Empeewo eba nsolo ntonotono era nga efaananamu engabi. Tegejja nnyo. Esinga ko katono embuzi. Empeewo efuumuka nnyo emisinde. Kuno kwe kwava n'ekisoko nti: okufuumuka ng'akaweewo (okudduka ennyo). Empeewo etea kusangibwa mu ttale oba mu nsaalu. Mu Buganda, Empeewo kye kimu ku Bika .Akulira ekika ky'empeewo ayitibwa KIGGYE era ng'atuula BUBIRO mu KYAGGWE. Akabbiro k'Empeewo kayitibwa KAYOZI.

empeewo