Ettaka lye twogerako wano si nfuufu bufuufu. Ebimmera byonna byesigamye ku ttaka. Ettaka lye lisalawo ku kika ky’ekimera ekisobola okukulira mu kifo gundi. Mu ttaka omwo era mwe mubeera ebika by’ebitonde ebyenjawulo. Mu bino mulimu ebyo bye tutasobola kulaba na maaso gaffe wamu n’ebyo bye tusobola okulaba; waliwo ebyo ebyevulungula mu ttaka ate n’ebyo ebibeera obubeezi kungulu ku taka.

Ebika by'ettaka
ebbumba
omusenyu
loam soil

Ebika by’ettaka eby’enjawulo

kyusa

Tewali nsengeka ya bitaka bya ttaka ebimalayo byonna mu ngeri ematiza. Ettaka abantu balyogerako mu ngeri ez’enjawulo: ettaka ery’olusenyu, ettaka ery’olubumba, ettaka eggimu;ettaka eddungi oba ebbi; ettaka erizitowa oba eriwewuka ate era ne tulirabira ne ku bungi bw’omusenyu wamu n’ettosi eriri mu ttaka. Ekibanja kino ekya University ya Illinois’ The University of Illinois' extension web site kyogera ku ngeri ettaka gye lizimbibwamu wamu n’ebyo ebirikola, ebika by’ettaka, wamu n’engeri gye lirina okukuumibwamu. Ekibinja ekyo era kiriko okugezesa okw’enjawulo okunyuma okukoleddwa ku ttaka.

Okwekebejja ettaka

kyusa

Singa onooba ng’oyagala okwekaliriza ettaka ly’olina ewaka wo, ekibanja kya BBC's gardening site kijja kukuyamba nnyo ku nsonga eno. Mu ngeri y’emu, ekitongole kya Chemistry.org portal kirina ekiwandiiko ekirungi ky’osoboola okwewanulira mu ngeri eya Pdf era nga kino kisobola okukuyamba okupima n’okwetegereza ekirungo kya acid ekiri mu ttaka lyo.

Okukuuma ettaaka

kyusa

Tekyewuunyisa okulaba nti abo abalwanirira ebyobutonde, baagala nnyo okukuuma ettaka. Ensonga y’okukuuma ettaka eri ku mwanjo nnyo mu kisaawe ky’ekinnassaayansi. Kikulu nnyo okumanya engeri gye tusobola okukuuma ettaka n’okutangira mukoka. Okumanya ebisingawo, genda ku kibanja kino