Christine Alalo (21 Ogwokusatu 1970–10 Ogwokusatu 2019) yali Munnayuganda okukuumi w'emirembe eyafuna awaadi y'okulwanirira eddembe ly'obuntu eya EU Human Rights Defenders Award mu 2014. Yali omu ku basaabaze abafiira mu kabenje k'enyonyi eyagwa eya Ethiopian Airlines Flight 302.

christine Alalo

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Alalo yazaalibwa mu 1970 eri Stanley Etori ne Jane Apubo mu Kalaki, Disitulikiti y'e Kaberamaido. Yasomera ku Moroto Municipal Council Primary School okutuuka mu kibiina ey'okutaano. Yadda e Teso ng'eno gye yamalira pulayimale ku Swairia Primary School, Disitukiti y'e Soroti mu 1985. Yegatta ku Tororo Girls' School mu O Levo n'oluvanyuma neyegatta ku Immaculate Heart Girls' Secondary School, mu Disituliti y'e Rukungiri.[1]

Emirimu gye

kyusa

Alalo yegatta ku Poliisi ya Uganda mu 2001 nga omusirikale eyali mu kutendekebwa[2] oluvannyuma lw'okutikkirwa okuva ku ssetendekero wa Makerere. Y'aweerezako nga omukulu wa dipatimenti erwanirira n'okukuuma abaana saako n'obutebenkeve mu famire mu poliisi y'eggwanga eya Uganda National Police.[3] Yali yaweerezaako n'ekitongole ky'amawanga amagate ekya United Nations Mission in South Sudan[3] ng'omuwabuzi mu ttundutundu lye Juba Sector okuva mu 2007-2009. Yalondebwa ng'omumyuka wa Kaminsona wa Polisi nga 9 Ogwomukaaga 2015 nga yadda mu bigere bya Mr. Benson Oyo-Nyeko.[4] Mu kaseera we yafiira, yalina lanka nga Kaminsona wa poliisi eyaliko wansi wa African Union Mission in Somalia (AMISOM), nga yali awerereza mu Mogadishu, Somalia.[5][6][7]

Awaadi gye yafuna

kyusa
  • 2014 - EU Human Rights Defenders Award[8]

Okufa kwe

kyusa
 
Ennyonyi ya ET-AVJ eyatomera era n'efiiramu abantu abawera 150 okuliraana Bishoftu, Ethiopia.

Nga 10 Ogwokusatu 2019, Alalo yali omu bantu 157 abaali ku nyonyi ya Ethiopian Airlines Flight 302, eyaBoeing 737 MAX 8, ng'ennamba mpandiise ye ET-AVJ 302 eyagwa mu Bishoftu, kilomita 60 (37 mi) mu mu Bukiikakkono bw'ekibuga ekikulu ekya Ethiopia Addis Ababa. Ennyonyi eno yali egenda ku kisaawe kya Jomo Kenyatta International Airport mu Nairobi, ekibuga ekikulu ekya Kenya.

Abantu bonna 157 abaali ku nyonyi eno bafiira mu kabenje kano.[9]Nga 11 Ogwokusatu 2019, Poliisi ya Uganda yakakasa okufa kwa Alalo ng'eyita mu kiwandiiko.

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1496199/life-times-officer-christine-alalo
  2. https://eagle.co.ug/2019/03/12/big-loss-to-africa-au-mourns-police-commissioner-christine-alalo.html
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-07-02. Retrieved 2023-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://amisom-au.org/so/2015/07/a-new-deputy-police-commissioner-joins-amisom/
  5. https://www.independent.co.ug/ethiopian-airlines-accident-police-commissioner-christine-alalo-confirmed-dead/
  6. https://www.independent.co.ug/ethiopian-airlines-accident-police-commissioner-christine-alalo-confirmed-dead/
  7. https://observer.ug/news/headlines/60141-amisom-holds-memorial-service-for-christine-alalo
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1496924/christine-alalo-police-human
  9. https://www.pmldaily.com/news/2019/03/ethiopia-air-crash-all-157-passengers-perish-as-identity-of-ugandan-victim-remains-mysterious.html