Ebipooli eby'enkyusabuziba (Chemical compounds)
Template:Charles Muwanga Mu kwogera okw’oluganda ,waliwo :
(i)“ebipooli eby’enkyusabuziba”Ekipooli kigerageranye (ii)Ekipooli ebitali bya nkyusabuziba(nonchemical blends).
Enkyukakyuka ezibaawo mu kipooli eby’enkyusabuziba ziviira ddala mu buziba bw’ekintu(ata atomic level) era ennukuta “.Ekipooli kino kibaamu ekwasowazo (chemical bonding) eziviira ddala mu buziba bwa “atomu ez’enjawulo.
Ekipooli ekeyekikemiko (chemical compound) , sabusitansi ey’enkyusabuziba ejjawo nga endagakintu(element) bbiri oba okusingawo ez’enjawulo zegasse wamu mu mugerageranyo ogw’ekipimo (fixed ratio). Amazzi (H2O), ekyokulabirako, kipooli kya nkyusabuziba oba ka tugambe nti kipoli ekikyuse obuziba , ekikolebwa obuziba(atomu) bwa ayidologyeni bubiri ku buli atomu(kaziba) ya okisigyeni emu. Sodiyaamukololayidi (NaCl) kipooli kya atomu ya sodium emu ku buli atomu ya kololayidi emu. Ekintu ekikulu ku kitooli kwe kuba nti kiba n’ekibalanguzo eky’ekikemiko (chemical formula), ekinnyonnyola omugerageranyo atomu za buli erementi mwe zekwasiwaliza.
Ekisonjozo 2: Ekipooli
Ekipooli eba sabusitansi ekolebwa endagakintu(elements) ez’enjawulo bbiri oba okusingawo nga zikwasiwaganyiziddwa wamu mu omugerageranyo ogw’enkomeredde (fixed ratio).
Ezimu ku ndagakintu ezisinga okukyaka mu bulamu obwa bulijjo mulimu Kitondekamazzi (hydrogen), Kaboni (carbon), Okisijeni, keriyamu (helium), n’endala ze tugenda okulaba. Molekyo biba birimba bya buziba nga bikwasiwaziddwa wamu(bonded together) mu ngeri y’emu ebigambo bwe biba ebirimba bya nnukuta. Ennukuta K esigala K mu buli kigambo ky’erimu mu ngeri y’emu atomu ya kaboni (C) bw’esigala nga atomu ya kaboni mu buli kitoori mw’eba eri. Endagakintu eza bulijjo ziyinza okuzimba molekyo za njawulo nnyo naye atomu ezikola erementi zino zo zisigala bwe zityo mu buli ndagakintu, mu buli kitoori. Yadde nga obuziba bulina enzitoya n’ensengeka za njawulo, zonna zizimbiddwa n’ebitundu bye bimu ebiyitibwa obusannyalazo (electrons), obukontanyo (protons) ne nampawengwa (neutrons) era ebitundu bya atomu bino bye bizimba obwengula nga bwe buli.
Nga bwe tulabye, ebipooli ziba sabusitansi ez’enkyusabuziba (pure substances), ezikolebwa endagakintu bbiri oba okusingawo nga endagakintu zino zikwasiwaziddwa okuva mu buziba bwazo, ntegeeza mu nkyusabuziba mu migerageranyo gy’enzitoya emigere (fixed mass ratios). Endagakintu mu kipooli zikwataganyizibwa wamu n’enkwasowazo ez’enkyusabuziba (chemical bonds). Okusobola okunnyonnyoka obulungi kalonda w’ebipooli ka tutandike ne molekyo. Molekyo gwe mulamwa ogunnyonnyola atomu ezikwasiganyiziddwa n’enkwasowazo ez’enkyusabuziba (chemical bonds).
Buli mugattiko gwa atomu gukola molekyo. Ekipooli eba molekyo ekolebwa mu atomu eza erementi ez’enjawulo. Ebipooli byonna ziba molekyo naye si buli molekyo nti kipooli. Ggaasi ya ayidologyeni (H2) eba molekyo naye si kipooli kubanga ekolebwa buziba bwa ndagakintu bwa kika kimu kyokka. Amazzi (H2O) gayinza okuyitibwa molekyo oba ekipooli kubanga gakolebwa obuziba bwa ayidologyeni (H) ne okisigyeni(O).
Waliwo enkwasowazo z’enkyusabuziba ezikwasawaza awamu obuziba za mirundi egy’enjawulo: Enkwasowazo ez’ekigabanyo n’enkwasowazo ez’ekivaatiso era eziyitibwa enkwaswazo ez’ekiyayayaano eky’amasannyalaze (electrovalent bonds). Atomu ezigabana obusannyalazo mu nkwasowazo z’ekikemiko (in a chemical bond) ziba n’enkwasowazo ez’ekigabanyo (covalent bonds). Molekyu ya okisigyeni (O2) kya kulabirako kirungi ekya molekyu erina enkwasowazo ez’ekirokeero (covalent bond). Enkwasowazo ez’ekiyayaano eky’obusannyalazo (Ionic bonds) zibaawo nga obusannyalazo bugabiddwa okuva mu atomu emu okudda mu ndala.
Omunnyo gwo ku mmeeza (NaCl), kyakulabirako eky’ekipooli eky’enkwasowazo ey’ekiyayaano ky’obusannyalazo (ionic bond). Wakiwo n’enkwasowazo ey’ekika eky’okusatu: enkwasowazo ez’ekyuma (metallic bonds) ezibeerawo wakati wa atomu z’ekyuma. Tugenda kuteeka essira ku nkwasowazo ez’ekivaatiso (ionic bonds) n’enkwasowazo ez’ekigabanyo (covalent bonds).