Hon.Derrick Nyeko

Derrick Nyeko Keko yazaalibwa 1992, munabyabufuzi omunayuganda, omulimu, ng'ate mubaka wa Paalamenti akiikirira Makindye Eyobuvanjuba mu Paalamenti ya Uganda eyekuminoomu okuva mu 2021 okutuuka mu 2026[1] ng'era ye minisita ow'ekisikirize kunsonga z'omukulembezze w'eggwanga ne ebyobukuumi. Yawasa Ruth kirabo Nyeko[2][3][4] Y'omu ku bali mu kibiina ekivuganya gavumenti ekya, National Unity Platform (NUP) era awagira ekisinde kya People Power, Our Power movement. Mukusooka yali yeekuusa ku kibiina ekiri mu by'obufuzi bw'eggwanga ekya National Resistance Movement (NRM).[5][6]

Nyeko Derrick.jpg

Emirimu gye

kyusa

Nyeko yawerezaako ng'omuwaandiisi w'ensonga z'abayizi ku kakiiko ka Uganda Youth Council for Market Zone mu 2011. Oluvannyuma yalondebwa ku ky'omuwandiisi w'oby'amawulire mu mwaka gwegumu n'akola n'akakiiko k'abavubuka mu Buganda ku mutendera gw'omuluka. Yawerezaako nga kansala w'abavubuka ku kakiiko k'ekibuga e Makindye wamu n'okubeera omuwandiisi w'oby'amawulire ku kakiiko k'abavubuka ba NRM mu Kampala, ekifo ekyaletawo obutakaanya kuba yali alabibwa ng'eyali mu bibiina by'obufuzi byamirundi ebbiri, ekya NRM ekifuga wamu n'ekivuganya ekya National Unity Platform (NUP).[7]

Nyeko yasala okuva mu National Resistance Movement (NRM) okudda mu National Unity Platform (NUP) ng'omuwakanya w'okwongerayo ku myaka omukulembezze w'eggwanga gy'alina okufugira, ekyali kiraga nga pulezidenti Museveni yali wakusigala mu buyinza okumala emyaka egisuka mu 35. Oluvannyuma yeesimbawo ku ky'omubaka wa Paalamenti okukiikirira Makindye Eyomubuvanjuba n'awangula eyali mu kifo kino Hon. Ibrahim Kasozi owa FDC, ekibiina ekirala ekiwakanya gavumenti.[8][9] Oluvannyuma yaweebwa eky'okubeera Minisita ow'ekisikirize ku by'ensonga za Pulezidenti n'Obukuumi, mu kabineeti ey'ekisikirize n'akulembera oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda Hon. Mathias Mpuuga.[10]

Okukwatibwa

kyusa

Nyeko yakwatibwa n'ateebwa enfunda eziwera mu kakuyege gweyaliko ng'anoonya eky'omubaka wa Paalamenti, era ng'ali n'omukulembezze wa NUP Bobi Wine mu kaseera Bobi keyaliko ng'anoonya bululu bw'okubeera pulezidenti w'eggwanga n'okwegugunga okwaliwo nga bawakanya okubulawo kw'abawagizi abaali kuludda oluvuganya.[11]

Ebimukwatako n'okusoma kwe

kyusa

Nyeko yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya mu Kampala mu 1992 tabazadde b'eggwanga lya Japadhola, nga kitaawe y'omwami Paineto Ofumbi n'omukyala Florence Ofumbi. Yakulira mu Wabigalo, Namuwongo mu Disitulikiti y'e Kampala mu famire y'abaana mukaaga. Yasomera ku Ebenezer Primary School mu Wabigalo, St. Peter’s Secondary School e Nsambya gyeyamalira S4 ate S6 n'agituulira ku St. Mary’s College Lugazi. Oluvannyuma n'agenda kutendekero lya Kampala Film School gyeyatikirwa ne dipulooma mu kukwata firimu.[12][13]

Ebijuliriziddwamu

kyusa
  1. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nyeko-derrick-7482/
  2. https://www.parliament.go.ug/page/shadow-cabinet-25-june-2021
  3. https://www.matookerepublic.com/2022/12/28/photos-nup-mp-derrick-nyeko-proposes-to-girlfriend/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-04. Retrieved 2024-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.youtube.com/watch?v=lY4r_SkBLjU
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/how-nup-mps-plan-to-spend-shs200m-car-cash-3485838
  7. https://www.independent.co.ug/nup-unmoved-by-derrick-nyekos-current-position-in-nrm/
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/105290
  9. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nyeko-derrick-7482/
  10. https://www.independent.co.ug/shadow-cabinet-niwagaba-nyeko-and-bwanika-picked/
  11. https://ugandaradionetwork.net/a/file.php?fileId=222189
  12. https://observer.ug/lifestyle/68438-i-m-a-muganda-derrick-nyeko
  13. https://www.youtube.com/watch?v=BBXpbRoK8es

Ewalala w'osobola okubigya

kyusa