Caroline Kamusiime (yazaalibwa 23 November 1982) mubaka wa Uganda omukyala akiikirira abantu b'omu disitulikiti y'e Rukiga nga Omubaka omukyala mu palamenti ya Uganda . Mmemba w'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ekibiina eky'oby'obufuzi mu Uganda ekikubiriizbwa Yoweri Kaguta Museveni pulezidenti wa Uganda .

Kamusiime Caroline.

Kamusiime abadde mu kaweefube w’okunoonya eky’okugonjoola obutakkaanya n’enkolagana ennunggamu wakati wa Rwanda ne Uganda, Rwanda lwe yaggalawo ensalo zaayo eri Uganda ng’elumiriza Uganda okuvugirira ebintu ebyagala okusuula gavumenti ye Rwanda.

Mu 2021, yaddamu okulondebwa ku bwammemba bwa palamenti.

Okusoma

kyusa

Kamusiime yasoma O'level okuva kololo high school gye yatuulira Uganda certificate of education (UCE) mu 1997. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu bishop comboni college kanungu gye yamalira Uganda advanced certificate of education (UACE) mu 1999. Oluvannyuma yafuna diguli esooka mu bya tekinologiya okuva mu yunivasite y’e Makerere mu 2010.

Emirimu

kyusa

Kamusiime abadde mubaka wa palamenti ya Uganda okuva mu 2017 n’okutuusa kati.

Yaliko omukungu wa tekinologiya mu MTN Uganda okuva mu 2011 okutuuka mu 2016,

Era yaliko atuukirwako abagenyi mu British American tobacco Uganda okuva mu 2006 okutuuka mu 2010 era yaliko omubalirizi w’ebitabo mu kkampuni ya caltex Uganda okuva mu 2000 okutuuka mu 2006 [1]

Mu palamenti ya Uganda, akola ku kakiiko akakola ku nsonga z'amateeka ne palamenti

Ebijjuliziddwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0