Cindy Sanyu
Cinderella Sanyu nga mu by'emirimu gye bamumannyi nga Cindy oba Cindy Sanyu munayuganda omuyimbi.[1] Yeeyali omu kubaatandikawo ekya Blu*3 ekyalimu Lilian Mbabazi ne Jackie Chandiru.[2] Ayimbyeko ne P-Square, Wahu, Beenie Man, Ne-Yo, Tiwa savage , Bobi Wine, Shaggy, Chameleon, Bebe Cool, Davido, Mr. G and Radio & Weasel.[3]
Obulamu bwe n'obuyigirize
kyusaCindy yazaaliwa nga 28 Ogwomunaana mu 1985mu Kampala, Uganda[4] wabula ng'asibula mu disitulikiti y'e Mbale .[5]
Muziki
kyusaCindy yatandika okuyimba bweyalina emyaka mukaaga mu kanisa y'okukyala mu kabuga kebayita Ntinda. Yeetaba mu mpaka ezaategekebwa omukutu gwa leediyo emannyikiddwa nga ''Capital Radio '' ezaali ez'okunoonyezaamu ebitoni ng'alina emyaka 16.[6] Yakwata kifo kya kusatu.Yakola n'afulumya ennyimba Steve Jean eyakakasa nti yeetaba mu mpaka z'okuyimba ezaali ziyitibwa "Coca-Cola Pop Stars", ekyavirako okutandikibwawo kwa Blu*3 mu 2003.[4] Ng'ali ne Blu*3, Cindy yafuna obuwanguzi mu kisaawe ky'okuyimba bweyawangula eky'omuyimbi oba ekibiina ekyali kisinga mu Uganda ne vidiyo eyali esinga okuva mu Uganda ku 2005 ebya Kisima Music Awards, vidiyo y'omwaka "Hitaji" mu 2005 ku Pearl of Africa Music Awards[7], ne vidiyo y'omwaka "Burrn"mu 2007 mu Pearl of Africa Music Awards[8] n'alondebwa ne ku by'ekibiina ekyali mu 2005 ku Kora Awards, Olutaambi lwa Hitaji olwaali lusinga mu buvanjuba bwa Afrika 2005 mu Tanzania Music Awards[9]- Vidiyo ya 'Frisky' eyali esinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2006 ku Channel O Music Video Awards,[10] Ekibiina ekyali kisinga ate ekyasinga okuyimba mu bikujuko bya 2009 ebya MTV Africa Music Awards[11], n'oluyimba lwa ''Where you are'' olwasinga mu buvanjuba bwa Afrika nga bali ne Radio & Weasel mu bikujuko bya 2010 ebya Tanzania music awards.
Cindy yagibwa okuba mu kibiina kino, nga mu 2008,[12] yadda mu kuyimba ng'ali yekka. 'Ayokyayokya' lweruyimba lweyasooka okufuluya mu 2009 ng'ali yekka olwa kulembera ennyimba mu buvanjuba bwa Afrika nga kwekuli ''Mbikooye" ne "Nawewe", "Ayokyayokya", ne "One and Only".[13] Alina ennyimba endala ezaakwata abantu omubabiro nga "Selekta".
Okuzannya katemba
kyusaCindy yatandika okuzannya katemba mu muzannyo gw'abanayuganda ogwalimu n'okuyimba ogumannyikiddwa nga Bella mweyazannyira nga Bella, ng'era yeeyali akulmberamu. Okuzannya kwe kwamuvirako okulondebwa ku kya awaadi y'okubeera omuzannyi omuto eyali asinga mu bikujuko bya Africa Movie Academy Awards, omufirika eyali akulembera mu firimu nga ssi nzaalwa ze Nigeria ku bikujuko bya Nigeria Entertainment Awards, n'omuzannyi omukazi eyali asinga ku bikujuko bya mu 2018.[14][15][16] Oluvannyua yakola ffirimu endala eyitibwa November Tear eyafulumizibwa mu 2019.[17]
Obulamu bwe
kyusaCinderella Sanyu yaliko mu mukwano ne Mario Brunetti ne bazaala n'omwaana ow'obuwala, Amani.[18] Yayanjula omuzannyi wa ffrimu, azifulumya wamu n'okuziteekateka Joel Okuyo Prynce mu Gwokusatu mu 2020 mu Kampala.[19] Yafumbirwa Joel Okuyo Prynce nga 11 Ogwekumineebiri mu 2021.[20][21] Yamuzaalira omwana we eyali asooka [22] ng'era asuubira omwana ow'okubiri mu bwangu ddala.
