Caroline Amali Okao Munnabyabufuzi wa Uganda. Yali Minisita omubeezi ow'ebibiina ebiwozi by'ensimbi mu Kabinenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 Ogwokutaano 2011. Y'adda mu bigere bya Ruth Nankabirwa.[1] Okao era ye mubaka wa Paalamenti omulonde akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Amolatar, mu Paalamenti ey'omwenda (2011 - 2060).[2]

Ebuvo bwe n'emisomo gye

kyusa

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Amolatar, mu ttundutundu ly'e Lango, mu Bukiikakkono bwa Uganda, nga 1 Ogusooka 1972. Mu misomo gye egya Pulayimale ne Ssekendule yagisomera mu masomero ga Uganda. Mu 1997, yegatta ku ssettendekero wa Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obukulu n'obunene, nga yatikkirwa Diguli esooka mu by'obulambuzi eya Bachelor of Arts in tourism mu 2000. Mu 2011, Yunivasite ya Makerere yamuwa Satifikeeti eya Certificate in Planning and Management.[2]

Emirimu gye

kyusa

Okuva mu 2003 okutuusa mu 2006, yaweerezaako nga Dayilekita wa Crown Technical Services, nga Kkampuni eno yayambako mu kugitandika. Mu 2006, yawangula akalulu k'omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Amolatar, nga y'esimbawo nga talina kibiina. Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa ku kya Minisita omubeezi ebw'ebibiina biwozi by'ensimbi.[3][4][5]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa