Doreen Nyanjura
Doreen Nyanjura yazaalibwa awo nga mu 1989) munayunganda nga munabyafuzi eyalondebwa ng'omumyuuka wa Loodi Meeya owa Kampala nga 18 Ogwomukaaga 2020, ng'adda mu kifo ekya Sarah Kanyike. Era akola ng'omukulembeze w'abakyala ku L.C5(LCV), akiikirira Yunivasite ya Makerere mu Kampala Capital City Authority, ekitongole ekikulembera Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Yalondebwa mu kifo ky'alina kati mu 2016.
Ebyafaayo n'okusoma
kyusaDoreen Nyanjura yazaalibwa mu 1989, mu Fort Portal, disitulikitit eye Kabarole, mu bitundu by'obugwanjuba obw'eggwanga. Mwana wakusatu mu maka g'abaana musanvu. Bazadde be bayawukana ng'abaana bakyali bato; abaana bakula ne kitaabwe era nyaabwe bamukyaliranga mu biseera by'oluwummula. Kitaawe, Samson Muhenda, omusomesa, yaweereza ng'omumyuka w'omukulu w'essomero lya Nyakasura.
Doreen yasomera mu Pulayimale ez'omu kitundu. Mu 2003 yakyuusibwa n'adda mu Kyebambe Girls' Secondary School, mu Fort Portal, gye yamaliriza emisomo gye egya O-Level n'afuna Uganda Certificate of Education. Mu buyigirize bwe obwa A-Level, yagenda mu ssomero lya Masheruka Girls School, mu kiseera ekyo mu Disitulikiti ya Bushenyi, naye nga kati eyitibwa Sheema disitulikiti. Ku ssomero lya Musheruka Girls, yafuna diguli ya Uganda Advanced Certificate of Education.[1] Mu 2009, yayingizibwa mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene era ey'edda mu Uganda, n'afuna diguli esooka mu by'obulambuzi, oluvannyuma lw'emyaka esatu. Mu Ogw'ekkuminebiri 2018, yaweebwa ekifo ku pulogulaamu eya Master of Arts in Public policy, ku Makerere University.[1]
Ebyafaayo by'ebyobufuzi
kyusaDoreen yatandika okwenyigira mu by'obufuzi mu 2001 ku myaaka 12. Yalowooza nti Kiiza Besigye eyali alondeddwa okubeera omukulembeze w'eggwanga teyaweebwa kifo kya bwenkanya okuteekawo n'okunnyonnyola manifesito ye. Olw'okuba nti yali akyali muto nnyo okulonda, yasaba kitaawe okulonda Besigye.
Yagenda mu maaso n'okwenyigira mu kwekalakaasa kw'abayizi mu ssomero lya siniya, bweyeetaba mu kwekalakaasa eri kw'abakulembeze b'essomero abamu n'emmere embi mu ssomero erya Kyebambe Girls. Ku ssomero erya Masheruka Girls, yalondebwa okubeera Ssentebe w'akakiiko k'essomero. Kino kyamuwa okwekirirzaamu mu bukugu bwe obw'obukulembeze era n'amuzzaamu amaanyi okubeera omunyiikivu mu kibiina ky'eby'obufuzi ekivuganya gavumenti, Forum for Democratic Change (FDC).
Mu yunivaasite, yagenda mu maaso n'okwenyigira mu kukungira FDC. Yalondebwa ng'omumyuka w'omukulembeze w'ekibiina kya Makerere University Guild, era n'ategeka era oba yeenyigira mu kwekalakaasa kw'abayizi okw'enjawulo ku ssomero. Obuljjumbize bwe bwaleetera abakulembeze mu kibiina kya FDC okumwetegereza.
Mu 2012, yakwatibwa olw'okuwandiika ekitabo ekiyitibwa "Is It a Fundamental Change?". Ekitabo kyavumirira ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza, National Resistance Movement. Yakwatibwa wamu nemuwandiisi munne, Ibrahim Bagaya Kisubi. Omusango gwagwa butaka, naye omuwawaabirwa yamala ebbanga ng'asibiddwa mu kkomera lya Luzira Maximum Security Prison.
Oluvannyuma lw'okumaliriza diguli ye esooka, yagaana omulimu ogw'enkalakkalira mu Uganda National Social Security Fund kyokka mu kifo ky'ekyo n'atandika okukola okunoonyereza okw'ekiseera n'abakulembeze b'oludda oluvuganya mu palamenti. Mu 2016, yawangula ekifo kya LCV Woman Representative mu Kampala Capital City Authority. Mu Ogwokubiri 2020, Doreen Nyanjura y'akulembera ng'ava mu kibiina eky'eby'obufuzi ekya FDC, neyesimbawo nga Sipiika wa KCCA, ekifo ekipya eky'otondebwawo.