Credonia Mwerinde (yazaalibwa mu 1952) ye yali akulira eddiini eyatuumibwa Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God, ekibiina ky'abakkiriza eky'eyawula ku nzikiriza yaRoman Catholic Church mu Uganda. Nga tannaba kutandikawo kisinde kino, yali atunda duuka, musogozi w'amubisi,[1] era omutunzi w'akaboozi k'ekikuli.[2] Mwerinde era yali mmemba w'ekibiina ky'abakkiririza mu Virgin Mary. Ye ne ba mmemba abalala babiri baatukirira Joseph Kibweteere mu 1989, n'ebamugamba nti Bikira Maria yali amulagidde okubawasa.[3] Kibweteere y'akkiriza, nti y'alabikirwa Biikira Maria okumpi n'amakage emyaka etaano emabega. Mwerinde ne Kibweteere batandiikawo ekisinde mu 1989.[3]

Ebimukwatako

kyusa

Mwerinde yali omu ku basatu abakulembera ekibiina ky'abakkiriza bano omwali Kibweteere, ne Dominic Kataribaabo, Omusumba eyali yagobebwa okuva mu Keleziya. Wabula Paul Ikazire, yali omukulembeze w'ediini eno ng'oluvanyuma yaddayo mu Keleziya, yamunyonyola ng'owamaanyi mu kisinde ekyo. Yagamba nti, "Enkiiko z'akubirizibwanga Sister Credonia, ng'eyali akulembera ekibiina. Kibwetere yalinga munnaddiini waabwe okusobola okwolesa obuyinza okuva eri abagoberezi abalala okukwasaganya enzikiriza yaabwe."[4] Mwerinde ye yali ensibuko y'ebyali biteberezebwa okubaawo mu kusaanyawo ensi yonna era n'okulangirira nti okununulibwa kwali kusangibwa mu bubaka bwa Bikira Maria.

Ekisinde kyakulira ku sipiidi y'awaggulu era nga abantu baali bateeberezebwa okubeera wakati wa 5,000 ne 6,000.Abapaatiri Abakatoliki abaali bamanyifu era ab'amaanyi n'ananaani babegattako era ne bakola nga abasomesa b'enzikiriza. Okusanyizibwawo kw'ensi kwali kuteeberezabwa okubaawo mu myaka lukumi oluvanyuma lw'okuzalibwa kwa Kristo. Oluvanyuma lw'ezikiriza eno okugobebwa mu Rwashamaire, kyaddizibwa mu kifo kya kitaawe wa Mwerinde mu Disitulikiti y'e Kanungu. Nga omwaka 2000 gunateera okutuuka, ba mmeba b'enzikiriza eno baatunda eby'obugagga byabwe amagoba ne bagazza eri obukulembeze bw'ekibiina.

Ensi bw'etaakomekkerera nga 1 Ogusooka, w'abalukawo akasambatuko mu kisinde. Ba memba batandika okubuuza ebibuuzo era ne batandiika okubanja okuddizibwa ssente n'ebintu byabwe. Abanonyerza ba Poliisi bakkiriza nti obukulembeze bw'ekibiina kino naddala Mwerinde, baatandika okusaanyawo abagoberezi baabwe ng'abatandikira ku kusaanyawo essinzizo ly'abwe erya Kanangu nga 17 Ogwokusatu 2000 mu muliro ogw'atta abantu 530 abaali munda. Emirambo kikumi gyasangibwa mu bifo by'ekibiina okwtoloola Obukiikaddyobwobugwanjuba bwa Uganda. Ekikkirizibwa okutemulwa kw'ekibiina kyonna, polisi oluvanyuma yakirangirira nti yali kinoonyerezaako ng'obutemu.[4]

Okubulawo kwe n'ebyava mw'ekyo kye yakola

kyusa

Mwerinde asuubirizibwa okuba nga yasimatuka nabbambula w'omuliro yakwata essinzizo. Ab'obuyinja mu Uganda bakkiriza nti yava mu lugya lw'ezikiriza eno e Kanangu mu saawa z'okumakya nga 17 Ogwokusatu. Mu Gwokuna 2000, polisi yafulumya walanti y'ensi yonna mukwata nge yekuusa ku butemu bw'ekibiina kye kyonna.

Mu Gwomwenda 2011, Mwerinde n'abalabi b'ebiseera ebyomumaaso abatebereza ennaku z'omwezi enkyamu ez'enkomerero y'ensi baweebwa ekirabo ekya Ig Nobel Prize "olw'okusomesa ensi okubeera abegendereza nga bakola ebibalo".[5][6]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebwru wa Wikipediya

kyusa

Template:Movement for the Restoration of the Ten Commandments of God