Catherine Apalat
Catherine Apalat (yazaalibwa nga 28 Ogwomunaana 1981) Munnamawulire, Munnayuganda, mukozi wa filimu ra mukubi wa bifaananyi ku Uganda Media Women's Association (UMWA).[1] Okuva mu Gwokuna 2013, Apalat ye Maneja wa pulogulaamu za Mama FM, ladiyo eri wansi wa UMWA.[2]
Obuvo bwe n'emisomo gye
kyusaApalat yazaalibwa mu Tororo eri David Livingstone Ongadi omusomesa wa Pulayimale ne Grace Onyadi omukugu mu by'empuliziganya. Apalat Pulayimale ye yagisomre ku Rock View mu 1994 nga tannaba kwegatta ku Tororo Girls ne Our Lady of Gayaza mu misomo gye egya Ssekendule (1995-2000). Apalat yegatta ku Makerere Yunivasite era n'attikirwa Diguli esooka mu by'amawulire eya bachelor's degree in Mass Communication mu 2005.
Emirimu gye
kyusaApalat yakola n'ekibiina ekikola filimu kya Makerere University Mass Communication Film Department in 2002. Apalat y'afulumya omuzannyo ogw'eddakiika kkumi ogw'atuumibwa "Salongo’s Gift" ne "Portrait of an artist". Apalat yegatta ku Top Radio ng'akola ne dipatimenti effulumya amawulire, okusunsula era nga essira yalissa mu kusaka mawulire g'abzzi b'emisango mu 2003. Apalat yegatta ku kibiina ekikozi kya filimu ekya Great Lakes Film Production mu 2005-2006 nga yali akola ng'omuwandiisi w'emizannyo.
Okuva mu 2007 okutuusa kati, Apalat era akola nga pulodyusa era omukubi w'ebifaananyi mu lupapula lw'amawulire olwa Uganda Media Women's Association oluyitibwa (The Other Voice) ne Grass Root Women Empowerment Network (GWEN) Magazine n'ebirala. Apalat yakola nga Fredskorpset (FK) Exchange Participant (Norwegian Peace Corp) n'essomero ly'abannamawulire erya College of Journalism and Mass Communication (CJMC FM) mu 2011, Nepal. Minisitule y'ebympuliziganya mu Nepal, basiima omulimu gwa Apalat mu kwolesa n'okutumbula ennono n'obuwangwa bwa Africa obw'enjawulo ng'ayita mu filimu mu bikujjuko bya filimu ebyasooka mu Nepal mu Gwokutaano 2011.[3][4][5]
Okuva mu Gwokuna 2013, Apalat ye Dayilkita wa pulogulaamu ku Mama Fm, ladiyo y'abantu mu Uganda.[2] Apalat yakola n'abakozi ba ladiyo okukakasa nti ekigendererwa kya ladiyo kituukibwako naddala pulogulaamu ezikwata ku kikula ky'abantu n'emizannyo emimpi.
Okunoonyereze kw'eyetabamu
kyusaApalat yetabye mu pulojekiti eznjawulo mu kunonyreza omuli “Grass roots Women in Technology mu 2013, Audience analysis for Mama FM listeners mu 2014 ne The Global Media Monitoring Project (GMMP) mu 2015 wamu ne Uganda Media Women's Association.
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ UMWA, UMWA (2016). A Gender Analysis Report on media and Elections. Kampala: UMWA. p. 18.
- ↑ 2.0 2.1 https://www.umwamamafm.co.ug/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-28. Retrieved 2023-03-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-28. Retrieved 2023-03-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-25. Retrieved 2023-03-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)