China Keitetsi yazaalibwa mu 1976, nga munayuganda omulwanirizi w'eddembe, nga kakuyege we asinga kumuteeka ku baana abato abakola nga abasirikale. Ebijukiz bya Keitetsi, eyaliko omwana mu magye naye kenyini, bikyusiddwa mu nimu ez'enjawulo nga Mulufalansa, Olugirimaani, Olucayina, Oludeeni, Oluyitale, Olusipaana, oludaaci wamu ne nimi endala.[1]

Ebimukwatako

kyusa

China Keitetsi yazaalibwa mu 1976 mu bug bwa Uganda, nga maama we teyaliiwo, nga mu 1984, ku myaka 9 Keitetsi ne muganda we omuwala baduka nga bagezaako okuzuula maama waabwe. Yakomekerera afuuse munamagye omwana, mu ba yeekera ba National Resistance Army.[2][3][4] Obulamu bwa China obwasooka mu Uganda nga omuwala eyali omuto ng'ate munamagye, bwalaga okukabanyisibwa abaana aboobuwala n'abakyala bwebayitamu nga bali mu biseera by'entalo, n'obutabanguko.[5]

Embeera ya Kampala yakyuka nga 26 mu Gusooka mu 1986, nga wano Museveni weyalangirirwa nga pulezidenti wa Uganda, naye Uganda yasigala erulumirwaako entalo z'omudda. Mukaseea kano, China Keitetsi yali akola nga omukuumi w'eyali omusirikale eyali omukulu, nga tanaba kwegata ku poliisi y'amagye.[6]Ebibiina ebiwerako byalwanyisa gavuenti eno eyali empya.

Obulamu bwe nga omuwala omuto eyali omujaasi

kyusa

China, nga abaana abalala bonna abaatwalibwa ekibiina ky'obuyekera ekya NRA okulwanyisa gavumenti ya Obote, baasigala mu bitiibwa by'amagye ga gavumenti empya, aga lwanirira eddembe ly'abantu ba Uganda, aga UPDF.[7] Yamala emyaka 10 nga omuwala omuto eyali mu magye, ng'ali mu kutya, wamu n'okukabasanyizibwa wansi w'amagye g'ekibiina ky'abayeekera ekya Ugandan National Resistance Army.[5]

Obulamu bwe nga omukazi alina eddembe lye

kyusa

Wakati wa 1986 ne 1995, yagezaako okukomawo mubulamu bw'okubeera omuntu wa bulijjo, naye nga yamala ebiseera ebisinga mu magye ga gavumenti eyali empya.


Esaawa eno abeera mu ggwanga lya Denmark , era nga yafulumiza embeera gyeyayitamu mu katabo keyayita, Child Soldier: Fighting for my life oba omwana nga munamagye: Nwanirira obulamu bwange .[8][9] Yafuuka omwogezi w'ensi yonna ku lw'abaana abato nga banamagye munsi yonna, nga bali mu kaseera akazibu. China agenda yeetoloola amawanga ga Bulaaya, Amerika, Canada, wamu ne Japan,wamu n'amawanga amagate, UNESCO, wamu ne mu Paalamenti y'e Girimaani ng'asomesa ku bizibu abaana nga banamagye byebayitamu. Ebitongole ebiwerako, omuli n'ekivunaanyizibwa ku by'ensonga z'abaana munsi yonna ekya UNICEF, ekitongole ky'ensi yonna ekisonyiwa abantu abaasibibwa olw'ensonga z'eby'obufuzi ekiyitibwa Amnesty International, Terre des Hommes, Oxfam, wamu n'okukwatira awamu okulaba nga bayimiriza okukozesa abaana nga banamagye, wamu ne IANSA, biyamba China Keitetsi mu nsonga ze zino.[6] Akatabo ka China kafulumiziddwa mu manwanga nga Denmark, mu Budaaki, Girimaani, Austria, Switzerland, South Afrika, Bungereza, Bufalansa, Spain, Czech Republic, Japan wamu ne China.

Yakwata ebitundi ebisooka mu luyimba oluyitibwa "Blood" Omusaayi olwa The Kelly Family nga luno lwayibibwa Jimmy Kelly mu lutambi lwe olwa 2003 lwebayita Homerun.[10]

Obutabo bwe

kyusa
  • Omwana munamagye: Nwanirira obulamu bwange oba Child Soldier: Fighting for my Life (German edition: Sie nahmen mir die Mutter und gaben mir ein Gewehr) kaafulumizibwa mu 2002[6]
  • Amaziga wakati weggulu n'ensi: Olugendo lwange okudda mu bulamu oba Tears Between Heaven and Earth: My way back to life mu 2007[6]

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. https://profilebooks.com/
  2. https://www.nytimes.com/2003/08/30/world/the-saturday-profile-a-former-child-soldier-fights-her-memories.html
  3. https://www.thenorthernecho.co.uk/news/6989751.now-know-feels-cry/
  4. Amazon (April 30, 2004). Child Soldier. ISBN 0285636901.
  5. 5.0 5.1 https://doi.org/10.1080/14484528.2021.1930501
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-19. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.fides.org/en/news/6678-EUROPE_GERMANY_World_Day_for_former_Child_Soldiers_China_Keitesti_tells_of_her_sad_experience_at_a_meeting_of_the_Pontifical_Mission_Societies
  8. https://www.goodreads.com/work/best_book/757655-child-soldier
  9. https://www.un.org/en/chronicle/article/every-surviving-war-child-has-two-stories-one-war-and-one-its-aftermath
  10. https://www.youtube.com/watch?v=I4U2Nwxv1UQ

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa