Caroline Kamya (yazaalibwa 1974) munna'yuganda dayirekita era pulodiyuusa wa firimu.

Obuto bwe

kyusa

Kamya yazaalibwa Uganda wabula yakulira Kenya mpozi ne Bungereza[1][2].

Okusoma kwe

kyusa

Kamya yasooma nafuna diguli eyasooka mu misomo egya Architecture ne Urban Design okuva mu ttendekero lya Bartletts e Bungereza. Okwo yayongerezaako emisomo gya Masters mu pulogulaamu za ttivvi eza documentary okuva mu Goldsmiths College[1].

Mu kusoma n'okukugukira mu bya firimu, Kamya yasomerako mu matendekero gano : Maisha Film Lab e Kampala,Berlinale Talent Campus e bugiriimani, DOX Lab, Durban Talent Campus e South Africa mpozi ne Binger[2].

Emirimu gye

kyusa

Kamya yaakawangula ebitiibwa ebisuka mu 10 nga kwotadde okukolera mu mikutu egyenjawulo egya ttivvi e London n'addala BBC.Bweyakomawo e Uganda, natandikawo kampuni esunsula era etekateka empereza y'oku ttivi emanyikiddwa nga IVAD International[3].

Mu mwaka 2010, firimu ya Kamya eyasooka eyali eyitibwa Imani bagilaga ku mwoleso gwa Berlin Film Festival, era nelangilibwa mu tuluba lya 'Best First Feature'.Neera mu mwaka gwegumu yazaako firimu ya Chips and Liver Girls, nga yakolagana ne dayirekita munne omu Danish ayitibwa Boris Bertram. Firimu eno yali eraga embeera eriwo wakati wa bawala abato mu Uganda n'abasajja ababasasulira ebisale by'okusoma. Mu mwaka 2011, yazaaki firimu enyimpimpi gyeyatuuma Fire Fly (2011) era nga eno yagikolera China[3]

Firimu zaze akola

kyusa
  • Chips and Liver Girls (short), 2011
  • Imani, 2010
  • Fire Fly (short), 2011
  • The Peace Between 2019

Ebibanja ebweru

kyusa

Ebisinziddwako

kyusa