Christine Dranzoa (1 Jan Ogw'oluberyeberye 1967 – 28 Ogw;omukaaga 2022) yali Pulofeesa mu Yunivaasite mu ggwanga, muddukanya w'ebyensoma, ali mu By'obutonde, mukugu mu bisolo eby'okulukalu era nga mukulembeze ku kitundu. Weyafiira, yali ye Mukulu wa,[1] Muni University, emu ku yunivaasite za gavumenti mu ggwanga.[2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

kyusa

Yazaalibwa mu 1967, mu Disitulikiti y'eMoyo nga bwe yali emanyiddwa. Olwaleero ewabwe wali mu Disitulikiti ya Adjumani Christine Dranzoa yafuna Diguli mu bya Saayansi mu Mbeera zeebisolo gyeyafuna mu 1987, yagikolera ku Makerere University, yunivaasite esinga obukulu the oldest university mu Buvanjuba bwa Africa. Yfuna Diguli endala eya Master of Science (MSc), mu ssomo lyerimu, eno yagifuna mu 1991 era ku Makerere University. Ate yo Diguli ya Doctor of Philosophy (PhD) mu Biology nayo yagifunira ku Yunivaasite yeemu mu1997. Yafuna Satifeeki ezenjawulo mu masomo ag'enjawulo omuli mu kuddukanya emirimu, okukuuma obutonde ne mu Okutegeka bizinensi mu matendekero mu Uganda ne wabweru.[3]

Okukola kwe

kyusa

Mu 1992 Christine Dranzoa yeeyunga ku Makerere University nga omusomesa mu Ttabi lya Faculty of Veterinary Medicine mu Department of Wildlife and Animal Resources Management,kitundu ekikwata ku Bulamu bw'omu nsiko n'emigaso egiri mu nsolo. Yali omu ku batandisi ba Wildlife and Animal Resources Department okuva mu 1992 okutuusa 2005 era yali mukulu. Ku ttabi eriyitibwa Faculty of Veterinary Medicine, yali omu ku baalitandika wamu ne banne.

Mu 2005, yeegatta ku bukulembeze bwa Makerere university gyeyalondebwa okubeera Omumyuka W'akulira ekitundu ekikkwata ku beeyongerayo mu misomo mu yunivaasite era wano yakolawo okuva mu 2005 okutuusa mu 2010. Mu 2010, Dr. Dranzoa yalondebwa ku kibinja ky'abantu basatu ekyalina okutegekera okutandika Muni University, nga eno ye Yunivaasite ya Gavumenti ey'omukaaga mu Uganda. Mu Gw'oluberyeberye gwa 2012, nga yunivaasite eno etandise okukola, Professor Dranzoa yafuuka Amyuka Omukulu waayo eyasooka.[3]

Obuvunaanyizibwa obulala

kyusa

Dr. Dranzoa yaweereza mu kitiibwa nga Ssabawandiisi w'ekitongole kya Forum for African Women Educationalists (FAWE). Kiddukanyizibwa bantu ba Africa era nga Ky'abwannayini nga ky'atandikibwawo mu 1992, era kikola mu nsi 32 eza African. FAWE egenderera kuwa abawala n'abakyala amanyi nga bayita mu kusoma okubawagira. KU na mmemba kuliko abalwanirizi be ddembe, abakugu mu nsonga zeekikula ky'abantu, abanoonyereza, abakozi baamabago agafuga ebyensoma, n'abakulu b'azi yunivaasite ne Minisita W'ebyensoma. Ettabi lyakyo ekkulu likyali mu Nairobi, Kenya naye nga kirina wooiisi mu mawanga agenj[4]awulo okugeza mu Dakar eangibwa mu Senegal.

Mu 2006, yali omu ku baatandikawo ekitongole kya Nile Women Initiative ekitongole ky'obwa nnakyewa nga Ky'abwannanyini ekigenderera okumalawo obuzibu obuviira ku kikula ky'abakazi mu kitundu kya Uganda ekya West Nile. Yaweereza nga Ssentebe w'ekitongole kino.

Professor Dranzoa yafulumya ebiwandiiko bingi eby'obuyigirize era awandiise ebitundu mu bitabo bya Saayansi nga byekuusiza ku ebyo byeyakuguka mu. Ebifulumiziddwa bino byonna bisangibwa mu biwandiiko bye eby'obuyigirize.

Okufa kwe

kyusa

Nga 28 Ogw'omukaaga 2022, Christine Dranzoa yassa ogwenkomerero ku ssaawa 9:30 ezeemisana ku Dwaliro Eddene Elye Mulago mu Kampala. Yafa alina emyaka 55.[5]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa