Diana Nkesiga
Diana Nkesiga y'omu ku bakyala abasooka okufuuka Abawuule mu Kkanisa y'Abakulisitaayo mu Uganda. Oluvanyuma lw'okufuna Diguli ye mu theology, teyasobola Kwawulibwa wabula alina emirimu gye yaweebwa okukola mu 1989 era nga Dikon mu 1991. Yafuulibwa omusumba mu 1992, yasindikiriza ab'obuyinza mu Uganda ne mu South Africa, gye yali aweereza ng'akulira eby'okubuulira enjiri n'ebamukkiriza okubeeera Omusumba. Mu 1994, yatuuzibwa ku ky'Omusuma mu Kkanisa ya Uganda. Bwe yakomawo okuva e South Africa, yafuna obuzibu mu kunoonya obusumba bw'anaweererezaau okutuusa Omulabirizi Desmond Tutu bwe yabiyingiramu. Oluvanyuma lw'emyaka 13 mu South Africa, yakomawo mu Uganda mu 2005. Ye Vika wa Lutikko ya All Saints' Cathedral mu Kampala.
Ebimukwatako
kyusaDiana Mirembe Barlow yazaalibwa mu 1960, e Munyonyo ero omukyala Mary Nantongo n'omwami Hugo Barlow. Oluvanyuma lw'kusoma ku Nakasero Primary School ne Gayaza High School, yegatta ku National Teacher's College Kyambogo mu 1981. Yatikkirwa mu 1983 ne Satifikeeti mu busomesa ow'olulimi Olungereza n'essomo ly'eddiini. Bweyamaliriza Diguli ye, yasomesa ku Gayaza High School okumala emyaka esatu nga tannaba kwegatta ku Bishop Tucker Theological College mu 1986 e Mukono. Barlow Yasisinkana muyizi munne Solomon Nkesiga mu Gwomwenda, 1986 era oluvanyuma lw'omukwano ogwamala emyaka esatu, basalawo okufumbiriganwa era bagatibwa ku Kkanisa ya St. Francis Chapel e Makerere mu 1989, omwaka gwe yatikkirwamu.[1]
Ekifo Solomon kye yasooka okuweerezaamu kwali kusomesa mu Kigo ky'abajulizi eky'Abakulisitaayo ekya Anglican Martyr’s Theological Seminary e Namugongo Nkesiga yaweebwa obuvunayizibwa okubaako emirimu gy'akwasaganya mu 1989, ab'Ekkanisa y'Abakulisitaayo naye yali takkirizibwa kubuulira njiri.[2] Ba Kaminsona tebaali bawule naye baali nga bayivu okusinga ku babuulizi,[3] era balinga tebasasulwa oba nga basasulwa ssente z'amuswaba.[2] Wabula yafuna ssente mu kutunda (tomato sauce), byeyali yayigira mu mwoleso gw'abasuubuzi. Kyali kiseera kya Lutalo mu Uganda ebiseera ebyo olwali wakati w'abayekeera olw'ava kuyekera Gavumenti era n'obulamu bw'afuuka buibu.[1] Nkesiga yafuulibwa Dikoni mu 1991, era yali w'akutuuzibwa okuuuka omusumba mu 1992, wabula omukisa gw'amusuuba olw'olubuto lwe yali olw'omwana we ow'okubiri.[2] Mu mwaka ogwo gwennyini, baweebwa omukisa okubuulira enjiri mu South Africa era n'atwalibwa mu Busumba bwa Grahamstown, mu Grahamstown, South Africa.[1]
Nga Nkesiga bwe yali takkirizibwa kubuulira njiri, yakuza batabani be ababiri n'ebawalabe babiri era yatandiikawo essomero ly'eyatuuma Stepping Stones, essomero ly'ekikulisitaayo ely'ogera Olungereza. Yatandiikawo essomero ewaka ng'akozesa ensimbi ze okutuusa Ekkanisa ne Gavumenti bwe basalawo okumuyamba mu by'ensimbi. Mu 1994, bayanja ekibuuzo ky'Omwawule omukyala mu Kkanirsa ya Church of the Province of Southern Africa wabula ky'aganibwa. Wabula, Omulabirizi Misaeri Kauma owa Namirembe Cathedral yateekateeka okwawulibwa kwe mu Uganda. Newankubadde ekisanja kye kyaggwa, Omulabirizi Balagadde Ssekadde, yamutuuza mu 1994.[1] Yaddayo mu South Africa, naye tewaali busumba bwonna n'olwekyo y'afuulibwa akulira eby'enzikiriza ku Yunivasite[1] ya University of Port Elizabeth.[3] Yasulwa kitundu okusinziira ku zasasulwa abasajja. Ekifaananyi ekyakubibwa mu biseera ebyo kimulaga ng'alina akatoji k'abasumba mu maaso g'Ekkanisa ng'akutte ekipande ekigamba, “Omusumba omukyala atalina murimu, abatabani babiri, omwami omu, mukama abawe omukisa.” Enkyukakyuka yaliwo mu 1995, Omulabirizi Desmond Tutu bwe yamulemerako okukola mmisa wamu naye ey'okusembeza abantu ku mmeeza entukuvu era nga ye yasooka.[2] Mu 1997, Nkesiga yatandiika okukola mu Pulogulaamu za HIV/AIDS.[1] Ye musumba omukyala eyasooka okupangisibwa ku Kkanisa ya Saint Augustine Church mu Anglican Diocese of Port Elizabeth[4] erayaweereza ng'akulira Ebyenzikiriza ku Yunivasite ya Port Elizabeth ne Port Elizabeth Technikon okutuusa mu 2004. Mu kaseera k'ekamu, yafuka akulira eby'enzikiriza ku St Francis Hospice[5] era n'asigala n'ekitongole ekyo okutuusa mu Gwekkuminogumu 2005 bwe yakomawo mu Uganda[6] oluvanyuma lw'emyaka 13 ng'ali mu South Africa.[1]
Bwe yakomawo mu Uganda, Nkesiga yakola ne Viva Network Africa, nga tannalonebwa ku kifo kya Viika wa Lutikko ya All Saints’ Cathedral mu 2007. Bba wa Nkesiga Solomon, yazalibwa nga 5 Ogwokubiri 1960, Yafa nga 23 Ogwokusatu 2015, ku myaka 55.[7]
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 Mazinga, Mathias (29 November 2014).
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 "Archive copy". Archived from the original on 2015-12-16. Retrieved 2024-04-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 Rwakabukoza, Rebecca (30 March 2013).
- ↑ "Saint Augustine".
- ↑ https://web.archive.org/web/20151216040233/http://www.pechurchnet.co.za/news/iindaba2406.php
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-04-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Nakibuuka, Beatrice (31 October 2016).