Bwenyibungi=Feesinnyingi(Polyhedron)

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Obwenyi(face) era kiba feesi. Mu sessomo ly'ekibalangulo( mu Okubala)tuzimba emiramwa mu byempimo oba essomampimo (geometry)nga tweyambisa obugambo "bwenyi" oba "feesi" ne tuzimba emiramwa:

(a) Feesinnyingi(Polyhedron)

(b) Bwenyibungi(Polyhedron)

Bwenyibungi nkula za mpimo satu(three dimensional shapes) ezirina safeesi ez'enjawulo ez'omuseetwe nga buli safeesi oba feesi "mpuyinnyingi"(polygon).Weetegereze:

(i) bwenyibungi oba Feesinnyingi(Polyhedron)

(ii)Mpuyinnyingi(Polygon)


Mu Bwenyibungi oba Feesinnyingi mulimu:


(a)Enkalubo za Polato(Platonic solids)

(b)Ekigulumiro

(c) Akagulumiro=Pyramid)

(d)Feesinnya(tetrahedron)

(e)Feesimunaana(Octahedron)

(f)Feesikuminabbiri(Dedocahedron)

(h)Feesabiri(Icosahedron)

(i)feesabirimumukaaga(Great Rhombicuboctahedron

(j)Feesinkaagamubbiri(Greatrhombicusidodecahedron)

(k)Ekigulumiro ekya feesimukaaga(Dodecagonal prism)

(l)Ekigulumiro ekya feesikumi((Octagonal prism)

(m)Ekigulumiro ekya Mpetosatu(triangular prism)

(n)Kyesatuza(cube)


Manya: Enkulungo(Sphere) n'eripuso(ellipse) si bwenyibungi kubanga enkula zino zirina feesi emu ennekulungirivu.