Cornelia Sabiiti
Cornelia Sabiti Kakooza, abalala gwe bamanyi nga (née Cornelia Sabiiti),Muna'Yuganda eyasooma amateeka era mulamuzi mu Kooti enkulu eya Yuganda. yalondebwa omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni okweyunga ku Kooti eno, nga 8 Mukutulansanja 2018.[1]
Ebyafayo ne'byokusooma kwe
kyusaYatikirwa ku tendekero ly'amateeka e' Makerere University, Ssetendekero asinga obunene nobuganzi mu gwanga, ngayambala digulli mu mateeka emanyikidwa nga (Bachelor of Laws) mu lungereza. , omwaka ogwadako, yawebwa dipuloma mu kwegeza mu ku'lamula nokuteeka munkola esoomo lyamateeka mulungereza kyebayita (Diploma in Legal Practice) okuva ku tendekero elibangula banamateeka elya (Law Development Centre), mu Kampala. alina ne Dipuloma eyokubiri mu kugula ebintu mu'lungereza gyebayita (Postgraduate Diploma in Procurement), gyeyasomera ku kitongole ekigatta abakozi munsi yoona (International Labour Organization), ku tendekero lyayo e' Turin mu Italy.[2]
Gyenvudde'we mukukoola
kyusaMu myaka egyasooka ng'amaze okusooma, Ms Sabiiti yakola nga muna'mateeka omuwi wamagezi ow'ekitongole kya gavumenti ekivunanizibwa ku kugula nokutunda ebintu byomuwi w'omusoolo ekimanyikidwa nga (Public Procurement and Disposal of Public Assets Authority (PPDA), gyeya'kolera okumula emyaka musanvu. Yamala nalondebwa okukola ng'omuwandisi wa kampuni era mukiseera kyekiimu Nankuulu avunanizibwa ku kugoberela amateeka mu bulongoofu bwago ku PPDA (company secretary and director of Legal and Compliance at the PPDA). mu mugulansigo wa 2011, yalondebwa ku kisanja ekyemyaka omukaga okukulira ekingole kya Gavumenti kino.[3] Ngali kumulimu guno, yafumintiriza nyo ku kulongosa engeli gavumenti gyegulamu ebintu nga mu buli ndagano yogula ebintu, wakiiri ebitundu asaatu kubuli ki'kumi biwebwa ebitongole ebi'nansi. Mu 2017, Sabiiti yasalawo obutaza bugya endagano ye ne PPDA nasalawo adeyo mu mulimu gw'okuwoza amateeka.[4]
Mu 2018, Cornelia Sabiiti yalondebwa okweyunga ku Kooti enkulu eya Yuganda, mu taabi lya Kooti eno eri'kwasaganya eby'etaaka.[5]
ebijulizo
kyusa
- ↑ https://www.softpower.ug/museveni-nominates-14-justices-to-high-court-court-of-appeal/
- ↑ https://chimpreports.com/who-are-the-14-newly-appointed-judges/
- ↑ https://www.cips.org/supply-management/news/?page=1
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1449945/ppda-boss-sabiiti-bows
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Newly-appointed-high-court-judges-posted-duty-stations/688334-4361190-ab86v/index.html