Ebinnyonnyozo by'essomampimo (Geometrical properties)
Template:Charles Muwanga "Ekinnyonnyozo"(Property) mu essomampimo kitegeeza ekyo ekinnyonnyola enkula ey'ekibalangulo."Ekisonjozo"(characteristic)kitegeeza ekyo ekisonjola ekintu oba ekiramu.Okulaga ebinnyonnyozo by'enkula eyekibalo yonna okugyawula ku nkula endala, olina okwebuuza nti enkula eyogerwako erina :
- Empuyi(sides) meka?
- Empeto(angles) meka?
- Enkoloboze eza kapendikyula(Perpendicular lines) meka?
- Enkoloboze ezigendagana(parallel lines) meka ?
- Feesi(obwenyi) meka?
- Embalama(edges) meka?
- Obufumito(vertices) bumeka?
- Empimo(dimensions) meka?
Awo oba onnyonnyola ebikwata ku nkula okusobola okulaga ebyo ebigyawula ku nkula endala. Bino by'ebinnyonnyozo(properties) mu essomampimo.