Dorcus Acen

Munnabyabufuzi omunnayuganda

 

Dorcas Acen

Dorcus Acen, abasinga gwe bamanyi nga Dorcas Acen, munnabyabufuzi, Munnayuganda akiikirira abakyala ba Disitulikiti ya Alebtong mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi n'emu.[1][2] Yeesimbawo ku ky'Omukyala omubaka mu Paalamenti ya Uganda owa Disitulikiti ya Alebtong ey'ekumi nga munabyabufuzi eyali talina kibiina kyagiddemu.

Mu kulonda kwa 2021, Dorcus Acen yali yeekuusa ku kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Mu biseera byeyakolerau kakuyege w'okunoonya obululu, yawaayo ambyuleensi bbiri mu Disitulikiti gyebamuzaala okuyamba okwanguya ensonga z'abalwadde ababeera balina okutwalibwa mu malwaliro nga tebalinda, ssaako n'okwanguya ensonga y'okulwanyisa obutasaasaana bwa kirwadde kya COVID-19.[3] Yawa abantu nadala abatesobola akawunga n'ebinjanjalo mu Disitulikiti, abaala obulamu nga bugotanyiziddwa omugalo olwali gwongeddwako, n'engeri endala pulezidenti zeyali ataddewo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 okwetoloola eggwanga lyonna.[3] Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna mu 2021, Acen yalondebwa ng'oubaka omukyala owa Disitulikiti ya Alebtong.[4][5] Mu Paalamenti eyekumineemu, awereza ku kakiika k'ekikula ky'abantu, emirimu n'enkulakulana y'ebitundu.[6]

Emirimu gye

kyusa

Yakolako ku GBV Prevention Network ng'omuntu eyali alwanyisa obutabanguko obuva kunsonga z'okwegata wamu n'obutabanguko obuleeta okutulugunya abakyala.[7] Mu 2018, yakolako ng'omuwabuzi w'alwanirira ekikula ky'abantu n'okukikuuma mu kitongole kya CARE International mu South Sudan, gyeyali avunaanyizibwa kuntambula za pulogulaamu z'ekikula ky'abantu n'okukikuuma.[8][9]

Laba nebino

kyusa

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa