David Bahati (yazaalibwa nga 8 Ogwomukaaga 1973) Munnayuganda omubazi w'ebitabo era munnabyabufuzi.

Bahati David

ye Minisita omubeezi ow'ebyensimbi mu Kabinenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo mu kulondebwa kwa Kabinenti empya nga 1 Ogwokusatu 2015,[1] nga adda mu bigere bya Matia Kasaija.[2] Mubaka mu Paalamenti owa Ndorwa West, mu Disitulikiti y'e Kabale, mu Paalamenti ya Uganda era nga memba w'ekibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ekiri mu buyinza.[3] Mukulembeze w'ekibiina kya Scout Board of Uganda.[4]

Emisomo gye

kyusa

Bahati yafuna Diguli eya Bachelor of Commerce okuva ku Yunivasite y'e Makerere, ne Diguli ya Master of Business Administration okuva mu Cardiff University, Satifikeeti ya strategic management okuva mu Wharton School ku University of Pennsylvania, Satifikeeti mu bukulembeze bwa kakuyege okuva mu ttendekero lya Leadership Institute, era ne Dipuloma mu business English okuva ku Manchester Business School. Carl Cooper, eyali omulabirizi wa St. Davids, yagamba nti, "kyali kirungi nnyo okukizuula nti Omubaka wa Paalamenti, Mr David Bahati, naye alina Diguli ey'okubiri okuva mu University of Wales era yali amaze akaseera nga asomera mu Cardiff. Wales’ okwetabamu oluusi kugaziyira ddala wala n'okusinga bwe tukiraba."[5][6] Nga tannayingira bya bufuzi, Bahati yeyali akwasaganya ensimbi mu Uganda's Population Secretariat. 

Okwanjulwa kw'ebbago eriwakanya ebisiyaga mu Uganda

kyusa

Bahati yamanyika mu nsi z'ebweru mu Gwekkumi 2009 oluvanyuma lw'okwanjula ebbago ly'etteeka ku bisyaga mu Uganda erya Uganda Anti-Homosexuality Bill nga etteeka ly'omubaka kinnomu nga 13 Ogwekkumi ng'ateesa nti wateekebwewo mu Uganda lituumibwe "aggravated homosexuality" erinaabonerezebwa nga okulyamu Ensi olukwe.[7] Ekiteeso kyalimu enteekateeka okwanjula okuttibwa kw'abasajja abasiyaga bannaabwe abali wansi w'emyaka 18, abantu abaliko obulemu, oba nga avunaanibwa olina akawuka akaleeta mukenenya,[8] oba abasingisibwa omusango gw'obusiyazi. omulwanirizi w'eddembe lya bannamawulire n'abasiyazi Jeff Sharlet (omuwanguzi w'engule mu International Gay and Lesbian Human Rights Commission) akkaatiriza nti mu Kafubo ak'ekyama Bahati yamugamba nti ayagala "okutta buli musiyazi okutuuka ku asembayo."[9]

Sharlet yaleeta ekiteeso nti etteeka eryo lyajja olw'okuba Bahati y'ali mmemba mu kibiina ky'Abakristaayo ekya The Family.[10] Yayatula nti Bahati yasoooka ne yeesonyiwa ekirowoozo ky'etteeka (mu kaseera ako lyalimu okuttibwa kw'abakabasanya abasiyazi, abaliko obulemu, oba abasajja alina akawuka akaleeta mukenenya) mu kiseera ky'ekyenkya eky'ensi yonna mu 2008.[11] Bob Hunter, mmemba owa Famire, yawa emboozi y'akafubo eri aba NPR mu Gwekkumineebiri 2009 omwali okusiima enkwatagana ya Bahati naye y'akakasa nti tewali Mumerika awagira tteeka eryo.[12] Amawulire g'etteeka ku busuyazi bwe gaatuuka ku bazungu, Bahati yagaanibwa okwetaba mu lukiiko lwa 2010 U.S. National Prayer Breakfast.[11]

Bahati yabuuzibwa Rachel Maddow mu Gwekkuminebiri 2010. Bahati yagamba nti miliyoni 15 eza Doola zaaweebwayo mu Uganda okuwandiisa abaana.[13] Bwe kyafulumizibwa Maddow obukoddyo "bw'okuwandiisa", ky'alaga nti "Bagenda ku ssomero, ne babasomesa, nga babasikiriza ne ssente, okubakema okuyingira mu kikolwa kino". Bahati yakakasa nti obutambi busaasanyibwa mu Uganda obugamba nti "omusajja okwebaka ne musajja munne tekirina buzibu," obwa kozesebwanga "okuwandiisa". Maddow kino y'akiwakanya, ng'agamba nti "abasiyazi okuwandiisa kw'abaana nzikiriza y'abulijjo mu mawanga gonna agateesa ku tteeka eryp nga bwe lyaleetebwa mu Uganda."[11] Bahati yakinogaanya nti ebbago lye yaleeta lijja kuyita mu mitendera emituufu egya Uganda era kijja kukubaganyizibwako ebirowoozo. Okwongerezaako kw'ekyo, Bahati alina okukkiriza nti Americaerina okuwa ekitiibwa obuyinza bw'ayo era ne mu tteeka lya Uganda lijja kukola ku Bannayuganda bokka.[14]

Nga 20 Ogwekkumineebiri, 2013 Paalamenti ya Uganda yayisa etteeka lya Uganda Anti-Homosexuality Act, 2014 n'ekibonerezo ky'okutta nga kisikiziddwa okusibwa amayisa.[15]

Etteeka lino ly'assibwako omukono Pulezidenti wa Uganda nga 24 Ogwokubiri 2014.[16][17] Nga 1 Ogwomunaana 2014, however, the Kkooti etaputa Ssemateeka wa Uganda yayisa nti etteeka lyali teryayita mu mitendera emituufu.[18][19][20]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

Ebijulizo

kyusa
  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-08-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.bloomberg.com/news/articles/2015-03-01/uganda-s-museveni-promotes-matia-kasaija-to-finance-minister
  3. https://web.archive.org/web/20110716111330/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=339&const=Ndorwa+County+West&dist_id=55&distname=Kabale
  4. https://web.archive.org/web/20100423145348/http://edmi.parliament.uk/EDMi/EDMDetails.aspx?EDMID=40483&SESSION=903
  5. https://web.archive.org/web/20110607060107/http://www.churchinwales.org.uk/press/display_press_release.php?prid=4461
  6. http://www.walesonline.co.uk/news/local-news/bishop-pours-out-water-life-2252542
  7. http://www.pinknews.co.uk/2009/10/15/ugandan-mp-proposes-that-gays-should-be-executed/
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/HIV
  9. https://www.npr.org/templates/story/story.php?storyId=129422524
  10. https://www.npr.org/templates/story/story.php?storyId=120746516
  11. 11.0 11.1 11.2 https://web.archive.org/web/20111110122244/http://today.msnbc.msn.com/id/34362943/ns/msnbc_tv-rachel_maddow_show/
  12. https://www.npr.org/templates/story/story.php?storyId=121755993&ps=cprs
  13. http://www.ontopmag.com/article.aspx?id=7061&MediaType=1&Category=26
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2013-02-20. Retrieved 2021-08-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-25463942
  16. http://edition.cnn.com/2014/02/24/world/africa/uganda-anti-gay-bill
  17. http://www.news24.com/Africa/News/Museveni-signs-Uganda-anti-gay-bill-20140224
  18. https://www.theguardian.com/world/2014/jul/31/uganda-anti-gay-law-constitutional-court
  19. https://www.bbc.com/news/world-africa-28605400
  20. http://www.timeslive.co.za/africa/2014/08/01/uganda-constitutional-court-annuls-new-anti-gay-law