Dorothy Okello
Dorothy Okello Munnayuganda omukugu mu bya masanyalaze, era Pulofeesa amanyikiddwa olw'okutandikawo ekibiina ky'abakyala ekya Women of Uganda Network or WOUGNET.[1][2] Mu 2016, yafuuka Pulezidenti omukyala eyasooka ow'ettendekero lya Uganda Institution of Professional Engineers[3]
Emisomo gye
kyusaAlina Diguli mu byamasanyalaze eya BSc in Electrical Engineering okuva ku Yunivasite y'e Makerere, mu Uganda, nga yagifuna mu 1992, ne M.S. in Electrical Engineering (1999) okuva ku University of Kansas ng'eno yali asomera sikaala ya Gavumenti,[4] saako ne Ph.D. mu by'okukanika amasanyalaze (2004) okuva ku McGill University mu Montreal, Canada (ng'eno gyeyafunira sikaal ya Commonwealth Scholarship).[5] Akoze bukubirire okutuubula abakyala n'ebyalo okunyikira okwagala okumanya.[6]
Emirimu gye
kyusaY'akwasisa empisa mu ssomero ly'ebyamasanyalaze ku Yunivasite y'e Makerere.[7] Ye mukyala eyasooka mu Africa okuwangula eky'omukyala atawunyikamu mu kukola n'okukozesa omutimbagano nga ekirabo kino kyamuweebwa ku mikolo gya Africa ICT Days gala egyali egyakamalirizo egyabaawo nga 16 Ogwekkuminogumu mu Yaoundé, Cameroon.[8]
Mu Gwekkumi 2012, Okello yaweebwa Awaadi ya Women Achievers Award olw'obuweerezabwe mu kutumbula abakyala n'abawala nga ayita mu Sayansi ne Tekinologiya.[9]
Okello yalondebwa nga Pulezidenti omukyala eyasooka ow'ettendekero lya Uganda Institution of Professional Engineers egyayindira ku ttendekero lya institution AGM nga 29 Ogwokuna 2016.[10] Nga 2 Ogwomukaaga 2016 ebbaluwa emuyozayoza okuva ewa Pulezidenti wa Irish Michael D. Higgins yamutuusibwako Ambasada wa Irsh mu Uganda Dónal Cronin olw'okubeera Pulezidenti omukyala ow'ettendekero eyali asoose.[11]
Ebitabo ebyafulumya emirimu gye'yanonyerezaako
kyusaAweebwa ekitiibwa mu by'okunoonyereza era emirimu gye egisinga agikoledde ku mukutu gwa netLabs!UG, senta y'okunonyereza mu dipaatimenti ye'byamasanyalaze n'ebyuma bikalimagezi ku Yunivasite.[12] Emirimu gye gifulumiziddwa mu mpapula z'amawulire ne magazine ezenjawulo nga (1) Coverage and rate of low density ABS assisted vertical heterogeneous network akafulumizibwa mu 2022 IEEE 33rd Annual International Symposium on Personal, Indoor and Mobile Radio Communications (PIMRC)[13] (2) Unmanned aerial vehicles: opportunities for developing countries and challenges which was published in the 2020 IST-Africa Conference (IST-Africa)[14] (3) A deep reinforcement learning-based algorithm for reliability-aware multi-domain service deployment in smart ecosystems.[15] (4) Effect of different organic substrates on reproductive biology, growth rate and offtake of the African night crawler earthworm (Eudrilus eugeniae).[16] (5) Resource-aware workload orchestration for edge computing published in 2020 28th Telecommunications Forum (TELFOR).[17] (6) Leveraging the technology of unmanned aerial vehicles for developing countries published in SAIEE Africa Research Journal.[18] (7) Rebuilding the internet exchange point in Uganda published by the 2017 28th Irish Signals and Systems Conference (ISSC).[19] (8) Regulatory and broadband industry responses to COVID-19: cases of Uganda, Peru, and the Caribbean.[20] (9) Enabling models of Internet eXchange Points for developing contexts.[21] (10) Co-designing with engineers for community engagement in rural Uganda published by Oxford University Press.[22]
Ebikwata ku Famile ye
kyusaOkello mufumbo era alina abaana basatu.
Ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://books.google.com/books?id=EofNE4lpPb0C&pg=PA376
- ↑ https://books.google.com/books?id=jMyeBQAAQBAJ&pg=PA304
- ↑ https://www.independent.co.ug/interview-engineer-dr-dorothy-okello-sparkles-male-dominated-profession/
- ↑ https://web.archive.org/web/20220316201814/https://www.ucc.co.ug/eng-dr-dorothy-okello/
- ↑ http://www.unisa.ac.za/contents/conferences/Heltasa2013/docs/DorothyOkelloShortProfile_June2013.pdf
- ↑ https://books.google.com/books?id=H_xiDgAAQBAJ&dq=%22Dorothy+Okello%22+-wikipedia&pg=PT148
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-15. Retrieved 2024-04-01.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20151222152638/http://digitalwomanaward.com/2013/11/17/african-digital-woman-announced/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-04. Retrieved 2024-04-01.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://eagle.co.ug/2016/05/02/eng-kabagajju-new-engineers-boss.html
- ↑ Kamoga, Jonathan (6 June 2016). "Engineer's president to push for more science students". the Observer (Uganda).
- ↑ https://web.archive.org/web/20220316201814/https://www.ucc.co.ug/eng-dr-dorothy-okello/
- ↑ https://eprints.whiterose.ac.uk/189864/1/1570799776%20final.pdf
- ↑ https://ieeexplore.ieee.org/document/9144040
- ↑ https://doi.org/10.1007/s00521-020-05372-x
- ↑ https://doi.org/10.1007/s13165-020-00284-5
- ↑ https://ieeexplore.ieee.org/document/9306551
- ↑ https://doi.org/10.23919%2FSAIEE.2020.9194383
- ↑ https://ieeexplore.ieee.org/document/7983601
- ↑ https://www.emerald.com/insight/content/doi/10.1108/978-1-80262-049-820231007/full/html
- ↑ https://doi.org/10.1016%2Fj.deveng.2020.100057
- ↑ https://doi.org/10.1017%2Fdsj.2023.10