Emirimu gy'obukulembezze
kyusaCindy iesaawa eno akola ng'omukulembezze w'ekibiina ky'abayimbi ekiyitibwa ''Uganda Musicians’ Association'' (UMA) oluvannyuma lwa Ykee Benda okulekulira omulimu guno, nga Cindy weyaviirayo okukwata mungato zino nga pulezidenti waakyo stepped forward and filled the president’s shoes.[23]
Entalo
kyusaCinderella Sanyu yaliko mu mukwano ne Ken Muyisa. Mu kuva mu Blu*3, abanyimbi bane webaali mu kibiina kino, Jackie Chandiru ne Lillian Mbabazi baali bagamba nti, " teyali w'amazima ng'ate ssi mu bulambulukufu"[24] olw'ensonga eyamuviirako okugenda. Terwalwa nga Cindy atandise okuyimba yekka n'oluyimba lwe olwakwata abantu omubabiro nga; Ayokyayokya, Amateeka, Party, Selecta, Ndi mukodo, Run this city n'endala.
Ebika by'ennyimba
kyusaEnnyimba
kyusa- Mbikoye
- Amateeka
- One and only
- Party
- Total satisfaction
- Nawewe
- Selekta
- Tempo remix
- Ndi mukodo
- Samodat
- Dat dat
- Run this city
- One by one ft Skales
- Dancehall ft Eddy Kenzo
- Onnina
- Faded
- Copicat
- Boom party
Entaambi
kyusa- The King Herself, 2019
- Ayokyayokya, 2009
Awaadi n'eby'asimuddwamu
kyusa- Omuyimbi omukazi eyali asinga mu mwaka mu bikujuko bya DIVA awards mu 2009[25]
- Teenies' dancehall artiste in Buzz teenies awards, 2010[26]
- Omuyimbi omukazi eyali asinga mu mwaka, mu bikujuko bya Buzz teenies awards, 2010[26]
- Mu za Afrima awards ku ku ky'omuyimbi omukazi eyali asinga mu buvanjuba bwa Afrika mu 2016
- Bingwa awards, omuyimbi eyali asinga okuva mu Uganda mu 2016
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-06. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://fienipalyrics.appspot.com/node/1406
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 https://web.archive.org/web/20150707184501/http://www.newvision.co.ug/D/9/35/674151
- ↑ https://bigeye.ug/ugandan-music-artistes-and-their-districts-of-origin/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20070702053829/http://pamawards.com/pages/2005.php
- ↑ http://www.museke.com/node/1617
- ↑ https://web.archive.org/web/20060515123130/http://www.kilitimetz.com/2005/awards/vote.html
- ↑ http://africa.bizcommunity.com/Article/157/66/11163.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2009-10-14. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-07-17. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20131125181813/http://www.hipipo.com/people/45/CINDY/bio/125/2010-Review--Cindy-Consolidated-Her-Achievements-
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-12-10. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1481313/uganda-record-nominations-africa-oscars
- ↑ https://satisfashionug.com/uganda-film-festival-2018-see-official-list-of-nominees/
- ↑ https://chimpreports.com/cindy-sanyu-lands-on-lead-role-in-november-tear-movie/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/artsculture/Heart-to-Heart/Mario-didn-t-want--marriage--so-I-left/691230-3109780-h1neyvz/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20201017160618/https://www.mywedding.co.ug/real-stories/202003/singer-cindy-gets-engaged-to-movie-star-joel-atiku.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/122189
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-27. Retrieved 2023-07-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.tuko.co.ke/entertainment/celebrities/441615-ugandan-singer-cindy-sanyu-husband-child-together/
- ↑ https://mbu.ug/2021/04/02/former-uma-president-amazed-by-cindy-sanyus-efforts/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-14. Retrieved 2022-11-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://archive.today/20150105204308/http://www.newvision.co.ug/D/9/34/704213
- ↑ 26.0 26.1 https://www.google.com/search?q=awards+and+recognitions+for+cindy+Sanyu