Ebifa ku ‘amazzi mu byalo mu’ enkulaakulana eya namaddala

Tulina ekzibu ky’amazzi mu byalo byaffe , tusobola kukola ki? Singa abantu baba betaaga obuyambi ku buzibu bwabwe obw’amazzi betaaga okmanya ebintu eby’engeri eno.

  1. Engeri ze tufunamu amazzi za mirundi emeka, era embeera yaago eyimiridde etya?
  2. Abantu bameka abakozesa emikutu egy’enjawulo? Era gifaanana gitya?
  3. Abantu batambula bbanga lyenkanawa okutuka gye basena amazzi?

Baani abakima amazzi awaka?, Genkanaki, era emirundi emeka olunaku? Mu kunonnyereza ebifa ku mazzi oyinza okubikungganya mungeri nga zino.

  1. Okutalaaga ekyalo ng’olaba ebifo, omuwendo, n’embeera y’emikutu gy’amazzi gye birimu.
  2. Okussinkana abantu abeyambisa emikutu gy’amazzi egyo ng’obabuza ebibuzo ebikwatagana n’amazzi mu kifo ekyo.
  3. Okukuba maapu y’ekyalo ng’eraga ebifo ebikimibwamu amazzi byonna, n’omuwendo gw’amayumba.
  4. Okweyambisa akatabo akakungganyizibwamu ebifa ku kyalo okumanya omuwendo gw’ebifo omukimibwa amazzi ne webiri.

Wetegereze ensonga zino ezikwata ku mazzi.

  1. Bbanga ki erirwo wakati w’amaka g’abantu ne ku mikutu gye basena amazzi?
  2. Emikutu gy’amazzi egyo egikozesebwa , gikozesebwa lubereera oba lumu na lumu?
  3. Emikutu gy’amazzi egyo gikozesebwa mu ngeri esanidde?
  4. Emikutu gy’amazzi gyonna gikola bulungi?
  5. Waliwo ekiyinza okukolebwawo ku nsonga y’amazzi?

Waliwo abekyalo oba abakwatibwako ku nsonga y’amazzi oba akakiiko ka LC Local Council kye bayinza okukolawo? Ebyalo byetaaga obuyambi oku nsonga z’amazzi okuva ku kakiiko ke by’enkulaakulana mu muluka oba okuva ew’omumyuka w’ebye’enkulaakulana mu kitundu nn’awalala wonna nga mu Gavumenti n’ebibiina byanakyeewa.