Ebinnyonnyozo by'Entoloovu(the properties of a Circle)
IALI NGO has been authorized by terminologist Charles Muwanga to post this article from his Luganda scientific works on Luganda Wikipedia for free public consumption.
Ebinnyonnyozo by’Entoloovu (the properties of a Circle)
Entoloovu luba lukoloboze(line) olukola “omwetoloozo” omwetoloovu(circular ring). Bwe guba mwetoloozo(ring) kiba kitegeeza nti guyinza okuzingululwa n’ofuna olukoloboze oluzingulukufu (olugolokofu).
Entoloovu kiva mu kugattika(blending) bigambo by’Oluganda , “enkula ennetoloovu”(Circular shape).
"Circle" eky’Olungereza kiva mu kya Lulattini “circus” ekitegeeza “omwetoloozo”(ring) ogubeera ku kifo we baalabiranga katemba(arena).
Waliwo enjawulo wakati w’ettoloovu(Circle) n’ekyetoloovu (Disk). Entoloovu era ekiyitibwa “olutoloovu”=olukoloboze olwetoloovu, luba lukoloboze olwetoloovu .
Ekyetoloovu=ekintu ekyetoloovu, kiba kintu nga kino kitundu kya kyekitendero (plane) ekisaliddwa mu nkula ey’olukoloboze olwetoloovu. Kino kitegeeza nti singa okuba entoloovu(circle) ku lubaawo , n’ogisalamu, ekitundu ky’osalamu ekyetoloovu kiyitiba “ekyetoloovu”(disk).
Ebinnyonnyozo by’Entoloovu
(the Properties of a circle)
Entoloovu=enkula ennetoloovu, ennyonnyolwa bino wansi:
(i) Amakkati(Center). Kano kaba katonnyeze mu makkati g’olutoloovu=olukoloboze olwetoloovu. Buli katonnyeze ku lutoloovu le’entoloovu kaba obuwanvu bwe bumu okuva mu makkati g’entoloovu.
(ii)Olunakkati(Radius)) . Olunakkati kiva mu bigambo by’Oluganda “olukoloboze olusala mu “lusekkati” ebitundu bibiri”. Mu luganda amannya agatandika ne “n” galaga “kitundu” ate agatandika ne “s” galaga “kiramba”. Yadde nga omusajja yenkanankana n’omukyala ng’abantu, omukyala yatwalibwanga okuba ekitundu ky’omusajja. Mu ngeri ye’emu olunakkati=olukoloboze olw’amakkati g’olusekkati, lutwalibwa okuba ekitundu ky’olusekkati(Diamater).
(iii) Olusekkati (D)= Olukoloboze olusala mu makkati g’entoloovu.Olusekkati lukubisaamu “olunakkati” emirundi ebiri.
(iv) Obwetoloovu(Circumference).Obuwanvu okwetoloola enkula ennetoloovu=entoloovu(circle) ky’ekiyitibwa Obwetoloovu. Weetegereze nti mu essomampimo, Obuwanvu okwebulungula enkula etali nnetoloovu(non-circular shape) buyitibwa obwebulungirivu(Perimeter). Okwebulungula ekintu si kye kimu n’okukyetoloola. Okukyetoloola kitegeeza nti akatonnyeze kaakyo ak’amakkati(midpoint) okakozeeko enkula ennetoloovu=entoloovu(circle). Kyokka Okukyebulungula kitegeeza nti tokoze nkula netoloovu.
(v) Obwagaagavu(Area). Mu butuufu entoloovu luba lutoloovu=lukoloboze olwetoloovu, ekitegeeza nti nga enkoloboze(lines) endala zonna ,lunila empimo emu(one dimension) , ey’obuwanvu. N’olwekyo bwe twogera ku bwagaagavu bw’entoloovu tuba tutegeeza bwagaagavu bw’ekibangirizi ekiri munda mw’olutoloovu(olukoloboze olwetoloovu).
(vi) Ekisittale(Chord).Ekisittale (ekitundu ky’omusittale) kitegeeza ekikoloboze(ekitundu ky’olukoloboze olugolokofu) ekikwataganya obutonnyeze obubiri bwonna ku ntoloovu(enkula ennetoloovu).
(vii) Olikwata oba Olutuuliro(Tangent). Luno luba lukoloboze oluyita wabweru ku ntoloovu ne lujikoonako ku katonnyeze kamu kokka.
(viii) Olusalaganya (Secant). Luno luba lukoloboze olusala mu ntoloovu ku butonnyeze buburi bwokka.
(ix) Buli lw’ogabiza Olusekkati(Diameter) mu obwetoloovu(circumference) bw’entoloovu yonna oba ofuna entakyuka(constant). Entakyuka eno eyitibwa “Paayi”(Pi) era ekunuukiriza 3.142
(x) Entoloovu (=enkula ennetoloovu) kika kya eripuso(ellipse) . Singa oddira ebisiisi(acces) by’eripuso n’obifuula obuwanvu bwe bumu , ekivaamu eba nkula ennetoloovu.
(xi) Oyinza okusonjola entoloovu nga enkula etondekebwawo nga ekitendero(plane) kisaze mu nsoggo=enkula ey’olusoggo(cone) ku mpeto ennesimbu (at right angles) ku ekisiisi y’ensoggo(at the cone’s axis).
(xii) Entoloovu era eyinza okusonjolwa nga obuufu(Locus). Enkula ennetoloovu(entoloovu) bwe buufu (obuyitiro) bw’obutonnyeze bwonna obuli obuwanvu obumu okuva mu makkati.