Awori -, Yaliko Mminisita w'amawulire ne Ttekinologiya (2009-2011)
- Barbara Nekesa Oundo, Yaliko siteeti mminisita ow'ebya Karamoja era nga y'akiikilira abakyala ba disitulikiti ya Busia mu paaliyamenti (okuva mu 2011)
- Benjamin Joseph Odoki, Yaliko ssaabalamuzi wa Uganda
- James Munange Ogoola, Yaliko omulamuzi owenkizo owa Uganda
- Denis Onyango, Mukwasi wa ggoolo mu mupiira ogw'ebigere omunaYuganda ali ku mutendera ogw'ensi yonna.
- Gabriel Opio, Yaliko mminisita wa ekikula ky'abantu, eby'obuwangwa n'abakozi (2009-2011)
- Fred Wabwire-Mangen, ppulofeesa wa epidemiology, mu Makerere University School of Public Health
- Erasmus Desiderius Wandera, musumba mu ekereziya katulika, mu busumba bwa Soroti (1980-2007)
- Kevinah Taaka Wanaha Wandera, yaliko omukiise mu paaliyamenti ng'akiikirira Munisipaali y'eBusia (2011-2016)
- Barnabas Nawangwe, Pulofeesa wa Architecture era nga ye amyuka Chancellor wa Makerere University
Ebyenkizo
kyusaBino wammanga by'ebyenkizo mu disitulikiti:
- Omwalo gwa Majanji ku nnyanja Nnalubaale gumanyikiddwa lwa byennyanja, era nga ye emmere esinga okuliibwa mu disitulikiti eno.
- Ekibira kya Busitema ekiri ku bugazi bwa 25 km2 (10 sq mi); Kiyawulwamu wakati oluguudo olukulu oluli wakati wa Uganda ne Kenya mu Busia.
- Busitema University Eno Yunivaasite ya gavumenti era nga eri mu eno disitulikiti.
Laba ne bino.
kyusaEbijuliziddwa.
kyusaLua error: Invalid configuration file.