Christine Obbo
Christine Obbo yazaalibwa mu mwaka gwa 1947, nga munayuganda eyakuguka mu by'enkulakulana y'abantu n'okumannya eneeyisa yaabwe. Yasomera ku setendekero ly'e Makerere mu Uganda, gyeyafunira BA ne MA ng'eyo gyeyafunira diguli eyali edirira eyasooka mutendekero lya University of Wisconsin, ne basala eyakusomera obweereere okuba ku Rockefeller Foundation.[1] Yeeyali omukenkufu kutendekero lya Wheaton College, ate oluvannyuma ku Wayne State University,[1][2] ate oluvannyuma neyeenyigira mu bikolebwa ku kawuka ka mukeneya oba obulwadde bwa siriimu,[2] ekikula ky'abantu, n'ebikolebwa ku by'ensonga z'aantu.
Emirimu gye
kyusaNg'eyakuguka mu by'enkulakulana y'abantu neneeyisa, Obbo esira yaliteeka ku kunyonyola neeyisa y'abantu, mu Uganda eby'obuwangwa byabwe, neebibaawula.[1] Yeeyawandiika akatabo ka ''African Women'' abakyala abafirika.[3] Oluvannyuma, esira yaliteeka mu kunoonyereza ku biva ku kawuka kamukenenya oba obulwadde owa siriimu eri eby'obuwanga oba abantu ba Afrika olw'okuba yali yeenyumiriza mu kunoonyereza ebikwatagana wakati wa sisitiimu y'eby'enfuna, n'okugerageranya ekikula ky'abantu mu Uganda n'engeri gyekiyinza okusala sipiidi oba okusaasaana kw'akawuka ka siriimu mu bitundu bya Uganda.[4] Emirimu gye egisinga giviira ddala mu myaka gya 1980, ng'era Obbo akyakola okutuusa mu myaka gya 2000.[5] Yali yagaba ku bukugu bwe mu bifo eby'enjawulo era ebingi, naye nga tebamutangira kwetaba munkungaana ezitegekebwa ekibiina ky'amawanga amagate gekitekamu ssente, okutangaaza ebifa ku kawuka kamukenenya oba obulwadde bwa siriimu mu Uganda mu by'embeera by'ensi, n'okuwandiikira abakakiiko akavunaanyizibwa ku by'enkulakulanya bya saayaansi w'ebitundu bya Afrika aka CODESRIA (Council for the Development of Social Science Research in Africa) eyabifulumya.[1]
Obulamu bwe
kyusa,Mu mwaka gwa 1975 Obbo yafumbibwa eyakuguka mu by'enkulakulana neeneeyisa y'abantu Aidan Southall eyafa mu mwaka gwa 2009 mu maka gge mu ggwanga lya Bufalansa
- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3
{{cite book}}
: Empty citation (help)http://www.oxfordreference.com/view/10.1093/acref/9780195382075.001.0001/acref-9780195382075-e-1595http://www.oxfordreference.com/view/10.1093/acref/9780195382075.001.0001/acref-9780195382075-e-1595http://www.oxfordreference.com/view/10.1093/acref/9780195382075.001.0001/acref-9780195382075-e-1595 - ↑ 2.0 2.1
{{cite news}}
: Empty citation (help)https://www.nytimes.com/1990/10/19/world/aids-in-africa-experts-study-role-of-promiscuous-sex-in-the-epidemic.htmlhttps://www.nytimes.com/1990/10/19/world/aids-in-africa-experts-study-role-of-promiscuous-sex-in-the-epidemic.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.biblio.com/christine-obbo/author/1708189 - ↑ (301–325).
{{cite journal}}
: Cite journal requires|journal=
(help); Missing or empty|title=
(help)https://www.cambridge.org/core/product/identifier/S0361541300004320/type/journal_article - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://scholar.google.com/scholar?hl=en&as_sdt=0,5&q=christine+obbo&btnG=