Cyprian Kizito Lwanga
Cyprian Kizito Lwanga (19, Ogwolubereberye 1953 – 3, Ogwokuna 2021) yali Munnayuganga Omukatoliki Omukulembeze Omukulu eyaweereza nga Ssabasumba W'essaza Ekkulu ery'eKampala okuva 2006 okutuusa lwe yafa. Okuva mu 1996 okutuuka mu 2006, yali Musumba w'essaza ly'eKasana-Luweero.
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaLwanga yazaalibwa nga 19 Ogwolubereberye 1953 ku kyalo kye Kyabakadde, mu Paliisi y'eNaggalama esangibwa mu kifo ensangi zino ekimanyiddwa nga Disitulikiti y'eMukono,nga eno esangibwa mu Kitundu kya Buganda mu Uganda mu Ssaza ly'eLugazi.
Lwanga yasomerako ku ssomero lya Kyabakadde Primary School. Oluvannyuma yayingira Seminaaliyo y'eNyenga mu 1964. Wakati wa 1972 ne 1974, yasomerako mu Seminaaliyo Enkulu ey'eKatigondo,nga kati esangibwa mu Disitulikiti y'eKalungu. Ebyedddiini yabisomera Ku Seminaaliyo y'eGgaba, mu Kampala. Mu 1979, yagenda naasomera mu Ssettendekero ya University of Clermont-Ferrand esangibwa e France, nga eno yasomererayo bya bukulembeze ku mirimu wamu n'ennimi nga essira yali asinze kuliteeka ku by'abukulembeze. Oluvannyuma, yasomera ku Ssettendekero endala eya Pontifical University of the Holy Cross esangibwa mu Rome, nga eno mu 1994, yawangula Diguli Ey'okusatu mu Tteeka lya Ekereziya Katolika.
Obusaseredooti bwe
kyusaLwanga yaweebwa obusaseredooti nga 8 Ogwokuna 1978 ku Lutikko e Rubaga nga yabuweebwa Kalidinaali Emmanuel Kiwanuka Nsubuga. Yaweereza nga omusaseredooti mu Ssaza Ekkulu ey'eKampala okutuuka 30 Ogwekkuminoogumu 1996.
Obusumba bwe
kyusaLwanga yalondebwa nga omusumba eyasooka ow'eSsaza ly'eKasana-Luweeero nga 30 Ogwekkuminoogumu 1996. Oluvannyuma yatikkirwa okuba omusumba buno nga 1 Ogwokusatu 1997 e Kasana-Luweero, nga yatikkirwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyali Ssabasumba wa Kampala, nga ayambibwako Omusumba Joseph Bernard Louis Willigers, nga omu yali musumba w'e Jinja wamu n'Omusumba Paul Lokiru Kalanda, nga ono yali w'eFort Portal.
Nga 19 Ogwomunaana 2006, Lwanga yalondebwa okubeera Ssabasumba ow'okusatu ow'eSsaza Ekkulu Ery'eKampala era nga yatuuzibwa ku ntebe nga Ssabasumba wa Kampala Ow'okusatu nga 30 Ogwomwenda 2006 ku lutikko e Rubaga nga yali asikidde Kalidinaali Emmanuel Wamala, eyalekulira okuva mu ekifo ekyo.
Nga 2 Ogwokubiri 2020, Lwanga yafulumye ekiragiro ekyali kigamba nti Abakatoliki bonna mu Ssaza Ekkulu ey'eKampala baalina okufuna Komunyo Entukuvu nga basemberera ku lulimi kwokka so si mu ngalo.[1]
Okufa kwe
kyusaLweyasembayo okulabikako mu bantu lwali ku lunaku Olw'okutaano Olutukuvu nga 2 Ogwokuna 2021. Wano, yavumirira okutyoboola edembe ly'obuntu okuli mu ggwanga, era kino kyaviirako engambo ezaali zigamba nti yaweebwa obutwa.[2] Lwanga yasangibwa mufu mu nnyumba ye nga 3 Ogwokuna 2021.[3] Okulonda bwekwali tekunnabaawo, ne bwe kwali nga kuwedde okwa 14, Ogwolubereberye, Lwanga yalaganga embeera ey'okutya okuttibwa.[4]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://www.latestnewssouthafrica.com/2021/04/03/uganda-archbishop-cyprian-lwanga-reportedly-dies/Uganda
- ↑ https://www.ntv.co.ug/ug/news/national/archbishop-cyprian-kizito-lwanga-s-last-appearance-in-public-3347684
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/97091
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/lwanga-s-postmortem-results-still-inconclusive--3349422
External links
kyusa- Over 13 Catholic Bishops For 18th Plenary Assembly
- Archbishop Lwanga Excites Guests
- Lwanga Preaches Humility
- End Corruption & Brutalty
Template:S-start Template:S-rel Template:S-new Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end