Cissy Dionizia Namujju
Cissy Dionizia Namujju yazaalibwa nga 15 Ogwomusanvu mu 1977, nga Munayuganda atuula ku kakiiko akakola amateeka, nga alina n'obukugu mu bya kompuyuuta eby'empuliziganya wamu ne tekinologiya.[1][2] Okutuuka mu Gwokusatu mu 2021, akola nga omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti ya Lwengo mu Paalamenti ya Uganda eye kumineemu. Mu by'obufuzi, alina akakwate ku kibiina kya National Resistance Movement nga bano beebamuwa tikiti gyeyavuganyizaako mu kulonda kwa bonna okwa 2021.[1][2] Cissy awereza ne mu Paalamenti ya Uganda eye kumi wansi w'ekibiina ky'oby'obufuzi kyemimu.[1][2]
Cissy Dionizia Namujju
| ||
---|---|---|
Yazaalibwa | Nga 15 Ogwomusanvu mu 1977, ng'alina emyaka 46 | |
Eggwanga lye | Munayuganda | |
Obutuuze bwe | Munayuganda | |
Omulimu gw'akola | Munabyabufuzi | |
Emyaka gy'amazze mu by'obufuzi | Okuva mu 2016 okutuuka kati | |
Ky'asinga okumanyikibwaako | Byabufuzi | |
Ekitiibwa kye | Mubakwa wa Paalamenti |
Okusoma kwe
kyusaCissy Dionizia Namujju yafuna satifikeeti era nti yatuula S4 mu 2005, ate eya S6 mu 2007 okuva ku Modern Secondary School.[1][3] Alina Dipulooma mu Information Systems Management okuva ku APTECH gyeyafuna mu 2010.[1]
Emirimu gye
kyusaCissy Namujju yeeyali kalabalaba ku AGOA Girls okuva mu 2002 okutuuka mu 2003, nga tanaba kutandika kuwereza nga akunga banabyabufuzi ku lwa State House okuva mu 2003 okutuuka mu 2015. Okuva mu 2016 okutuuka kati, abadde Mubaka wa Paalamaneti. Mu Paalamenti ya Uganda eye kumi, abadde awereza ku kakiiko akavunaanyizibwa kunsonga z'ebweru w'eggwanga, nga kuno kw'ateeka akakiiko ka Sayaansi ne Tekinologiya.[1][4]
Obulamu bwe
kyusaSimukyala mufubo.[1][2] Asinga kwagala kwenyigira mu bya muzannyo, n'okusoma.[1] Cissy by'asinga okwetanira kuliko okulabirira abakadde, banamwandu wamu nebamulekwa, okulakulanya okulima nga okozesa tekinologiya, wamu n'okukunga abantu.[1]
Laba ne bino
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 1.8 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=290
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 https://web.archive.org/web/20210803112847/https://nrm.co.ug/staff/namujju-cissy-dionizia/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/51647-nrm-s-namujju-retains-mp-seat-after-successful-appeal
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2021-04-09.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)