Ebikolwa
Mu Luganda ekikolwa kye kigambo ekiraga omukozi ky’aba kola mu mboozi. Mu ngeri endala ekikolwa y'entabiro y'emboozi; kye kigambo emboozi eyo kw'etabira. Abamu kye bava ekikolwa bakiyita Nnantabira.
Ebikolwa birimu ebiti ebikulu bibiri:
- Ebyemala
- Ebiteemala
Ebikolwa ebyemala
kyusaBino tubiyita ebyemala olw’ensonga nti bisobola okuyimirirawo ku lwabyo byokka butengerera ne biwa amakulu. Ebikolwa bino ebyemala era tubyawulamu ebiti bibiri era nga bye bino:
- Ebyetaaga ekikolebwako
- Ebiteetaaga kikolebwako
a) Ebikolwa ebiteetaaga ekikolebwako bye bino nga; okwebaka, okutunula, okuseka, okufa, n’ebirala.
Omuntu bw'akola sentensi omuli ebikolwa ebyo n'ebirala ebifaanana waggulu, amakulu gatereekeka bulungi. Mu ngeri eyo obeera teweetaaga kweongerako kigambo kyonna. Okugeza, omuntu bw'agamba nti, Anna yeebase, toyinza kubuuza nti, yeebase ki?
Ebyokulabirako:
- Omwana yeebase.
- Maama atunula.
- Omulenzi aseka.
- Omubbi afudde.
Weetegereze: Mu mboozi ezo waggulu okuggyako ng’awuliriza oba omulabi ayagala kumanya ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa olwo ayinza okubuuza.
b) Ate waliwo ebikolwa ebyemala wabula nga byetaaga ekikolebwako mu mboozi. Okugeza:
- Omwana akuba omupiira.
- Maama asusa ebinyeebwa.
- Omulenzi aleese ekitabo.
- Omubbi abbye ettooke
Mu mboozi esooka omwana yakola ekikolwa “eky’okukuba”, ng’ekikolwa kino akikola ku “mupiira“.
Erinnya erikolebwako (omupiira) lye liyamba ekikolwa ekikolebwa mu mboozi eyo waggulu okumalawo okwebuuza okwandibaddewo singa omuntu agyogera/awandiise emboozi eyo abeera nga talitaddeeko. Ne mu mboozi endala bwe kityo bwe kiri.
Okugeza:
Omwana akuba (akuba ki?).
Weetegereze: Bulijjo singa emboozi ebaamu ekikolwa nga kyemala naye nga kyetaaga ekikolebwako, nakasigirwa enkozi mu mboozi ebeera a-.
Ebikolwa ebiteemala
kyusaMuno mulimu ebikolwa nga: -va -ja -beera -sooka -lyoka n'ebirala Bino tubiyita ebiteemala kubanga tebisobola kuyimirirawo butereevu ku lwabyo mu mboozi ne biwa amakulu.
Weetegereze: Ebikolwa bino okuwa amakulu tubiyunga ku nakasigirwa enkozi, tuyinza okweyambisa embu z’amannya oba tuyinza okweyambisa nakasigirwa ez’obuntu eziteemala.
Eby’okulabirako Namukasa alya muwogo.
Akayingo ako a-' tukayita nakasigirwa enkozi.
Newankubadde nga tugamba nti ebikolwa bya mirundi ebiri; ebyemala n’ebiteemala, naye tulinayo ebikolwa ebiyitibwa ebikolwa ebiyambi. Ebikolwa ebiyambi omulimu gw’abyo kuyamba ku bikolwa ebirala ebiba biri mu sentensi eyo eba ewandiikiddwa. Ebikolwa bino ebiyambi biyinza okukozesebwa nga bisukka mu kimu mu sentensi. Ebimu ku byo bye bino:
- -tera
- -va
- -kanda
- -lyoka
- -sooka
- -fa
- -bakira
- -ba
- -gira
n’ebirala.
Ebikolwa ebyo tuubirabira mu mboozi nga zino wammanga:
- Omwana atera okuzuukuka ekiro.
- Tuva kukima mazzi kuluzzi.
- Baakanda kulinda nga buteerere.
- Omukyala asooka kulima mu lusukuwe.
- Bakira tulinda nga ye yakyaludde dda.
- Omyizi afa gawandiika.
Weetegereze:
- Ebiseera ebisinga ekikolwa ekiyambi kitera nnyo okuddirira ekikolwa ekyo kye kiyamba mu mboozi.
- Ebimu ku bikolwa ebiyambi oluusi biyinza okweyambisibwa ng’ebikolwa ebyemala ku lwabyo mu mboozi.
Okugeza:
- Maama ava mu katale.
- Omuyizi oyo y’asooka buli lunaku.
- Musoke abeera Kampala.
References
kyusaA Luganda Grammar by E. O. Ashton, E. M. K. Mulira, E. G. M. Ndawula, A. N. Tucker