Clare Byarugaba MunnaUganda ali mu kibiina kya LGBT mu Kampala. Azze awakanya ekya gavumenti okulwanyisa enkola eyo.[1] Y'akwanyaganya ekibiina ekirwanirira eddembe ly'abantu n'etteeka erikikwatako ekya Civil Society Coalition on Human Rights and Constitutional Law.[2] Mu 2013, Byarugaba yatumibwa okutandikawo ekitongole kya PFLAG mu Kampala nga kyakuyamba abo abalina oluganda ku bantu bano mu ggwanga olwensonga y'omukulembeze weggwanga okuwera omuze gw'ebisiyaga.[1] Oluvannyuma lw'okuguwera, yanoonyezebwa bannamawulire nga baagala kufuna kifaananyi kye basobole okukiteeka mu mpapula ekyali kitiisatiisa obulamu bwe.[3] Mu 2014, Byarugaba yeegatta mu lukungaana Lw'abakyala munsi yonna olw'amawanga okwanjula ensonga ze ezikwata ku kiruubirirwa kye mu kitongole kye eky'okuwa abakyala eddoboozi.[3] Byarugaba era yali ne mu ttendekero lya Oak Institute ng'omukiise mu ssomo erikwata ku Ddembe Ly'abuntu mu nsi yonna eryali mu ssomero eriyitibwa Colby College.

Obulamu bwe kyusa

Byarugaba yazaalibwa era naakulira mu Bukiikaddyo bwa Uganda.[1] Oluvannyuma lwa Ppulezidenti Yoweri Museveni okuwera omuze guno mu Uganda, maama wa Byarugaba yamutiisatiisa okumusibya olw'okubeera nga aganza bakyala banne.[4]

Ebijuliziddwa kyusa