Crispus Walter Kiyonga (yazaalibwa 1 January 1952) munna Uganda eyakuuga mu busawo obw'okujanjaba abantu. Ono era munnabyabufuzi era nga ye ssenkulu(Chancellor) wa ssettendekero Makerere. [1] Ono okutuuka ku bukulu buno yadda mu bigere bya kakensa Ezra Suruma eyali akomekkereza ebisanja bibiri eby'essalira ku bukulu buno era natuuzibwa mu butongole nga 2 Ogwekkumi 2024 ku lunaku okwali omukolo ogw'okuggulawo ekizimbe ekikulu ku yunivasite e Makerere ekimanyiddwa ennyo nga Ivory Tower.[2][3][4][5] Dr Kiyonga era y'omu ku banna Uganda abalina obukugu mu nkolagana zamawanga era nga yaliko omubaka Uganda mu kibuga Beijing mu ggwanga lya China . [6] Kiyonga era yaliko Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zebyokwerinda wakati wa 2006 ne 2016. [7]

Chrispus Kiyonga Ssenkulu wa ssettendekero Makerere

Kiyonga era yaliko Minisita Atalina buvunaanyizibwa bwa nkalakkalira mu ofiisi ya Pulezidenti okuva mu 2005 okutuuka mu 2006. Kiyonga era yali mubaka w'abantu mu paalimenti ya Uganda akiikirira Bukonjo ey'obugwanjuba mu bitundu bye Kasese okumala emyaka egisoba mu 35 yadde nga ekifo kino yakifiirwa mu kulonda kwa 2016 bwe yameggebwa Godfrey Atkins Katusabe. [8]

Ensibuko n’obuyigirize

kyusa

Kiyonga yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Kasese mu bugwanjuba bwa Uganda nga 1 January 1952. Wakati wa 1959 ne 1966, yali muyizi ku Bwera Primary School, e Bwera, ku nsalo ya Uganda ne Democratic Republic of the Congo . Mu mwaka gwa 1967 okutuuka mu 1970, yasomera mu ssomero lya Nyakasura okuva mu S1 okutuuka mu S4. Yasomera S5 ne S6 mu Kings College Budo okuva mu 1971 okutuuka mu 1972. [9]

Ono yeeyunga ku ssettendekero Makerere mu mwaka 1973 okutuuka mu 1978, gyeyakoonola gye diguli ye eyasooka mu by’obusawo.Oluvannyuma yafuna sikaala eyamusobozesa okufuna diguli eyookubiri mu by’obulamu okuva mu Johns Hopkins School of Public Health mu mwaka 2004[10]

Emirimu

kyusa

Mu kulonda kw’eggwanga okwasooka okwaliwo oluvannyuma lwa gavumenti ya Idi Amin mu Uganda mu 1980, Kiyonga yeesimbawo era naawangula ekifo ku kaada y'ekibiina ki Uganda Patriotic Movement (UPM). ekyakulemberwanga Yoweri Museveni.Ono yawangula ekifo era nga kino kyamufuula omuntu yekka ku kaada UPM eyawangula mu kulonda okwo. Ono oluvanyuma yegatta ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM) ekyakulembera olutalo olwekiyeekera ku gavumenti ya Milton Obote eyali erangiriddwa ku buwanguzi bw'okulonda okwo[11]

  • 1986 - 1986: Minisita avunanyizibwa kubibiina by'obwegassi.
  • 1986 - 1992: Minisita w'ebyensimbi - mu buvunaanyizibwa bwa buno yagunjawo ekitongole ekiwooza ky'omusolo ekya Uganda Revenue Authority .
  • 1994 - 1996: Minisita w'ensonga z'omunda
  • 1996 - 2001: Minisita w'ebyobulamu - Yasiimibwa olw'okukwata obulungi ekirwadde kya Ebola e Gulu mu 2000. Ssentebe wa Global Fund.
  • 2001 - 2006: Minisita atalina buvunaanyizibwa bwa nkalakkalira mu ofiisi ya Pulezidenti
  • 2006 - 2016: Minisita w'ebyokwerinda

Wakati wa 1992 ne 1994, Kiyonga yava mu gavumenti okumala akaseera n’akola ng’omuwi w’amagezi mu Bbanka y’ensi yonna ne African Development Bank . Oluvanyuma yakomawo mu byobufuzi ebyokuvuganya mu 1994 bwe yalondebwa ku lukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda eya 1995 nga akiikirira Bukonjo County West obutasalako okutuuka mu 2016.[12] Mu 2016, yalondebwa okuba Omubaka wa Uganda mu China.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

kyusa
  1. https://www.independent.co.ug/dr-crispus-kiyonga-is-new-chancellor-of-makerere-university/
  2. https://ugandaradionetwork.net/story/dr-kiyonga-installed-makerere-university-chancellor
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/makerere-s-ivory-tower-reopens-with-new-features-and-technology-4783330
  4. https://softpower.ug/dr-crispus-kiyonga-installed-as-chancellor-of-makerere-university/
  5. https://news.mak.ac.ug/2024/01/prof-suruma-on-50-years-at-mak-8-years-as-chancellor/#:~:text=Ezra%20Suruma%2C%20Chancellor%20Makerere%20University,Chancellor%20(2016%2D2023).
  6. https://www.independent.co.ug/kiyonga-presents-credentials-china-president-xi-jinping/
  7. Mukasa, Henry (2 June 2006). "Ministries Allocated". New Vision. Kampala. Archived from the original (Archived from the original on 11 December 2014) on 11 December 2014. Retrieved 18 April 2019.
  8. https://ugandaradionetwork.net/story/fdc-sweeps-kasese-as-defense-minister-dr-kiyonga-loses-out
  9. https://web.archive.org/web/20190418164056/http://specialforcescommand.go.ug/the-ugandan-minister-of-defense-hon-dr-crispus-walter-kiyonga/
  10. https://web.archive.org/web/20190418164056/http://specialforcescommand.go.ug/the-ugandan-minister-of-defense-hon-dr-crispus-walter-kiyonga/
  11. https://web.archive.org/web/20190418164056/http://specialforcescommand.go.ug/the-ugandan-minister-of-defense-hon-dr-crispus-walter-kiyonga/
  12. Etukuri, Charles (9 November 2005). "Kiyonga: A Loyal Movement Cadre". New Vision (Kampala). Archived from the original on 9 April 2015. Retrieved 3 April 2015.