Charles Peter Mayiga Munnayuganda, munnamateeka, mukulembeze owennono era omuwandiisi w'ebitabo eyazaalibwa mu mwaka gwa 1962. Ye Katikkiro wa Buganda aliko mu kaseera kano. Abadde Katikkiro wa Buganda okuva mu mwezi Gwokutaano 2013, Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II bwe yamulonda okuddira Eng. John Baptist Walusimbi mu bigere.[1][2]

Charles Peter Mayiga

Ebyafaayo bye n'okusoma kwe

kyusa

Charles Peter Mayiga yazaalibwa ku kyalo ky'e Kasanje mu muluka gw'e Kabonera, ogusangibwa mu kitundu eky'omu masekkati ga Uganda mu ddisitulikiti y'e Masaka. Azaalibwa Ssaalongo Cyprian Mukasa ne Nnaalongo Rebecca Kyese Mukasa. Yasomera ku Butale Primary School ne Nkoni Primary School. O-Level yagisomera ku St. Henry's College Kitovu ate oluvannyuma ne yeegatta ku St. Mary's College Kisubi gye yatuulira A-Level. Alina ddiguli mu mateeka (Bachelor of Laws (LLB), gye yafunira ku ssettendekero ya Uganda enkulu, Makerere University. Alina ne ddipulooma mu kuwoza emisango (Diploma in Legal Practice) gye yafunira ku Law Development Center, esangibwa mu kibuga Kampala.[3]

Emirimu gy'akoze

kyusa

Mayiga abadde akola ne bajjajja b'Obwakabaka bwa Buganda okuva mu mwaka gwa 1987, ekimuyambye okumanya n'okutegeera obuwangwa n'ennono za Buganda.

Nga beetegekera okuzzaawo Obwakabaka bwa Buganda, Mayiga yalondebwa ng'ennaku z'omwezi 4 Ogwomusanvu, 1991 okuba ssaabawandiisi w'akakiiko (Council of Elders) akaali kalondeddwa okuteekateeka omukolo ogwo ate oluvannyuma n'afuuka ssaabawandiisi wa Lukiiko (Ssetteeserezo ya Buganda). Ng'Obwakabaka bwa Buganda buzziddwawo mu mwaka gwa 1993, Mayiga yafuulibwa Owaamawulire era omwogezi w'Obwakabaka bwa Buganda. Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa lwe yaweebwa ekifo ky'Obwakatikkiro bwa Buganda mu mwezi Gwokutaano 2013.[4][5]

Nga tannafuuka Katikkiro, Mayiga yagaana ebifo nga bibiri oba okusingawo ebyali bimuweereddwa mu ggavumenti ya Uganda eya wakati.[6]

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa

Mayiga ye omu ku bannannyini b'ekitongole ekiwolereza emisango ekimanyiddwa nga Buwule and Mayiga Company Advocates, ekisangibwa mu kibuga Kampala mu Uganda. Abadde mu bufumbo ne Margaret Mayiga (eyasomerako ku Trinity College Nabbingo) okuva 1987. Ye muwandiisi w'ekitabo, 'King On The Throne', ekyogera ku myaka 16 egisooka (1993–2009) egy'omulembe gwa Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II owa Buganda.[7] Mayiga era ye muwandiisi w'ekitabo, Buganda ku Ntikko, ekyogera ku nsonga ssemasonga eza Buganda ettaano. Ekitabo kino yakifulumya ku lunaku lwennyini lwe yakwasibwa ddamula, ng'ennaku z'omwezi 29 Ogwokutaano 2013. Mu 2017, Mayiga yafulumya ekitabo kye eky'okusatu kye yatuuma, Uganda:7-Key Transformation Idea. Mu kitabo kino, Mayiga awa ebirowoozo musanvu ebisobola okuyambako amawanga agakyakula (Third World countries) okukula.[8]

Laba ne

kyusa

Template:Columns-list

Ebijulizo

kyusa
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)