Diana Atwine
Diana Kanzira Atwine (yazaalibwa mu 1973), era Diana Atwiine, musawo Munnayuganda era omukozi wa Gavumenti. Y'ali mu offiisi ya Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu Minisitule y'ebyobulamu eya Uganda.Omukulembeze w'eGgwanga Yoweri Museveni yamulonda mu kifo ekyo nga 4 Ogwekkuminogumu 2016[1]. Yadda mu bigere bya Dr. Asumani Lukwago, eyakyusibwa okubeera omuwandiisi ow'enkalakkalira ow'ebyenjigiriza eya Education Services Commission.[2]
Obuvo n'obuyigirize bwe
kyusaAtwine yazaalibwa mu 1973, mu Galiraya, akaalo akatono mu bukiikakkono bw'olubalama lw'enyanja Kyoga, mu Disitulikiti y'e Kayunga, mu masekkati ga Uganda. Muwala wa Ernest Rujundira ne Joy Kensheka Rujundira, era nga mwana waakusatu.[3]
Yasomera ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School mu mutendera gwa Siniya ogusookerwako ogwa (O-Level) ne Mount Saint Mary's College Namagunga ku mutendera gwa Siniya eya waggulu ogwa (A-Level), n'atikkirwa Dipuloma eya High School Diploma . Yaweebwa ekifo ku Yunivasite y'e Mbarara ey'ebyeddagala eya Mbarara University School of Medicine, gye yatikirwa Diguli eyookubiri mu by'eddagala n'okulongoosa eyitibwa Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery Okugoberera ekyo, essira yalissa ku ddagala ly'omunda era n'atikkirwa Diguli eya Master of Medicine ku Yunivasite y'emu.[3]
Ebyemirimu
kyusaDr Atwine yakolerako ku ddwaliro lya St. Francis Hospital Nsambya, okumala akaseera katono, nga tanneegatta ku biina ekikola ku by'okunoonyereza ekya Uganda Joint Clinical Research Centre (JCRC). Okuva awo yagenda mu maka g'Obwapulezidenti mu Uganda, gye yaweebwa ekitiibwa eky'omuwandiisi ow'ekyama ku nsonga z'ebyobujjanjabi bwa Pulezidenti. Ng'ali mu kifo ekyo, yaweereza ng'omu ku bajjanjabi ba Pulezidenti Museveni. Mu 2009, yaweebwa obuvunaanyizibwa okukulira ekibinja ekirondoola eddagala n'obujjanjabi mu malwaliro ga Gavumenti, okusingira ddala nga baweereddwa obuvunaanyizibwa okunoonyereza ku buli bw'enguzi mu Minisitule y'ebyobulamu mu Uganda.[3]
Okutuuka mu Gwomukaaga 2010, ekibinja kye yaweebwa okukulembera kyali kizudde:
(a) Akabinja k'abamenyi b'amateeka Bannayuganda ne Bannakenya abaali batunda eddagala ku nsalo z'amawanga gombi.
(b) Kyatwala emisago 78 mu Kkooti.
(c) Yanunula eddagala eryali libbiddwa eribalirirwamu obukadde 200 obwa Uganda (ze Doola za America 60,000).
(d). Yakwata abafere 12, abaali beefula abasawo abatendeke ate nga tebaali. Oluvanyuma mu Gwomunaana 2010, yazuula nti abakozi abakunukkiriza 300 baali basasulwa Gavumenti so nga tebaaliyo mu ddwaliro ekkulu erya Mulago.[3] Mu kulonda abawandiisi aba'enkalakkalira abaggya mu Kabinenti, yalondebwa mu kifo ky'alimu kati eky'Omuwandiisi ow'ekalakkalira owa Minisitule y'ebyobulamu nga 4, Ogwekkuminoogumu 2016.[4]
Ebyomubuntu
kyusaDiana Atwine mufumbo era maama w'abaana basatu.
Laba na bino
kyusaEbijulizo
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Dr-Diana-Atwine-PS-health-ministry/688334-3440772-h7kugcz/index.html
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Radio_Network
- ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "Back" defined multiple times with different content - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor