Canary Mugume
Canary Mugume munayuganda akola nga munamawulire, ng'asinga kukola mawulire gakunoonyereza ku mukutu gWA ttivi ya NBS TV, wamu ne ku pulogulaamu gyebayita Léo Africa Young Emerging Leaders Program Fellow.[1] Alipoota zze ez'okunoonyereza zisinga kubeera mu byansonga zigenda mu maaso oba ez'obuliwo mu ggwanga, ezinyigiriza eby'enfuna, wamu n'eziri mu bantu.[2]
Obulamu bwe
kyusaMugume yakulira mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Mbarara eby'enjawulo mu Uganda.[3] Yasomera pulayimale ye ku Mbarara Municipal Primary School, Mbarara Secondary School ne Lutembe International School gyeyasomera siniya. Mugume alina diguli mu by'empuliziganya ne tekinologiya 'degree in information technology and computer engineering' okuva kutendekero lya International University of East Africa.[4][5] Alina ne satifikeeti mu by'okukola ku mikutu gya ttivi, n'okutendekebwa okuva mutendekero lya U.S. Agency for Global Media, satifikeeti mu by'amawulire oba 'New Trends in Journalism' okuva kutendekero lya Institute for the advancement of journalism, ne satifikeeti mu bya Digital Media Training okuva kutendekero lya U.S Agency for Global Media.[6]
Omulimu gw'eby'amawulire
kyusaMugume yatandika okukola omulimu gw'amawulire ku ;mukutu gwa Radio West mudisitulikiti y'e Mbarara ng'eno gyeyali asomera amawulire agaali gakoleddwa okusannyusa abaanaokuva ku myaka mukaaga paka ku myaka 13. Ng'akuasomera ku Mbarara high school, yatandikawo olupapula lw'esomero olwali olw'amawulire,ng'oluvannyuma baamuwa akatuuti kweyali ng'agasomera mu biseera by'abaana nga bakungaanye. Yakolerako ne ku mukutu gwa ttivi gwebayita Channel 44, ate ng'eyali ayiga ku gwa Urban TV, nga gino gyonna giri mu Uganda.[7] Esaawa eno gwebaloopera eby'ensonga z'ekirwadde kya COVID-19 ku NBS TV.[8] Yeeyali aasoma amawulire oba 'coronavirus' mu mwaka gwa 2019, ng'era y'awereza n'ebyali bikwatagana ku bulwadde bwa 'coronavirus' nga bibo byali bitera okubeerayo buli kawuungeezi.[9]
Yaawereza ne pulogulaamu y'eby'obufuzi ku lwomukaaga ebeera ku mukutu gwa leediyo gwebayita Nxt Radio, gyebayita; "The Big Talk". Yalina n'omuko gw'awandiika mu lupapula lwebayita 'Nile Post news portal' buli wiiki nga guno baguyita ‘My Parting Shot.’[10]
Byeyatadikawo
kyusaY'akulira omukutu gwebayita Version 86, y'avunaanyizibwa ku bitekebwa ku mukutu wamu n'okutondawowo ku 'Fashion Republique'. Alina okutendekebwa mu kuyiiya okuva ewa Kat Modeling Agency, etendekero okuva e Kenyan nga lisinga kubeera ku bya kukola misono,'modelling agency'. Yalondebwa ku by'omusajja eyali atandika obutandise wabula ng'ayolesa misono ''nominee for upcoming male model', ku mikolo gya Abryanz Style and Fashion Awards mu mwaka gwa 2014.
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200810134818/https://leoafricainstitute.org/fellows/canary-mugume/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2020/06/23/canary-mugume-from-school-dropout-to-nbs-tv-star-reporter/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://observer.ug/lifestyle/66115-canary-mugume-at-10-he-was-sitting-his-ple - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://campusbee.ug/news/photos-nbs-canary-mugume-graduates-from-iuea/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2020/06/23/canary-mugume-from-school-dropout-to-nbs-tv-star-reporter/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220929213715/https://youth4policy.org/fellows/canary-mugume/ - ↑
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://flashugnews.com/mugume-canary-biography-family-education-journalist/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://kkcr.urdt.net/2020/05/09/museveni-hints-at-postponement-of-2021-polls-over-covid-19/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200810134818/https://leoafricainstitute.org/fellows/canary-mugume/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2020/03/20/may-the-unity-coronavirus-has-exposed-us-to-stay-after-its-gone/