ebigenge

Enfaanana y'ebigenge

kyusa

Ebigenge[[1]] bulwadde obuleetebwa obuwuka bwa bacteria obuyitibwa Mycobacterium leprae ne Mycobacterium lepromatosis.

Obubonero

kyusa

Mu kusooka obulwadde buno bwe bukukwata tebulaga kabonero konna okumala ebbanga lya myaka ng'etaano (5) okutuuka ku myaka ng'abiri (20).

Obumu ku bubonero obusooka kwe kuli okulwala kw'omukutu oguyitamu omukka gwe tussah (respiratory tract), olususu, wamu n'amaaso.

Bino biviiramu omuntu okuba nga takyawulira bulumi ku lususu, ekivaako okugenda ng'akutukako ebitundu by'okumubiri ebimu olw'obuvune obugenda nga bweyongera. Omubiri omunafu wamu n'obutalaba bulungi biyinza okweyongera.

Engeri gye busiigibwa

kyusa

Ebigenge bisiigibwa nga biva ku muntu omu okudda ku mulala, nga biyita mu mpewo eba eyasimuddwa omulwadde, oba eminyira gye, oba omusaayi gwe nga yeerumise.

Ng'oggyeeko endowooza eya bulijjo, ebigenge si kyangu nnyo kukwata muntu.

Obujjanjabi

kyusa

Kyokka ebigenge biwona n'eddagala eriyitibwa “Multidrug theapy (MDT)” era ng'obujjanjabi buno bwa bwereere okuva mu kitongole ky'ebyobulamu eky'ensi yonna (World Health Organisation).