ENKOKO ENNANSI EREETA AMAGOBA
Zino z’enkoko enzaaliranwa era nga zaamanyiira embeera ya wano mu [Uganda] oba [Africa]. Ebimu ku bika by’enkoko ennansi bye bino, ‘’Enkwekwe’’ ‘’ Ennyoro’’ Eng’anda’’ n’endala. Enkoko zino bwe zibeera zirabiriddwa n’obukugu zisobola okuwa nomulunzi amagoba amangi ddala .
Ebirungi mu nkoko ennansi
kyusaZigumira embeera n’obulwadde obumu, Zigumira ebiwuga oba enjoka, Zigumira omusana oba ekyeya, Zigumira enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde, , nez’embeera z’obulwadde ezisinga obubi. Ebyokulya byazo byangu okufuna. Tezeetaagisa ttaka ddene, Ebikozesebwa okuzimba enju zaazo bifujika mangu, akatale k’e nkoko n’amagi gaazo weekali.
Okwaluza amagi nga tukozesa enkoko
kyusaEkifo enkoko we zaalulira kiteekwa okuba nga kyawufu ku ekyo gye zibiikira. Enkoko ekozesebwa okwaluza eteekeddwa okuweebwa emmere n’amazzi buli kiseera. Enkoko emu esobola okumaamira oba okwalula amagi 15 oba 17. Osobola okukozesa ssekkoko okwalula amagi g’enkoko agawera amakumi anna ‘’40’’ Ku lunaku olwomusanvu olw’okumaamira oteekeddwa okwawula amagi amasumba era n’ogasuula. Mu kiseera kino eggi eririna akaana libeera lirina akantu akalinga akawuka nga kava ku njuba. Ddamu okukebera amagi nga wayiseewo ennaku endala musanvu oggyemu amagi amafu. Obukoko obwafiira mu ggi bubaako engeri y’olusaaysaayi. Obukoko obulamu mu ggi libeera likutte akazikiza naye ng’ekifo eggi mwe lissiza kirabika bulungi.
Ebiremesa enkoko ennansi okuwa abalimi amagoba
kyusaObulwadde, Enzimba y’ennyumaba y’enkoko embi, Ebbugumu eriyitiridde, Obutwa bw’mo mmere ekukudde, Obujama, ebiwuka ebitawaanya enkoko, endiisa, Okuleka enkoko ne zenjeera, Ebikozesebwa mu kulya, oba okunywa nga bitono, Ebiyumba by’enkoko ebirina enzikiza.
Amakubo g’okwewalamu ebiremesa enkoko okuleeta amagoba
kyusaOkukuuma obuyonjo nga twewala ennyumba ezitonnya, okuzimba ennyumba eyingiza era n’okufulumya empewo, Ennyumba ezirina ekitangaala zeetaagisa , Okugema enkoko, Okuzijjanjaba nga zirwadde, okuzimbira enkoko zireme okufuna obulwadde, Enkoko tuziwe eddagala ly’enjoka, tetuwa nkoko mmere ekukudde, Togezaako kutabulira nkoko mmere nga kyakyu mwereere omutali kasooli.
Endan’enkoko
kyusaEndabirira eri mu mite ndera esatu, endabirira y’obukoko obuto, enkuza, n’okubiika. Naye essira ka tulisse ku ndabirira y’obukoko obuto okuva ku lunaku olumu okutuuka ku ssabiiti ennya.
- Obukoko obuto bwetaaga ekitangaala okumala ennaku nnya ezisooka busobole okulaba emmere ekio, bulye ate bukule mangu.
- Ebbugumu lyetaagisa mu bukoko obuto okumala ssabiiti nnya . Pima ebbugumu mu nkoko ng’okozesa akuuma akapima ebbugumu. Olunaku olusooka n’lwokubiri [340 C] , Olunaku olwokusatu n’olwkuna [320 C] , Olunaku olwokutaano n’olwmukaaga [300 ]C]
Okuva ku lunaku olw’omusanvu okutuuka ku lw’ekkumi nennya [280C] , Okuva ku lunaku olw’ekkumi n’etaano okutuuka ku lw’ana mw’ebbiri[210C]. Obukoko buwe amaanyi agasooka nga obuwa amazzi agalimu sukaali oba gulukosi , nga tezinanatandika kulya okumala essaawa bbiri ½ kilo ya sukaali gitabule mu lita taano ez’amazzi. Weewale nnyo obukoko okwekuma awamu . Tandika okuwa obukoko emmere nga bumaze okunywa amazzi. [1]
- ↑ wwf/lvceep