Catherine Adipo (amanyiddwa nga Catherine Constance Adipo[1] oba Catherine Adipo Wejuli[2]) munna-Uganda munna byamuzannyo omukyala, mukulembeze mubyemizannyo era ye mukyala eyasooka okusala empaka z'emipiira mu FIFA mu Uganda era ne mubuvanjuba ne mu masekkati g'Afirika.[3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Adipo y'omu ku baana 16 ab'omugenzi Reverend Canon Kezironi Wejuli ne Abisiagi Wejuli.[4]

Adipo yasomera ku Busia Integrated School, Mt. St. Mary's College, Namagunga[5] ne King's College Budo. Yatikkirwa okuva e Makerere University ne diguli mu Geography ne nimi mu 1987. Yaddayo naafuna Dipulooma mu byenjigiriza okuva e Makerere University ne diguli ey'okubiri mu byemizannyo okuba ku Kyambogo University.[6]

Emirimu gye

kyusa

Emirimu gye mubyemizanyo

kyusa
  • Yazanyira mumakkati ga local volleyball club Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC)[7]
  • 1982 – national ladies team captain (volleyball)

Professional career

kyusa
  • 1988 – Omukyala atwala ebyemizanyo era omutendesi w'omupiira gw'abalenzi, Makerere College School
  • 1989 – yatendekebwa nga omusazi w'omupiira era neyegatta ku Uganda Referees Association
  • 1995 – yafuna akabonero ka FIFA era naafuuka omukyala eyasookera ddala okusala omupiira mu FIFA mu Uganda
  • 1991–1997 – sports officer, Kampala City Council[4]
  • 2005 – lecturer, physical science, Kyambogo University[8]
  • 2006 okutuusa leero – Mutendesi wa FIFA/CAF
  • 2015 – Mumyuka w'akulira FUFA Referees Standing Committee.[9]

Byatuseeko ne gyalabikiddeko mu bulamu

kyusa

Enkayana

kyusa

Mu 2011, kyagambibwa nti bweyali nga akyali musomesa ku Kyambogo University, Adipo yagenda e China nga akozesa tiketi ya Uganda Olympics Committee okukikirira ekitongole ate nga teyali kitundu ku kitongole ekyogerwako.[11]

Obulamu bwe

kyusa

Adipo mufumbo era alina abaana babiri[12]

Ebijjuliziddwamu

kyusa
  1. https://www.kawowo.com/2018/09/11/uganda-set-to-host-high-profile-caf-referees-course/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-07. Retrieved 2024-04-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.kawowo.com/2014/12/31/fifa-referees-cautioned-against-sports-betting/
  4. 4.0 4.1 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1086345/adipo-football-queen
  5. http://archive.observer.ug/specials/schools/scl0200609141.php
  6. https://www.youtube.com/watch?v=qxE1266EGcw
  7. https://observer.ug/sports/44-sports/12546-top-10-list-most-influential-women-in-history-of-ugandan-sport-
  8. https://web.archive.org/web/20170911080338/http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1300069/women-mark
  9. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1408765/adipo-named-vice-chairman-referees-commitee
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1258558/brief
  11. http://ugandaradionetwork.com/story/uoc-president-banned
  12. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1086345/adipo-football-queen