Busitema University
Ssetendekero wa Busitema
kyusaEno y'emu ku zi ssetendekero za gavumenti ya Uganda omunaana era nga yatandikibwawo mu mwaka 2007. Ssetendekero eno esangibwa mu buvanjuba bwa Uganda mu era nga erina amabanguliro agawerera ddala mukaaga agasasaanidde mu bitundu ebyenjawulo mu buvanjuba bw'egwanga. Ebbanguliro lya ssetendekero ono ekkulu lisangibwa mu kitundu ky'eBusitema mu disitulikiti y'e Busia ku luguudo oluva e Jinja okudda ku nsalo ya Uganda n'egwanga lya Kenya e Malaba. Ssetendekero Busitema egaba ebiwandiiko ebyobuyigirize omuli zi ssatifikeeti, dipulooma, diguli ezisooka, diguli ez'okubiri gattako n'ezokusatu mu masomo agenjawulo ag'ebyasaayansi