Gye kisangibwa

kyusa

Olujegere lw'obuzinga olumanyiddwa nga Buvuma Islands lulimu obuzinga obusukka mu makumu ataano era nga busangibwa kiro mita ntono nnyo okuva ku lubalama lw'ennyanja Nnalubaale, Yuganda mu Napoleon Gulf. Buvuma eteeberezebwa okubeera mu kiro mita 25 (16 mi), ku mazzi, mu Bukiikaddyo bw'ekibuga ekikulu ekya Jinja, era Kilomitaazi 90 (56 mi), mu Bubukiikaddyo bw'obuvanyuba bw'ekibuga ekikulu ekya, Kampala. Kyekimu ku bitundu ebinene aby'omu Buganda, kyali kitwalibwa nag ekitundu ku Mukono naye oluvanyuma yakyusibwa Gavumenti ya Uganda okufuuka Disitulikiti eyetongodde.

 
Endabika y'akazinga k'eBuvuma

Enyinyonyola

kyusa

Akazinga akakulu Buvuma, nga kali ku buweege bw'ettaka bwa mailo 200, n'obungi bw'abantu 20,000. kyebulunguddwako ekibira, era nga kijjumbirwa abalambuzi abatalina kutya. Ekibira kisalibwa era ne kyokebwa okufunamu amanda wakati w'amaato asatu olunaku okutundibwa mu kibuga kya Jinja. waliwo ebibira abiri mu mukaaga ebyayawulibwa okubeera eby'obulambuzi mu Buvuma.

Ebyentambula n'ebyobulamu

kyusa

Waliwo ekidyeri ekikutuusa ku lukalu. Waliwo n'akaato akenkasi okuva eKiyindi, omwalo omukulu oguli ku lubalama lw'enyanja Nnalubaale. Amaato agasaabaza abantu buli lunaku okuva ku buzinga okutuuka e Masese, omwalo ogulinaanye Jinja. Waliwo amalwaliro abiri, naye tekuli masanyalaze ku kazinga. okubongoota n'ekivvu nsonga za kumwanjo nnyo. olw'ekitundu okuba nga kyonna kikozesa ku mazzi ga nnyanja, ate nga elumbibwa obuwuka, abajikozesa bolekera okukwatibwa ekirwadde kya Bilharzia.

 
Endabika y'ekidyeri ky'eBuvuma

Ebyenfuna

kyusa

Ekitundu kirimu obwavu bungi okusinziira ku bitundu ebirala ebya Uganda kubanga ebyetaago ebiweerezebwaayo binyagibwa nga tebinnatuusibwa ku kazinga. 

Amazzi gajjudde ebyenyanja era abatuuze b'eBavuma n'aBasoga basajja bavubi. 

Mu 2012, Kampuni ekola butto eya Bidco Palm Oil Limited, ya yanja enteekateeka y'okutandikawo yiika 16,000 ez'esamba ly'abinazi n'ekkolero elifulumya butto, okutandiika mu mwaka gwa 2013. Ne yiika endala 8,600, mu nteekateeka y'abapakasi, enkola ya pulojekiti ya Bidco Palm Oil Project ku kazinga k'eBuvuma esuubirwa okusimba yiika 25,000, nga emmaliriza.

Ebyenjigiriza n'eddiini

kyusa

Abataka abasinga tebaasoma era teboogera lungereza.

Kimu kyakusatu mu batuuze Basiraamu, kimu ku bisatu bakkiriza omwenkanonkano, kimu kyakusatu bakulisitaayo. Pulojekiti esinga okukola eyabamisani yeyitibwa Youth With A Mission (YWAM) ku kazinga ka Lingira. Balina ebyobulamu ebisookerwako ne Pulojekiti y'ebyekulakulana ebadde etambula okuva mu 1991.  Ku kazinga k'eBuvuma, ab'ekibiina kya World Gospel Mission kikola okugema kw'abaana, Pulojekiti z'amazzi, batendeka abakyala abazaalisa, era bavujirira essomero lya Pulayimare.

Abakiikirira mu Paalamenti

kyusa
 
Robert Migadde

Omukiise mu Paalementi akiikirira Buvuma okuva mu 2001-2006 ne 2006-2011yali William Nsubuga. Yadda mu bigere bya John Richard Wasswa eyalekulira okuva mu 1996 okutuuka mu 2001. Mu 2011 Migadde Robert Ndugwa yalondebwa okudda mu bigere bya Nsubuga. Mu 2016, Migadde Robert Ndugwa yaddamu nalondebwa ku kisanja ekyokubiri ekyakoma mu 2021.

Obutonde n'okutema emition

kyusa

Obuzinga bwakolebwa enjjazi nga zaava mu biyinja eby'edda ezakolebwa n'enjazi entono ezikutuka ku lwazi olunnene. Ebizinga ebirala y'e Bugaia, Lingira ne Namiti. Rusinga ne Mfangano biri ku nsalosalo z'eKenya. Mu 1911 Britannica yagamba: "Ebizinga ebisinga kuno bikwatiridde ebibira ebikwafu, era ebimu ku bbyo biri ku nsozi. Obutonde bw'abwo busikiriza." Okugyako obuwanvu bw'ako, Rusinga ne Mfangano kaakano emiti gyabyo gyasalibwa.

Disitulikiti y'eBuvuma kifo kyanjawulo ekyetoloddwa ekibira ekikwatiridde n'ebiwuka ebyenjawulo, ebinyonyi, ebimera ebyenjawulo, wamu n'olubalama lw'omusenyu ku buzinga obwenjawulo. Ebizinga bilina obutonde obusikiriza abalambuzi ebisobozesa: okwekennenya ebinyonyi, okuba olusiisira, ebisolo by'omunsiko, obukubo obutambulirwamu,okulambula, okuwalampa enjazi, okuvuga amaato, ebifaananyi eby'obutonde, emizannyo gy'okuvuba, emizaanyo gy'amazzi n'ebirala nkuyanja by'ogya okulaba ng'olambua mu bizinga by'eBuvuma.

Okunonyereza ku bintu eby'edda

kyusa

Rusinga elina obuggaga mu bintu by'edda, era Mary Leakey yavumbula akawanga ka Proconsul africanus ku kazinga kano. Okwekuusa ku kimera ky'akazinga ka Rusinga ne Mfwanganu bitwalibwa okuba essomo lya paleobotanists. Waliwo okuvumbula okwazuulibwa etterekero ly'ebyedda erya Tervuren Museum, Bubirigi, mu 1968 (ekyafulumizibwa mu 1971), ku kazinga ka Buvuma ne Bugaia mu Munyama Cave, Tonge Cave, ne Nakisito, gattako ebifo ebirala 47. Ebikozesebwa mu kubumba okuva mu 13,000 B.C. okutuuka mu 8,000 B.C. byazuulibwa.

Ebijuliziddwamu

kyusa