Connie Galiwango Nakayenze (yazaalibwa nga 31 August 1967) munnabyabufuzi mu Uganda era omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Mbale mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu. Connie yaliko omubaka mu Palamenti ya Uganda ey’omwenda. Ali mu kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [1]

Nakayenze Connie Galiwango.jpg

Okusoma n'obulamu bwe

kyusa

Mukyala mufumbo. Connie yatuula ebigezo by'akamalirizo ebya Pulayimale (PLE) mu 1981 ku ssomero lya Gangama Primary School. Oluvannyuma yafuna satifikeeti y’abusomesa mu guleedi eky’okusatu mu 1989 okuva mu Kabwangasi Primary Teachers College ne Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1992 okuva e Mbale Hall. Alina Dipuloma mu by’enjigiriza ebya siniya okuva mu ttendekero ly’abasomesa erya National Teachers College, Nagongera (1995). Mu 2001, Connie yaweebwa engule ya diguli esooka mu mbeera z'abantu okuva mu Islamic University mu Uganda . Kuno yazaako diguli ey'okubiri mu by’enjigiriza mu 2008 okuva mu Yunivasite y’emu. [1]

Connie ayagala ennyo Volleyball, Music ne Net Ball.

Emirimu

kyusa

Connie yali musomesa mu Nabuyonga Primary School wakati wa 1989 ne 1993 nga tannaweereza ng’omusomesa mu Mbale SS (1995–2003) ne Mbale High School (2003–2011). Wakati wa 2011 ne 2016, yeegatta ku Palamenti ya Uganda ng’omubaka wa palamenti. Connie era yalondebwa ku bwa mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu mu kulonda okwaliwo mu January wa 2021 mu Uganda.

Mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi, akola nga Ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'enjigiriza n'emizannyo. Okugatta ku ekyo, akola nga mmemba w’akakiiko akakola ku siriimu n’endwadde ezibwekusaako era mmemba ku kakiiko ka bizinensi.

Laba ne

kyusa

Ebiyungo eby’ebweru

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0